TOP

Abeebijambiya babavunaanye mu kkooti y’amagye

By Joseph Makumbi

Added 5th September 2018

ABEEBIJAMBIYA abagambibwa okulumba ekizimbe ky’omugagga w’e Masaka, Moses Kaliisa amanyiddwa nga Muto nga July 1, 2018 ne banyaga ssente ezisoba mu bukadde 400 ne batta n’abantu babiri basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne babasomera emisango ena.

Kola 703x422

Abamu ku bavunaanibwa ogw’ebijambiya nga batuuka ka kkooti y’amagye e Makindye eggulo.

Emisango gye babasomedde kuliko ogw’okutta Moses Musinguzi eyali omukuumi ku Muto Hardware ne bamuggyako emmundu ekika kya SMG nnamba UG/ UPDF49029251 eyalimu amasasi 30, n’okutta Sharif Kiggundu.

Emirala kuliko okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu n’okukozesa ekissi ne banyaga Moses Kaliisa nnannyini Muto Hardware ssente 403,575,500/-. Bino byonna byaliwo nga July 1, 2018 ku kyalo Mawogola e Masaka.

Abaasimbiddwa mu maaso ga ssentebe wa kkooti y’amagye Lt. Gen. Andrew Gutti eggulo kwabaddeko Rt. Cpl. Paul Kiwanuka 54, Derrick Jjumba 40, John Bosco Waliggo 43, Matia Kizza Bukenya 40, Stephen Kayemba 31, Julius Tweheyo oluusi eyeeyita Rutwigi ne Gerevazio Kankaka oluusi eyeeyita Kojja.

Okusinziira ku biwandiiko okwabadde emisango gyabwe ebyasomeddwa mu kkooti, bano n’abalala abatannakwatibwa, be bamu ku kibinja ky’abasajja abateeberezebwa okutigomya Bannamasaka abaakazibwako erya ‘abeebijambiya’ abaatema ennyo abantu mu disitulikiti okuli Bukomansimbi, Masaka, Kyotera, Rakai, Ssembabule n’emiriraano.

Abasajja bano, baasookanga kusuula bibaluwa ebiraalika bannakyalo nti bajja kubakyalirako mu matumbibudde atayagala kufa, ategekewo ssente ze baabeeranga bamusalidde.

Oluvannyuma lw’okunyaga ewa Muto, ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI, kyayingira mu muyiggo ne bakwatibwa ne baggalirwa mu kaduukulu kaakyo e Mbuya gye baggyiddwa eggulo okusimbibwa mu kkooti y’amagye.

Baaweereddwa Capt. Charles Ssekayita omu ku balooya b’amagye abawolereza ababa tebalina busobozi kupangisa bannamateeka kuva bweru okubawolereza era Gutti n’abawa eddakiika ttaano basooke beegeyeemu.

Oluvannyuma baayingidde kkooti ne basomerwa emisango gyabwe omusango n’agwongezaayo okutuusa nga September 25, 2018 lwe banadda mu kkooti.

Omuwaabi wa Gavumenti, Maj. Raphael Mugisha yategeezezza kkooti nti, okunoonyereza ku musango kukyagenda mu maaso kubanga balina abalala bangi abaliira ku nsiko be bakyayigga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...