TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ofiisa wa poliisi atuuyana lwa bbiriyooni 100 ezaabula

Ofiisa wa poliisi atuuyana lwa bbiriyooni 100 ezaabula

By Joseph Makumbi

Added 7th September 2018

DAYIREKITA w’ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku kugula ebikozesebwa poliisi n’okuzimba, AIGP Godfrey Bangirana atuuyana bwe zikala olwa Kaliisoliiso wa Gavumenti okutandika okumunoonyerezaako ku ssente bbiriyooni 100 ezigambibwa nti zaabulankanyizibwa mu kitongole ky’akulembera.

Unity 703x422

AIGP Godfrey Bangirana

Ensonda mu ofiisi ya Kaliisoliiso, zigamba nti ssente zino ezimu zaabulankanyizibwa mu kuzimba ekizimbe kya poliisi ekipya e Nateete.

Ekizimbe kino, kyali kibaliriddwa okuwemmenta bbiriyooni 7 n’obukadde 800 nga kisuubirwa nti, bwe ziba zeeyongeddemu, tekijja kusussa bbiriyooni 10 wabula kyagenze okuggwa nga kiwemmense bbiriyooni ezikunukkiriza 50.

Ensonda zaagasseeko nti, waliwo n’ennyonyi ya poliisi ekika kya Bell 206B enkola y’Omumerika etuuza abantu omusanvu, Gavumenti gye yagula mu 1986 n’ekwama mu 2002.

Eno ekitongole kyagyonoonerako bbiriyooni 10 okugiddaabiriza. Kigambibwa nti, ekitongole kyasasula kkampuni ya Yamasec bbiriyooni 10 okuddaabiriza ennyonyi eno.

Ennyonyi empya egula wakati wa ddoola 900,000 ne 1,200,000 (mu za Uganda wakati wa 3,240,000,000/- ne 4,320,000,000/-) ekitegeeza nti, ssente ezaakozesebwa okuddaabiriza ennyonyi emu, zaali zisobola okugula ennyonyi empya endala bbiri.

Ennyonyi eno, ekitongole Bangirana ky’akulembera kyagikwasa kkampuni ya Yamasec mu 2016 n’ekomezebwawo nga May 31, 2018 ng’emaze okuddaabirizibwa kyokka n’olunaku lwe baagikwasa poliisi, katono eremererwe okusituka.

Okuva lwe yaddizibwa poliisi, kigambibwa nti yaakakozesebwa emirundi ebiri gyokka era abakulira ebyentambula mu poliisi baalagira obutaddamu kugikozesa olw’okutya nti eyinza okutta abantu.

Ebirala ebinoonyerezebwako mulimu ssente ezibanjibwa abaali bawa poliisi emmere ezisoba mu bbiriyooni 30, ez’okugula amafuta ga poliisi n’endala nga zonna awamu ziri bbiriyooni 100.

Omwogezi wa ofiisi ya IGG, Ali Munira yakakasizza nti balina bye banoonyerezaako mu kitongole kya poliisi ekikulemberwa Bangirana kyokka teyalambuludde bisingawo.

Bangirana bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti, yabadde tannategeezebwako nti waliwo ensonga ze bamunoonyerezaako n’ekitongole ky’akulembera.

Guno si gwe mulundi ogusoose Bangirana okuyingizibwa mu mivuyo nga gino. Mu September w’omwaka oguwedde, ye n’akulira abakozi mu poliisi Haji.

Moses Balimwoyo baayitibwa okweyanjula mu kitongole kya poliisi ekikwasisa empisa ekya PSU e Bukoto bakiyambeko mu kunoonyereza ku buli bw’enguzi n’okukozesa obubi ofiisi zaabwe.

Bangirana baali bamunoonyerezaako ku ngeri ekitongole kye gye kyali kigulamu ebikozesebwa poliisi omuli n’ebimotoka bya ttiyaggaasi ate Balimwoyo baali bamubuulirizaako ku ngeri gy’awandiikamu abayingira poliisi.

Waaliwo okwemulugunya ku baali bayingiziddwa mu poliisi okukola kkoosi ya ‘Cadet’ nga kigambibwa nti abasinga tebaalina biwandiiko bituufu ekibaleetedde n’okulwawo okukakasibwa mu poliisi, kati omwaka mulamba n’omusobyo.

Eyali omuduumizi wa PSU mu biseera ebyo, Joel Aguma yakakasa nti baali bayise badayirekita ba poliisi ababiri babayambeko mu kunoonyereza.

Ate omwogezi w’ekitongole kino, Vincent Ssekate naye yategeeza nti, baali banoonyereza era baali bataddewo ebibinja bibiri okunoonyereza mu bitongole byombi.

Kino, kyaddirira ekiragiro ky’eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura kye yawa bwe yali e Kigo mu kukakasa abaserikale abaali bamaze okutendekebwa n’alagira abaserikale ku kitebe kya poliisi e Naggulu banoonyerezebweko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”