TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Gav't etadde obukwakkulizo obupya ku baagala okugenda ebweru okujjanjabwa

Gav't etadde obukwakkulizo obupya ku baagala okugenda ebweru okujjanjabwa

By Muwanga Kakooza

Added 5th September 2018

GAVUMENTI essizza obukwakkulizo obulina okutuukirizibwa Bannayuganda abalwadde abaagala okugenda ebweru okujjanjabwa ka babe nga ssente ze bagenda okukozesa zaabwe nga ssi za gavumenti.

Uni 703x422

Minisita w'ebyobulamu, Ruth Aceng ng'aliko by'annyonnyola ku Media Centre mu Kampala

Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng yagambye nti abaagala okugenda ebweru okujjanjabwa ne bwe baba bagenda kwesasulira nga gavumenti ssi y’ebataddamu ssente kya tteeka nti  balina kusooka kukeberwa ku mukugu wa njawulo era ensonga zaabwe ne zikakasibwa akakiiko ka gavumenti akeekenneenya abaagala okugenda ebweru okujjanjabwa aka  ‘Uganda Medical Board.’

‘’Omulwadde alina kusooka kukeberwa omukugu ow’enjawulo  owa gavumenti ng’akolera mu ddwaliro ddene (referral hospital) okusingira ddala erya gavumenti. Bwe kiba tekisobose omukugu ali ku ddaala lya kakensa (consultant) mu ddwaliro ly’obwannannyini nga liri ku mutendera gw’eddwaliro eddene,’’ Aceng bwe yagambye.

Bino yabigambye bannamawulire ku Media Centre ng’ayogera ku kusika omuguwa okubaddewo ku by’okutwala omubaka w’e Mityana Francis Zaake n’owa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi okujjanjabwa ebweru wa Uganda.

‘’Tetuyinza kumala galeka buli muntu kumala gagenda kujjanjabwa bweru kuba gy’agenze basobola okwewuunya oba ddala mu Uganda tetulina bakugu bamala.

Era obukwakkulizo bugamba nti omulwadde bw’akomawo alina okulaga ebiwandiiko bya ssente n’obujjanjaba bw’afunye eri akakiiko k’ebyobujjanjabi aka gavumenti aka ‘Uganda medical board’ n’ebitongole gye bakolera.

Aceng yagyongeddeko nti akakiiko kano tekannafuna kusaba kwa babaka; Zaake ne Kyagulanyi ku bwetaavu bwabwe okugenda okujjanjabirwa ebweru w'eggwanga.

Aceng yategegeezezza nti akulira bambega ba poliisi, Grace Akulo ye yalagira Zaake ne Kyagulanyi okutwalibwa e Buyindi ne Amerika bajjanjabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”