TOP

Abasiraamu batadde akaka mu kusaala

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2018

ABASIRAAMU baatadde akaka mu kusabira eggwanga olunaku lw’eggulo. Okusaala kwabadde mu Mizikiti egy'enjawulo mu ggwanga. Kuno kwabaddeko Old Kampala, Nakasero, Kibuli, Wandegeya n’emirala.

Saala 703x422

Sheikh Muzaata, Omulangira Nakibinge (wakati) ne Hajji Musa Katongole.

Baategeezezza nti ekigendererwa ky’okusaala kuno mwabaddemu okusabira bannaabwe abattibwa, abakwatibwa nga tebalina misango, abatulugunyizibwa, abatuusibwako ebisago omuli abatemebwa n’ebijambiya n'obutayimbwa.

Ne Pulezidenti Museveni baamusaalidde atandike okulaba ebintu bo bye bagamba nti bye bituufu ave ku bamuwabya.

E Kampalamukadde, okusaala kwetabiddwaamu ne taata w'omugenzi Kirumira, Hajji Abubaker Kawooya Mulaalo, Mufti Mubajje gwe yasoose okwanjula mu Muzikiti n’alamusa ku Basiraamu.

Baalaze ennaku n’okunyolwa olw’okutemula munnaabwe ASP Muhammad Kirumira.

Mubajje yagambye nti okusaala kuno tebaakugenderedde kuggyako Gavumenti ya Museveni naye baagala edduwa eyambe Gavumenti ye okugiruhhamya.

Yagambye nti ebintu bingi ebisobye mu Uganda nga kati abantu babattira bwereere, babasibira bwereere nga kati ebitongole bya Gavumenti temukyali bwenkanya.

Eky’obutali bwenkanya yagambye nti, yakizudde bwe yabadde alambula amakomera bwe yasanze omuwendo gw’abasibe abalaajana nga bavubuka.

Abavubuka bano abali mu makomera baamutumye abagambire Gavumenti ekole ku bbula ly’emirimu.

Yabasuubizza nti ajja kuddayo ne balooya balabe bwe bayinza okubayamba. Kuno yagasseeko okugenda ne bannaddiini banne abeegattira mu 'Inter Religious Council' (IRC) buli omu alabe embeera gye balimu.

Yeewunyizza eky'okusanga mu bakwate abali mu makomera nga bangi Basiraamu n’agamba nti tawakanya nti, Abasiraamu tebazza misango naye kino kisusse kuba omuntu omu bw’atemulwa, bakwata Abasiraamu abasukka mu 100 ne yeebuuza nti bano beekobaana batya ne batta omuntu omu!

Okusaala Juma kwetabiddwaamu Abasiraamu abeegattira mu Sidiqua Foundation, eyali akulira Abatabbuliiki, Suleiman Kakeeto, Dayirekita wa Sharia Shiekh Yahaya Kakungulu, Ali Jjuma Shiwuyo eyasoose okutta akaka nti Gavumenti eyitirizza okutulugunya Abasiraamu.

Okuva e Kibuli Supreme Mufti, Sheikh Suleiman Ndirangwa nga ye yakulembeddemu okusaala Abasiraamu abazze battibwa yagambye nti tebakyalina ssuubi mu bitongole byakwerinda kuba Abasiraamu bazze battibwa mu bukambwe nga tewali annyonnyola.

Yagambye nti mu kiseera kino, byonna babikwasizza Allah y’aba alamula buli abatuntuza n’okubatulugunya.

Okusaala kwetabiddwaamu jjajja w’Obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge n’abalala.

E Nakasero, Juma yakulembeddwa Sheikh Mirad Kaluuma balumbye omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo olw’okubavumanga n’okubayisaamu amaaso ne bamulombeera dduwa Allah amusasule.

Bavumiridde eky'Abasiraamu abattibwa ne bategeeza nti buli abalumizza naye essaawa y’okusasulira by’akoze eri mu kkubo.

Okuvaako e Wandegeya Sheikh Shafik Mafu yagumizza Abasiraamu okugumira embeera mwe bayita n’abawa amagezi okunywerera ku Allah kuba y’akyusa buli mbeera.

Yagambye nti yadde bayigganyiziddwa nnyo abamu ne bafuna n’ekirowoozo ekiva mu Busiraamu, abakuutidde babe bagumu Allah ajja kutereeza embeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...