TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasomesa n'abazadde temusomesa baana mu luwummula - Minisita Muyingo

Abasomesa n'abazadde temusomesa baana mu luwummula - Minisita Muyingo

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2018

MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu Dr. JC Muyingo alabudde abasomesa n'abazadde abataagala baana kuwummulako mu luwummula ne basigala nga babapiika ebisomesebwa nti kijja kubaviirako okugwa eddalu basibire e Butabika.

Muyingojc 703x422

Minisita Muyingo

BYA SAMUEL KANYIKE

Yagambye nti newankubadde okusoma kulungi naye omwana bw'asoma n'atawummulamu bye bivuddeko bannayuganda bangi okugwa eddalu.

Yagambye nti ne gavumenti yassaawo enteekateeka abaana mwe balina okusomera n'okuwummulamu ne babeera ne bakadde baabwe nabo ne babakwatamu. 

Yasabye abazadde obudde bw'oluwummula babukozese okusomesa abaana baabwe ebintu bye balina okumanya okufuuka abantu abalungi omuli okubayigiriza okukola emirimu gy'awaka, egivaamu ensimbi, empisa n'ebirala. 

Yasinzidde ku kyalo Kibanyi mu ggombolola y'e Bamunmaanika mu Luweero gye yasisinkanidde abazadde b'abaana b'aweerera n'okugabira ebibiina by'abakyala ensigo za kasooli. 

Kyaddiridde akulira eby'enjigiriza ku lukiiko lwa disitulikiti e Luweero Boniface Sentongo okumutegeeza ng'abaana bwe batakozesa luwuumula kukolera ku bazadde baabwe ne beemalira ku masomero.

Yagasseeko nti abazadde nabo basusse okutiitibya abaana b'aweerera ng'abamu  be babafuga ne babawa n'amateeka, tebatakola kantu konna nga basiiba mu firimu na kulaba ttivi olw'okuba baafuna omukisa ne bava ku kyalo basomera mu masomero ag'ebbeeyi e Kampala n'awalala omuli Seeta, Makerere n'amalala. 

Sentongo era yategeezezza nga Bulungibwansi bwabuze mu bantu nga tebaziba binnya na kulima nsiko emabbali w'amakubo n'abazadde abatawa baana kyamisana ku masomero. 

Dr Muyingo yasabnye abantu obutaggwaamu maanyi olwa kasooli okugwa ebbbeeyi bongere okumusiga kuba agenda kuddamu okulinnya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...