TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Kkooti y'amagye e South Sudan esingisizza abajaasi baayo 10 emisango gy'okukaka abakazi akaboozi

Kkooti y'amagye e South Sudan esingisizza abajaasi baayo 10 emisango gy'okukaka abakazi akaboozi

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2018

Kkooti y'amagye e South Sudan esingisizza abajaasi baayo 10 emisango gy'okukaka abakazi akaboozi

P06kdmm4 703x422

Abajaasi b'eggye lya South Sudan nga basimbiddwa mu kaguli

KKOOTI y’amagye e South Sudan esingisizza abajaasi kkumi emisango gy’okukaka  abakazi abagwiira bataano akaboozi, n’okutta munnamawulire w’omu ggwanga eryo mu kulwana okwali mu kibuga Juba mu July 2016.

Omulamuzi Knight Baryano Alams yagambye abawawabirwa basingiddwa emisango gy’okukwata abakazi,obutemu, okubba n’okwonoona ebintu.

Omu ku bawawabirwa yatereddwa,kyokka ng’omu ku baduumizi abaliwo nga bino bikolebwa yafiira mu kkomera omwaka oguwedde.

Okulwanagana kwabalukawo e Juba oluvannyuma lwa Pulezidenti wa South Sudan Salva Kiir okufuna enjawukana n’eyali omumyuka we Reik Machar  mu July 2016.

Mu kulwanagana kuno amagye ga gavumenti gaalumba woteeri emanyiddwa nga Terrain Hotel eyalimu abagwiira nga 50 ab’ebitongole ebitali bimu ne bakola ebikolobero.

Nnyini woteeri, Omungereza Mike Woodward yategeezezza kkooti nti woteeri yalumbibwa abajaasi abaali wakati wa 50 ne kikumi ne bakola efujjo. Abajaasi bano abamu baagenda mu bbaala abalala ne bagenda mu bifo ebisuulwamu ne bakola effujjo.

Woodward yagambye nti abajaasi baakwata abakazi nga bataano, ne batta munnamawulire,okukuba omukozi Omumerika essasi,  n’okutulugunya buli muntu eyali mu woteeri.

Abaali mu woteeri baakubira eggye ly’amawanga amagatte erikuuma emirembe eryali mu kitundu ne litafaayo.

Ekitebe ky’amawanga amagatte mu kiseera ekyo kyalina abakozi 13,000 abaali mu yinifoomu kyokka nga tebalina bukulembeze bulungi ekyaleeta embeera okwongera okusajjuka.

Eyali aduumira abajakuumi bano nga Munnakenya yagobwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10