TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Museveni ayanukudde ebbaluwa ya Sipiika Kadaga: 'Ndi musanyufu n'engeri abeenyigira mu ffujjo gye baakwatiddwaamu ab'ebyokwerinda'

Museveni ayanukudde ebbaluwa ya Sipiika Kadaga: 'Ndi musanyufu n'engeri abeenyigira mu ffujjo gye baakwatiddwaamu ab'ebyokwerinda'

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2018

PULEZIDENTI Museveni agambye nti musanyufu olw’engeri ab’ebyokwerinda gye baakuttemu ensonga z’abantu abaabadde bakola effujjo mu Kampala n’e Arua okuva omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyidwa nga ‘Bobi Wine’ ne banne lwe baakwatibwa olw’obuvuyo obwali mu kibuga Arua.

Unity 703x422

Pulezidenti Museveni ng'alambula ennyiriri z'abaserikale abaayisiddwa

Yabadde ayanukula ebbaluwa eyamuwandiikiddwa sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga ng’amusaba abeeko ky’akola ku basajja be ab’ebyokwerinda (Kadaga) be yagambye nti baatulugunya ababaka ba palamenti abaali mu kibuga Arua.

‘’Ndi musanyufu olw’engeri ab’ebyokwerinda gye baakuttemu ensonga z’abeegunga n’abakola effujjo kuba baayambye nnyo okukuuma obulamu bw’abantu n’ebyabwe. Njagala okukasa eggwanga nti gavumenti ya NRM tejja kukkirizza bantu bakola ffujjo n’okukangakanga Bannayuganda nga bwe gwali mu Arua,’’ Museveni bwe yagambye.

Era n’ategeeza  nti kikyamu okukomekkerezza nti ab’ebyokwerinda baatulugunya abantu ng’okunoonyereza ku nsonga zino okwassibwawo omuduumizi w’amagye, Gen. David Muhoozi n’owa poliisi Okoth Ochola tekunnamalirizibwa.

‘’Tugira tulinda ebinaava mu kunoonyereza wadde nkimanyi nti abaserikale bakkirizibwa okukozesa amaanyi amatonotono okukwata ababa bawalira okukwatibwa n’okwerwanako singa baba balumbiddwa,’’ Museveni bwe yannyonnyodde mu bbaluwa.

Yagambye nti ensonga z’ababaka n’abantu abalala abaali mu mivuyo gya Arua ziri mu kkooti ng’amateeka gamukugira okuzoogerako era alina kusooka kulindirira binaava mu kkooti.

Kyokka yagambye nti oluseregende lw’emmottoka ze bwe lwakanyugirwa amayinja abajaasi abamukuuma tebazzaayo muliro mbagirawo kugwolekeza balumbaganyi.

 ‘’Kino kiraga nti ba mpisa. Era nga bino bye bibala ebivude mu myaka 48 egy’okutereeza eggwanga,’’ Museveni bwe yagambye.

N’agamba nti baamala kumutuusa ku nnyonyi nnamukanga n’alagira aba SFC okuddayo bakolagane n’abeebyokwerinda abalala okulwanyisa abakola effujjo basobole okukuuma obulamu bw’abantu n'ebintu  yabwe. Era wano abajaasi be we beegattira ku b’ebyokwerinda abalala okukola ku baali bakola effujjo.

E Mitayana Museveni yagambye nti aba poliisi mu kupapa baakuba amasasi mu takisi eyalimu abawagizi z'omupiira okukkakkana ng'abantu babiri bafudde era olwamanya ensobi yaabwe ne basuulawo emmundu ne badduka n'okutuusa kati bakyayiggibwa.

Yagambye nti mu kulonda kw’e Jinja East n’ekibuga Bugiri, waaliwo abakazi abaakubwa, ebintu ne byonoonebwa n’omuntu n’attibwa olw’efujjo ly’ebyokulonda eryakolebwa ababaka abamu na'abawagizi baabwe.

Yagambye nti kigambibwa nti abakozi b’effujjo (be yayise abatujju) baggyibwa mu Kampala ne batwalibwa mu bitundu awaba wagenda okulonderwa okukola effujjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda

Pep1 220x290

Gavt’ esuubizzaaba LCI obugaali...

Gavt’ esuubizzaaba LCI obugaali

Wet2 220x290

Abavubuka basabye Gavt. eyongere...

Abavubuka basabye Gavt. eyongere ku nsimbi z’ebawaGavt