TOP

Kirumira atambudde aleka omukululo yonna gy’ayise

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

OLUGENDO lw’obulamu bwa Kirumira alutambudde nga kkovu. Buli w’ayise aleseewo omukululo! Ng’otunudde mu Kampala n’emiriraano ebifo wonna waakoledde alese abaagala emirembe n’amazima bamuyaayaanira so ng’abakola ebikyamu bamwasimula bugolo.

Be 703x422

Omugenzi Kirumira (ku ddyo) lwe yakuba olukung’aana ku katale e Nakulabye mwe yayitira eyali mukama we Andrew Felix Kaweesi (ku kkono) okumutegeeza ebizibu ebiri mu kitundu n’engeri gye yali atandise okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

Yasooka kuweerereza ku Kampalamukadde. Wano we yava ne bamusindika ku kisaawe e Nakivubo n’oluvannyuma ne bamuzzaayo ku kitebe e Kampalamukadde.

Olwamukuza n’afuna ejjinja ne bamusindika e Nakulabye. Eno gye baamuggya ne bamutwala mu Kisenyi wuuyo Kikaaya, Kisaasi n’asibira e Nansana.

Yonna gy’ayise ng’akugamba nti ye si muntu wa ofi isi ayagala kukola bikwekweto era ng’ebiseera ebisinga abeera agobagana n’abamenya amateeka.

E Kampalamukadde yali ku ddaala lya wansi kyokka mu 2016 baamulonda okuduumira poliisi eno.

Okuweebwa obuvunaanyizibwa buno baamuggya Bwera mu disitulikiti y’e Kasese okumuzza mu Kampala.

Eno yatwalibwayo mu March 2015 ng’amaze okukuzibwa okutuuka ku ddaala lya Inspector Of Police (IP).

Okutwalibwa e Kasese yali yaakava mu kwongera okutendekebwa mu Uganda Junior Command and Staff College mu Gaddafi Barracks e Jinja okumala omwaka mulamba mu 2014.

Wano Kirumira yali afulumizza ebigambo ng’ategeeza nga bwe waliwo ababbi poliisi be yali ewa emmundu n’obukuumi.

Ng’amaze okukkalira mu ofi isi y’omuduumizi mu 2016 ku Kampalamukadde, yatandikirawo okufufumya abakyamu okutuusa lwe yakola ekikwekweto n’akwata amasimu mangi ku kifo ekimu kati awali Ham Shoping Ground e Nakivubo.

Olwakwata amasimu n’ayisa ekirango nti abantu abaabulwako amasimu gaabwe bagende n’obukakafu bazibaddize.

Kigambibwa nti gano gaalimu omuntu eyagalinamu omukono era kye kyamuviirako ebizibu Omugenzi Kirumira (ku ddyo) lwe yakuba olukung’aana ku katale e Nakulabye mwe yayitira eyali mukama we Andrew Felix Kaweesi (ku kkono) okumutegeeza ebizibu ebiri mu kitundu n’engeri gye yali atandise okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

Kirumira ng’alaga abamu ku bavubuka be yakwatira mu Kisenyi. ne bamusindiikiriza okuva mu Kampala okumutwala e Buyende gy’avudde ng’awerennemba n’emisango mu kkooti ya poliisi ne batuuka n’okuttukiza gye yakola emabega mu myaka egyayita ng’ogw’okukuba abantu e Nansana n’okubba Rolex.

 irumira ngalaga abamu ku bavubuka be yakwatira mu isenyi Kirumira ng’alaga abamu ku bavubuka be yakwatira mu Kisenyi.

E NAKULABYE

Mu 2012, Kirumira yatwalibwa e Nakulabye okukulira poliisi yaayo ng’ava ku kitebe e Kampalamukadde. We yatuukira mu kitundu kino ng’obubbi be baana baliyo. Bamalaaya nga beegiriisa mu bifo nga Eliot ne Kifamba.

Abakola ebicupuli ng’eno we wali amakanda gaabwe nga n’ebbaala zirimu abazina ebimansulo.

Yatandika okulwanagana n’emize gino wakati mu kusimbirwa amakuuli. Musa Zimbe ssentebe wa LCII e Nakulabye agamba nti ekiseera Kirumira we yabeerera e Nakulabye abantu baafuna eddembe ne beebaka ku ttulo.

Wabula agamba ekyassizza Kirumira kwe kubeera omwerufu nga buli kintu ayagala kitambulire mu musana.

‘‘Ng’ali mu kitundu kyaffe yakola ebikwekweto n’akwata bamalaaya n’ababbi so nga waaliwo abaali bafuna mu bikolobero bino.

Ekyasinga okuleeta obuzibu abaali bafuna mu bikolobero bino, baali basobola okutuuka mu bakulu ne batandika okumulimirira okutuusa lwe baamukyusa n’okumuteekako emisango era nze nali omu ku baagenda mu kkooti okumweyimirira.

Ekiseera ekyo Kirumira bwe yafuna okuwakanyizibwa okuva mu bantu abaali babikkirira abakyamu nga kuliko n’abakulembeze.

Yatuuza enkiiko z’ekyalo okusomesa abantu n’okubategeeza emirimu nga bwe gitambula mu kitundu.

Olumu yayita mukama we Andrew Felix Kaweesi (omugenzi) ekiseera ekyo ye yali aduumira poliisi mu Kampala ne batuuza olukiiko olunene ku katale e Nakulabye’’.

MU KISENYI

 irumira abadde yeesiga emisinde ngabamenyi bamateeka abeegobera Kirumira abadde yeesiga emisinde ng’abamenyi b’amateeka abeegobera.

 

Mu 2013, Kirumira ye yali akulira poliisi ya Muzaana mu Kisenyi. Yafufumya abanywa n’abatunda enjaga era yabakwata. Olumu yakola ekikwekweto n’asula ng’asattiza abantu mu Kisenyi.

Yalina abavubuka ba Crime Preventer be yakolanga nabo. Mu February 2013, yakola ekikwekweto n’agenda ng’afuukuuza ebifo eby’enjawulo oluvannyuma n’asibira ku Hanz Pub ku Lubaga Road.

Olwayingira eyali ku muzindaalo n’abagamba nti Kirumira wuuyo, abaali banywa, abanyumirwa ekidongo ne bamalaaya abaali mu nkuubo buli omu n’anoonya we yeekukuma.

Abamu baalinnya ku mabaati g’obuyumba obuliraanyewo ne babuuka okugwa wabweru basegulire ekibabu, eggiraasi n’obutebe byayatika kyokka newankubadde yabagugumula yavaawo nga takutte muntu n’omu.

Abaali batunda amayirungi yabasattiza kubanga bangi baateekangawo ekiveera ky’amayirungi ge bamanyi nti tebagakwatira kyokka nga munda mulimu enjaga okwali n’ey’obuwunga gye banuusa nga bagyokera ku kipapula ekimasamasa kye bayita Fayiro.

E KISAASI

Wakati wa 2014 ne 2015 Kirumira yali ku poliisi y’e Kikaaya ng’atwala n’ebimu ku bitundu by’oluguudo lwa Northern Bypass.

Olwatuukayo nabo n’abalaga obukodyo. Olumu yayambala ekikooti n’avuga akagaali ku luguudo, abavubuka abaali bateega abantu ku kkubo okunyaga amasimu baamwekangiranga awo ne babuna emiwabo kyokka bangi yabakwata kubanga yavuganga akagaali nga kabangali ya poliisi emuwondera.

Yabeeranga ne ffi rimbi ku mumwa gye yafuuwanga okuyita banne nga ye bw’asotta akagaali.

Mu bimu ku bikwekweto abantu b’ekitundu kino bye bamujjukirako kyekyo kye yakola nga yeeyambisa abakulembeze b’e Kikulu e Kisaasi ekikulemberwa Isma Bukenya n’owebyokwerinda Saad Mubirula.

Saadi Mubirula owebyokwerinda mu Kikulu ekimu ku byalo ebikola Kisaasi agamba nti Kirumira bw’ayogera ku birungi bye yakola ng’omuserikale mu kumalawo n’okukyusa abamenyi bamateeka okuva ku muze guno tayinza kumala .

Agamba nti Kirumira waliwo olunaku lwe yabagolokosa mu kiro n’abasaba okufuluma amayumba gaabwe basobole okukuuma abatuuze. Era mu kiseera ekyo baasobola okusimba ennyiriri ne batandika okunoonya abamenyi b’amateeka okukomekkereza nga baliko be bakukunudde mu ttanuulu mu bisenyi.

Toyinza kwogera ku bitundu Kirumira mw’akoledde mu Kampala n’olekayo Nansana gye yafunira ebirungi n’ebizibu omwali n’omusajja eyamulumiriza okumutemako engalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...