TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omuzungu abadde akolagana ne Bobi Wine bamugobye mu Uganda

Omuzungu abadde akolagana ne Bobi Wine bamugobye mu Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

Omuzungu abadde akolagana n’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bamugobye mu Uganda.

Mzungu 703x422

Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) n’Omuzungu Jackie Wolfson.

Bya MARTIN NDIJJO, MARGARET ZALWANGO NE PETER SSAAVA

Jackie Wolfson nnannyini kibiina ky’obwannakyewa ekya ‘Shule Foundation’ ye yagobeddwa mu Uganda oluvannyuma lw’okukwatibwa ab’ebyokwerinda ku bigambibwa nti yabadde talina mpapula zimukkiriza kukolera mu Uganda.

Ofwono Opondo, omwogezi wa gavumenti yakakasizza ekya Wolfson okuzzibwa mu Amerika gye bamuzaala era ono agamba nti kino kyavudde ku Wolfson kumenya mateeka agafuga abagwiira abakolera mu Uganda bwe yatandika okukolera kuno nga tafunanga lukusa okuva ku minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga.

Ofwono yannyonnyodde nti, Wolfson yajja mu ggwanga mu 2014 ng’omulambuzi era abadde atera okufuluma nga bw’akomawo kyokka mu kunoonyereza okubadde kukolebwa ono baakizudde nti abadde alina emirimu gy’akola kuno ng’ayita mu kibiina kye ekya ‘Shule Foundation’.

Wolfson yatikkiddwa ku nnyonyi ya KLM era mu Uganda yavuddemu ku Ssande ku ssaawa 5:45 ez’ekiro.

Abakungu ba gavumenti bazze beemulugunya ku bibiina by’obwannakyewa bye balumiriza okuteeka ssente mu booludda oluvuganya gavumenti.

Wolfson abadde mukwano gwa Bobi Wine era babadde batera okwetaba ku mikolo bombi.

Baasemba okulabwako bombi ku kivvulu kya Chaka Chaka ekyali ku wooteeri ya Serena mu Kampala mu gwomusanvu omwaka guno.

KANYAMA WA BOBI BAMUVUNAANYE

Kkooti eggulo yagaanye okuyimbula kanyama wa Bobi Wine n’emugatta mu babaka ba palamenti n’avunaanibwa gwakulya mu nsi lukwe.

Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe yasimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Ggulu n’aggulwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe.

Ne ddereeva w’ekimotoka ki guleeda ekyali kisibiddwaako obuwero obumyufu ekigambibwa nti kye kyasooka okukola akajagalalo Musa Ssenyange naye yavunaaniddwa wamu ne Ssebuufu nga baagattiddwa ku babaka ba palamenti abataano ssaako abantu abalala 27.

Omulamuzi Musa Ssekaana owa kkooti enkulu ewulira emisango gy’engassi ku Mmande yalagira Ssebuufu ayimbulwe awatali kakwakkulizo wabula omuwaabi wa gavumenti Julius Ochen yategeezezza omulamuzi Yunus Ndiwalana nti ekiragiro ekyayisibwa kyali kiragira ayimbulwe okuva mu kaduukulu gye yali aggaliddwa mu bukyamu.

Puliida wa Ssebuufu Tonny Kitara yatageezezza omulamuzi nti abebyokwerinda be balemesa ekiragiro kya kkooti eky’okuyimbula Eddy Mutwe nga kino kirinnyirira eddembe ly’omuwawaabirwa.

Ate e Kamwokya, poliisi yagobaganye ne bannabyabufuzi wamu n’abavubuka ba Ghetto aba ‘People Power’ abaatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire poliisi lw’eggamba nti lwabadde lumenya mateeka.

Olukiiko luno lwakulembeddwa omuyambi wa Loodi Meeya, Aidah Nakuya ne Vincent Ssemanda akulira abaana ba Ghetto e Kamwokya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 220x290

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula...

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya...

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfiira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...