TOP

Ssemaka e Lweza attiddwa mu bukambwe ne mutabani we

By Patrick Tumwesigye

Added 12th September 2018

Henry Kanywamusaayi 58, eyali omukungu wa kkampuni y'essimu eya UTL attiddwa mu bukambwe ne mutabani we Emma Kanywamusaayi ow'emyaka 20 ne baleka abalala babiri nga bapooca n'ebiwundu.

University 703x422

Bano baasangiddwa mu maka gaabwe e Lweza B mu Makindye Ssaabagabo.

Abatemu okutta abantu bano, baalinnye ekikomera ky'awaka ne bagwa munda ne baggula enzigi ku ssaawa nga 8:00 ez'ekiro ekyakeesezza Olwokubiri.

Abatemu baatuukidde mu kisenge omwabadde taata n'ekya mutabani we ne batandika okubatema.

Nnamwandu Jane Kanywamusaayi, yategeezezza nti yabadde mu tulo mu kisenge kya wansi nawulira nga mutabani we Emma Kanywamusaayi alaajana.

Amangu ago yagenze okuwulira nga waliwo okulwanagana okw'amaanyi.

Nnamwandu agamba nti bakira ababbi basaba buli omu ssente nga kwe batadde okubatema ebijambiya, okubakuba empi n'ensambaggere nga bababuuza lwaki temuli ssente mu nnyumba.

Olwavudde eyo, abatemu baalumbye ekisenge omwabadde muwala we Dorah Kanywamusaayi ne bamukuba bubi oluvannyuma ne bamutuukako naye ne bamuyisaamu empi n'ensambaggere nga bwe babaggyako ssente zonna ne bwe ziba za binusu.

Oluvannyuma baatutte amasimu gonna, ne ttivvi. Ebikwata ku Kanywamusaayi Kyategeerekese nti Kanywamusaayi yali yadduka awaka oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne mukyala we n'agenda ew'omukyala omulala e Ntebe gy'abadde abeera.

Wabula wiiki nga emu emabega, abadde yakomawo awaka nga kiteeberezebwa okuba nga yali afunye obutakkaanya ne mukyala muto gy'abadde abeera.

Abamu ku batuuze bategeezezza nti engeri Kanywamusaayi gye yagendanga ebweru, abatemu kyandiba nga baalowoozezza nti ebbanga eryo ly'abadde taliiwo abadde bweru era nga basuubira nti yabadde akomyewo ne ssente.

POLIISI ky'etuuseeko

Poliisi e Kajjansi yaleese embwa ezikonga olusu ne zisibira mu muzigo ogubadde gupangisibwa abavubuka bana abatuuze be bamanyiiko nga Wasswa ne Kato n'abalala poliisi n'ebakwata n'ebatwala ku poliisi okubayambako okubuuliriza.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire ategeezezza nti abatemu abasse omwana ne kitaawe, tebaabadde ba bijambiya wabula kiteeberezebwa okuba nga baabakubye butayimbwa na miggo.

Akakasizza okukwatibwa kw'abantu bana n'atayatuukiriza mannya olw'obutataataaganya kunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda