TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ensonga za Bobi Wine ne Zaake zongedde okutabula ababaka mu Palamenti

Ensonga za Bobi Wine ne Zaake zongedde okutabula ababaka mu Palamenti

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2018

ENSONGA z’abaserikale abaakuba omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ne Francis Zaake (Mityana Munisipaali) zongedde okutabula Palamenti.

Medardssegonnainlegalcommittee 703x422

Omubaka Medard Sseggona

Mu lutuula olwakubiriziddwa omumyuka wa sipiika, Jacob Oulanyah, lwefugiddwa okusika omuguwa ku biteeso ebiwerako.

Wiiki ewedde Palamenti yayabuka tewedde ng’ababaka baagala Pulezidenti asooke addemu ebbaluwa sipiika gye yali amuwandiikidde nga yeemulugunya ku baserikale abaatulugunya abantu.

Oulanyah yasoose kutegeeza nga bwe yabadde amaze okufuna ebbaluwa okuva ewa Pulezidenti ng’annyonnyola ensonga ababaka ze baali beemulugunyaako.

Kyokka teyalambululidde babaka biri mu bbaluwa n’ategeeza nti baagiwandiikidde sipiika Rebecca Kadaga eyawandiikira Pulezidenti.

Yagambye nti Kadaga bw’anaaba ayagadde ajja kunnyonnyola ababaka.

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Betty Aol Ocan yagambye nti tekiba kya bwenkanya ofiisi y’oludda oluvuganya Gavumenti obutafuna kkopi ku bbaluwa eno kuba balina bye bandyagadde okwanukula.

EBYOKWERINDA MU GGWANGA

Gen. Elly Tumwine minisita w’obutebenkevu bwe yamalirizza okusoma lipooti ng’annyonnyola ababaka ku mbeera y’ebyokwerinda eri mu ggwanga mwe yalambululidde engeri ababaka ba Palamenti gye baatuuka okukwatibwamu mu Arua n’abamu ne basimbibwa mu mbuga z’amateeka, Ibrahim Semujju Nganda (Kira Munisipaali) n’ategeeza Palamenti nti efuuse nkola ya Gavumenti ntongole okukubanga abantu buli lwe wabeerayo okulonda mu ggwanga.

Embeera eno yagiraba e Rukungiri, Jinja, Bugiri ne Arua. Yalabudde nti singa Gavumenti tesalira kizibu kino magezi, abantu bajja kutuuka okwenyiwa bakozese amakubo agatali mu mateeka.

Medard Lubega Sseggona (Busiro East) yawakanyizza Tumwine bye yabadde annyonnyodde n’agamba nti bwabadde bulimba naddala ku ngeri Zaake gye yatolokamu awamu n’engeri Bobi Wine gye yaggyibwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe. Kyewalabye Majegere (Bunya East) yasabye ensonga y’abaserikale ba Poliisi n’amagye abakuba abantu n’abaamawulire ekwatibwe na maanyi.

Kyokka yagambye nti olumu mubeeramu obutali bwenkanya bwe baleka abaserikale abakulu ababa baaduumidde okukuba.

Bernabus Tinkasiimire (Buyaga West) ne Celicia Ogwal baavudde mu mbeera ne basaba Gavumenti ekomye okutulugunya Bannayuganda buli lwe wabeerayo okulonda kuba abavuganya Gavumenti baliwo mu mateeka.

OKUTEESA KU LIPOOTI EYAKOLEBWA AKAKIIKO

Wano waabaddewo kalumanywera. Mwesigwa Rukutana amyuka Ssaabawolereza wa Gavumenti yategeezezza nti kimenya mateeka okuteesa ku nsonga eziri mu kkooti era n’asaba okulinda okusalawo kwa kkooti.

Kyokka Medard Sseggona Lubega (Busiro East) yamuwakanyizza nti emisango gyonna egiri mu kkooti tekuli gwa kutulugunya bantu.

Wano Rukutana yamwanukudde nti tasaanidde wadde okwogera ku nsonga eziri mu kkooti kuba bwe yasindikibwa Palamenti okubuuliriza ate yadda mu kukola ssente bwe yeefuula munnamateeka w’abasibe.

Oulanyah yasazeewo nti Sseggona yalina okulangirira nga bwe yali asazeewo okuyamba ababaka ekintu kye yakoze.

Muwanga Kivumbi (Butambala) naye yawakanyizza eky’obutasoma lipooti. Sseggona oluvannyuma yasazeewo nti ajja kusalawo mu lutuula olwa leero (Lwakusatu) ng’amaze okwebuuza n’okutunula ku mpaaba y’omusango oguvunaanibwa ababaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerer obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...

Noonya 220x290

Ofiisa gwe baakutte ku by'okutta...

OFIISA wa poliisi gwe baakutte ku bya Kirumira, amagye gamubuuzizza ebyaliwo mu kiro kya September 8, 2018; olunaku...

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...