TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Asse mukazi we abadde yaakafumbira emyezi 2 gyokka!

Asse mukazi we abadde yaakafumbira emyezi 2 gyokka!

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Lwekisugi mu ggombolola y'e Malongo mu disitulikiti y'e Lwengo omusajja bw'atemyetemye mukazi abadde yaakamala mu ddya emyezi ebiri n'amalamu omusulo.

Funa1 703x422

Lauben Tumusiime , aduumira Poliisi y'e Katovu ng'ayogera n'abatuuze

Bya FLORENCE TUMUPENDE

Lamuweri Kizza ow'emyaka 32 y'asse mukazi we Eva Tumusiime (17) ng'ono abadde takimanjyiddwa wa yamuwasizza nga n'abooluganda lwe  tebannazuulwa.

Ettemu lino abatuuze balitadde ku njaga n'omwenge ssemaka ono by'abadde akozesa n'assa omukazi ku bunkenke wamu ne nnyina amuzaala gw'abadde yeewerera okumutta ave mu nnyumba ya kitaawe ye agibeeremu ne mukazi we kuba akooye okusula mu nnyumba y'essubi.

 Ennyumba ya Nyamwanza, mutabani gy'abadde ayagala okwezza

MAAMA W'OMUTEMU AYOGEDDDE

Elvaster Nyamwanza (70) bakira akaaba bw'alaajanira poliisi emutaase eyigge mutabani we naye attibwe ng'agamba nti awatali ekyo waakukomawo naye amutte nga bwe yakoze mukazi we kuba yamwegezaamu dda.

Nyamwanza ategeezeza nga abakakiiko k'ekyalo bwe baamukoowa olw'emisango gy'atwalayo buli olukedde ng'awawaabira mutabani we abadde amwagaliza entaana kyokka n'atafuna kuyambibwa kwonna.

 batuuze nga balaga ennyumba mwe yattidde mukazi we Abatuuze nga balaga ennyumba mwe yattidde mukazi we

Agaseeko nti yakomye okulaba mutabani we eggulo ku Lwokusatu ku ssaawa nga 3:00 ez'ekiro ng'amaze okumutulugunya (mukazi we) n'amuwa ekyeggulo wabula mu kufuluma yamusabye ekintu kimu amubuulire wa gye yejje omukazi n'amuboggolera nti oba ye bwe yali agenda okufumbirwa kitaawe yasooka kweyanjulira nsi yonna ng'ajja mu ddya!.

     amuweri izza nga bwafaanana adduse ku kyalo oluvannyuma lwokutugumbula mukazi we Lamuweri Kizza nga bw'afaanana. Yadduse ku kyalo oluvannyuma lw'okutugumbula mukazi we

Poliisi y'e Katovu ng'ekulembeddwaamu omuduumizi waayo, Lauben Tumusiime alabudde akakiiko k'ekyalo akataafaayo kuyamba Maama aludde ng'akaloopera ebya mutabani we n'asaba aba LC okutereera bakole emirimu gyabwe.

   lvaster yamwanza maama wa amuweri eyasse mukazi we Elvaster Nyamwanza maama wa Lamuweri eyasse mukazi we

Tumusiime ategeezezza nga bwe batandise omuyigo gw'okunoonya omutemu avunaanibwe emisango egyamugguddwaako ku fayiro nnamba CRB187/2018 kyokka n'asaba abatuuze okusuza Maama w'omtemu si kulwa ng'akomawo n'amutuusaako obulabe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.