TOP

Ebya Bobi Wine bituuse mu Palamenti ya Bungereza

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2018

ENSONGA za Bobi Wine bazitutte mu Palamenti ya Bungereza. Omubaka Dr. Paul William olwakutte omuzindaalo n’ategeeza Sipiika nti ebyatuuse ku mubaka Robert Kyagulanyi (Kyaddondo East) bitiisa n’asaba Bungereza esitukiremu okutaasa ababaka b’amawanga agali mu luse olumu nabo.

8 703x422

Bobi Wine ne looya we

Yagambye nti Bobi Wine baamukutte ne bamuggalira n’atulugunyizibwa ate nga guno si gwe mulundi ogusoose nga kibeerawo mu Uganda.

Yajjukizza nti omwaka oguwedde omubaka Betty Nambooze (Mukono Municipality) yakubirwa mu palamenti n’okutuusa kati akyanyiga biwundu.

Yasabye gavumenti ya Bungereza esitukiremu okulwanirira ababaka b’amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza basabe ekibiina ky’amawanga amagatte okuyingira mu nsonga za Bobi Wine okulaba nga zigonjoolwa.

Guno si gwe mulundi ogusoose nga Dr. William atwala ensonga za Uganda mu palamenti ya Bungereza.

Mu April w’omwaka guno nga bali mu luku- ηηaana lwa CHOGM e Bungereza, yasituse n’ategeeza palamenti nga ne Pulezidenti Museveni mwali nti, obukulembeze obulungi buzingiramu ebintu bingi omuli n’okuleka ofi isi abalala ne bakwatamu.

Bino byabadde bigenda mu maaso e Bungereza, nga Bobi Wine ali mu Amerika atuuzizza oluku- ηηaana lw’abaamawulire mwe yayogeredde ku nsonga nnyingi ne ky’ategeka okuzzaako.

Yalutuuzizza Washington DC gy’ali mu kujjanjabibwa era yalugenzeemu ne munnamateeka we Omuzungu Robert Amsterdam. Yaweze nti ateekwa okuwangula olutalo lw’okulwanirira eddembe waakiri okufa.

Yabadde ayambadde ekkooti nga tasibye ttaayi ne ku mutwe ng’ataddeko akakoofi ira akamyufu. Yazze atambula asimba omuggo gw’abalema mu mukono gumu.

Olwatandise okwogera n’ategeeza nti yabadde ajeemedde ebiragiro by’abasawo n’abooluganda lwe abaabadde bamugaanye okwogera olw’embeera y’obulamu bwe.

OBULAMU BWE N’EBISAGO EBYAMUTUUSIBWAKO

“Tulina okutereeza eka tutereeze ebyobulamu abantu bafune obujjanjabi obwetaagisa nga tetulina kutambula kugenda mu mawanga amalala okubufuna.

Nze nnina omukisa okujja mu Amerika ne nfuna obujjanjabi naye abantu bangi abavundira mu malwaliro nga tebafunye buyambi.

Nze sirina maanyi naye kye nnyinza okubakolera kwe kwogera ne ntuusa eddoboozi lyabwe ensi n’erimanya,” bwe yakkaatirizza.

EBY’OKUDDA E UGANDA

Bwe baamubuuzizza oba anaakomawo mu Uganda n’ategeeza nti ateekwa okudda mu Uganda kubanga lye ggwanga lye, talinaayo walala. Yazaalibwa mu Uganda era aziikibwa mu Uganda.

Okubeera mu Amerika nakyo nkitwala ng’okutulugunyizibwa kubanga sisobola kulaba ku famire yange n’abaana bange.

OKUMUTULUGUNYA

Bwe baamubuuzizza ku misango gy’okulya mu nsi olukwe, looya we Amsterdam n’ayingirawo n’ategeeza nti bino kkooti yagaanye okubyogerako kubanga emisango giri mu kkooti.

Wabula yamutegeezezza nti kino tekiri ku Bobi Wine ng’omuntu naye kikwata ku bantu bonna kubanga okusinziira ku bizze bibeerawo buli Munnayuganda aswala.

“Kye twetaaga bwe bwenkanya kubanga tukimanyi nti abantu bonna benkana mu maaso g’amateeka era tusaba okulaba ng’obwenkanya buno tubufuna.

Gavumenti eby’okugamba nti temutulugunyangako yagambye nti nkola ya gavumenti okutulugunya abantu ne bamala ne babyegaana.

‘‘Si nze nsoose okutulugunyizibwa, Abasiraamu mubalabye nga batulugunyizibwa, abantu bangi bavundira mu makomera ne mu malwaliro.”

Bino yabyogedde nga bw’awanika ebibatu okulaga abantu emikono egiyubuse. Mukyala wange alina ekibiina ky’obwannakyewa kati Gavumenti erowooza mwe bayisa ssente ekintu ekitali kituufu’’.

KY’AYAGALA AMERIKA EKOLERE UGANDA

Olwamubuuzizza kiki ky’ayagala abalwanirizi b’eddembe mu Amerika bakolere Uganda n’ayanukula mangu nti; “Nsaba muyimirire wamu n’abanyigirizibwa so si ababanyigiriza.

Omubiri gwange mugulaba gujjudde enkovu ako kabonero naye nze nkyali mulamu, olususu luyubuka naye ndi mulamu,” bwe yayongeddeko.

Yeebazizza Pulezidenti Museveni nti abadde musaale okulwanirira okuzza emirembe mu Sudan ne Somalia.

Yagambye nti embeera ng’egenda eyonooneka Amerika teyinza kusirika n’asaba gavumenti ya Amerika esibe obuyambi bw’ebadde ewa Uganda mu byamagye n’ebyokulwanyisa.

Tetuyinza kusirika nga ssente z’omuwi w’omusolo obukadde bwa ddoola 500 tuziwa Uganda kyokka ng’eddembe lityoboolwa’’. Yatiisizza okutuusa obubaka bwe bumu mu bayinvesita abajja mu Uganda okuteeka ssente mu mafuta.

“ Kye twetaaga okumanya nti abantu 33 abaakwatibwa mu Arua bayambibwa, bw’olaba ebigenda mu maaso mu Ethiopia omanya nti Uganda yeetaaga okuddayo ku nkola ey’okuzza emirembe abantu bafune obwenkanya,” Amsterdam bwe yayongeddeko.

GAVUMENTI EYANUKUDDE

Omwogezi wa Gavumenti, Ofwono Opondo yategeezezza nti, Katikkiro wa Bungereza Thereza May yakyogera nti Dr. Paul William by’ayogera tabimanyi.

Bwe bibeera nga bituufu alina kuwandiikira Sipiika wa palamenti ya Bungereza oba gavumenti ya Bungereza ne bategeeza gavumenti ya Uganda.

Dr. William ky’agezaako okukola ayagala butaala n’okubeera ng’alabikira mu mawulire kye kimwogeza amafuukuule.

Ku bigambo Bobi Wine bye yayogedde Opondo yagambye nti Bobi Wine akomewo eka ensonga azitwale mu kkooti.

Yayongeddeko nti ebyokusaba ensi z’ebweru zimme Uganda obuyambi tebitandise na Bobi Wine nti n’abanene abaali bamusinga baalinga Dr. Paul Kawanga Ssemogerere baakigezaako kyokka tekyakola.

UPDF KY’EGAMBA

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yatageezezza nti ensonga zaabadde mu palamenti wiiki eno era Katikkiro wa Uganda Ruhakana Rugunda n’ategeeza gavumenti weeyimiridde.

Rugunda yategeezezza nti lipooti eyakoleddwa akakiiko erimu kyekubiira kubanga akakiiko tekaatuuka Arua awaali akavuyo ne pulezidenti Museveni gwe baayasiza emmotoka tebaamubuuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda