TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri Poliisi gye yalemeddwa okuggya sitatimenti ku Zaake: Bakira by’ayogera tebikwatagana

Engeri Poliisi gye yalemeddwa okuggya sitatimenti ku Zaake: Bakira by’ayogera tebikwatagana

By Stuart Yiga

Added 3rd September 2018

BAMBEGA ba Poliisi balemeddwa okukozesa omubaka Francis Zaake sitatimenti, olw’embeera gy’alimu nga by’ayogera tebikwatagana.

Whatsappimage20180830at53714pm 703x422

BAMBEGA ba Poliisi balemeddwa okukozesa omubaka Francis Zaake sitatimenti, olw’embeera gy’alimu nga by’ayogera tebikwatagana.

Bambega abaabadde mu kibinja ky’abantu mwenda ekyakulembeddwa D/SSP Francis Olugu, baagenze mu ddwaaliro e Kiruddu omubaka Zaake gyajjanjabirwa.

Baabaddde baakamala naye eddakiika nga 20, n’atandika okulogootana ekyabawalirizza okusooka okumuleka.

Baamubuuzizza ebyaliwo ne bye yalaba ng’emmotoka ya Pulezidenti ekubwa mu Arua kyokka yabadde tannabannyonnyola n’atandika okutabuka nga byayogera tebikwatagana.

Balooya be okwabadde Asuman Basalirwa ne Nicholas Opio, baabaddewo.

Olw’embeera y’omulwadde, balooya be ne bambega bakkiriziganyizza asooke afune obujjanjabi alyoke aggyibweko sitatimenti.

Aba famire ya Zaake bagamba nti bukya muntu waabwe atwalibwa Kiruddu tafunanga bujjanjabi.

Basaalirwa yategeezezza nti baabadde basuubira okufuna abasawo okuva e Mulago bakebere omulwadde ku Ssande kyokka ne bategeezebwa nti ku wiikendi tebabaayo nga kati balinda lwaleero olwa Mmande.

Kyokka Basaalirwa yategeezezza nti singa abasawo tebajja leero, ku Lwokubiri bagenda mu kkooti eragire Gavumenti ekkirize omuntu waabwe atwalibwe ebweru w’eggwanga afune obujjanjabi obwetaagisa.

Zaake bwe yaggyibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe n’atwalibwa e Kiruddu, taddangamu kufuna bujjanjabi bwonna olw’ensonga nti yeggalira mu kasenge mwe yateekebwa ng’agamba nti, tasobola kwesiga musawo asindikiddwa gavumenti kumukolako okuggyako nga bakkirizza abamu ku basawo be ababadde bamujjanjaba mu ddwaaliro e Lubaga gye yasooka okutwalibwa.

Okusinziira ku mwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo, Zaake yatoloka ku baserikale okuva mu bitundu by’e Arua, ng’alina okutwalibwa mu kkooti avunaanibwe nga banne.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, SSP Emilian Kayima wiiki ewedde yavaayo n’ategeeza nti Zaake yali agezaako okutoloka mu ggwanga ne bamukwatira ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta