TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kayihura bamutaddeko ekibinja ky'abajaasi okulondoola entambula ze

Kayihura bamutaddeko ekibinja ky'abajaasi okulondoola entambula ze

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2018

AMAGYE gatadde ku Gen. Edward Kale Kayihura obukuumi bw’amaanyi nga kati alondoolwa abajaasi abali wakati wa 30 ne 50 okukakasa nti tamenya bukwakkulizo obwamussiddwaako kkooti y’amagye bwe yabadde emukkiriza okweyimirirwa ku Lwokubiri oluvannyuma lw’ennaku 76 bukya akwatibwa n’aggalirwa mu kkomera ly’amagye e Makindye.

Bala 703x422

Abaserikale nga baakatuusa Kayihura mu makaage e Muyenga. Mu katono ye Gen. Kale Kayihura.

Ensonda mu by’ebyokwerinda zabbiddeko Bukedde nti, Gen. Kayihura assiddwaako ekibinja ky’abajaasi ekiyitibwa ‘Platoon’ nga kumpi bakunukkiriza mu 50 okumulinnya akagere buli w’alaga okukakasa nti tamenya obukwakkulizo bwa kkooti.

Abajaasi bano baabagabanyizza mu bifo bisatu Kayihura by’asinga okubaako akakwate.

Abamu bassiddwa mu maka ge agasangibwa e Kisoro gye bamuzaala, abalala ku faamu ye esangibwa e Kashagama mu disitulikiti y’e Lyantonde, n’abalala mu makaage amakulu agali e Muyenga mu Divisoni y’e Makindye mu Kampala Mu nkola ya UPDF, omujaasi yenna ali ku ddaala lye ery’obwa Genero nga Kayihura, alina okukuumibwa ‘Platoon’, nga kino kibinja ky’abajaasi abali wakati wa 16 ne 50 abamutambulirako n’abakuuma amaka ge wabula mu mbeera eza bulijjo, ba Genero abatalina bifo by’amaanyi mu Gavumenti oba mu UPDF bakuumibwa abajaasi abatasukka 10 Omwogezi w’amagye ga UPDF Brig. Gen. Richard Karemire, yategeezezza Bukedde nti, Gen. Kayihura y’omu ku bantu abeetaaga obukuumi era nga tebuweebwa ye yekka wabula ne ba Genero abalala bubaweebwa okusinziira ku bwetaavu bwe babeera nabwo.

“Ssi buli kifo Genero ky’aba nakyo nti kiteekeddwa okubaamu abaserikale okukikuuma. Bw’olaba nga Genero yenna alina amagye agasukka mu ago g’osuubira kiba kitegeeza nti eby’obutebenkevu bw’ekitundu oba ekifo mw’aba agenze tebiba birungi era nga y’ensonga lwaki oyinza okusanga nga Genero omu asussa ne mu bakuumi 50 wabula nga kino tekitegeeza nti baba babamuwadde kumulondoola,” Karemire bwe yategeezezza.

Brig. Karemire yagasseeko nti, ba Genero abamu baweebwa abaserikale okusinziira ku mirimu oba obuvunaanyizibwa obuba bubaweereddwa n’awa ekyokulabirako nti omuduumizi wa UPDF, Gen David Muhoozi obukuumi bwe businga ku Genero omulala atalina buvunaanyizibwa bw’amaanyi nga ye.

“Kati nze ndi genero naye ondaba n’abajaasi bameka bentambula nabo?” bwe yabuuzizza. Kigambibwa nti ku bajaasi abateekeddwa ku Kayihura, kuliko abalina okukola lipoota obutereevu eri bakama be nga balaga ebifo gyanaabera atambudde, ky’aba akolayo si kulwa ng’akola nga Genero munne David Sejusa (Tinyefunza) n’adduka mu ggwanga ate n’asinziira eyo okukolokota abakulu mu gavumenti.

Obumu ku bukkwakulizo obwaweereddwa Kayihura nga yeeyimirirwa mu kkooti y’amagye ekulirwa Lt. Gen. Andrew Gutti, ku Lwokubiri lwa wiiki eno mwabaddemu eky’obutagenda mitala wa mayanja okuggyako ng’aweereddwa olukusa okuva mu kkooti eno n’olukiiko lw’amagye olw'oku ntikko.

Kino kitegeeza nti newankubadde yakkiriziddwa okweyimirirwa, Gen. Kayihura teyeerinaako buyinza nga buli kimu ky’akola amagye galina okuba nga gakimanyiiko era ng’akkiriziddwa.

Kinnajjukirwa nti akulira oludda oluwaabi mu kkooti y’amagye Maj. Raphael Mugisha yabadde asimbidde ekkuuli ekya Kayihura okukkirizibwa okweyimirirwa kyokka oluvannyuma n’asaba assibweko obukwakkulizo obukakali alyoke akkirizibwe okweyimirirwa.

Omu ku balooya be Joseph Matsiko yeegayiridde kkooti Kayihura aleme kugyibwako paasipoota ye kubanga balina enteekateeka ez’okumutwala ebweru okujjanjabwa.

Kigambibwa nti nga tannakkirizibwa kweyimirirwa, waliwo amateeka amalala agaamuweereddwa mu buntu okugeza ng’obutatuuza nkiiko na baamawulire oba abantu baabulijjo okwogera ku misango egimuvunaanibwa.

Eno y’ensonga lwaki n’abaamuwerekera okumutuusa mu makaage e Muyenga, abajaasi be baabaganya okumutuusiza ddala w’asula yadde okwogerako gyebali nga bwe baali basuubira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko

Kamenke1 220x290

Abadde yaakayimbulwa bazzeemu okumukwatira...

Kiwanuka abadde yaakayimbulwa mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa ku kibonerezo eky’emyaka etaano oluvannyuma...