TOP

Bambega basonze ku basse Kirumira

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2018

BAMBEGA bongedde amaanyi okunoonyereza ku bigambibwa nti olukwe lw’okutta Afande Muhammad Kirumira lwalukibwa mu poliisi munda. Bafunye ensonga ttaano ez’amaanyi ezibatunuza ku ludda lwa poliisi nga yandiba nga ye yasibuka abatemu.

Genda 703x422

Omala lwe yeeyimirira Kirumira (ku kkono) mu kkooti ya poliisi. Wakati ye Moses Bigirwa.

Bino biddiridde bambega okusoma n’okwekenneenya ekiwandiiko Kirumira kye yabadde atwalira Pulezidenti Museveni.

Mu kiwandiiko kino alaga bwe yakoze okunoonyereza kumpi mu buli kitongole eky’amaanyi mu poliisi n’alaga ebizibu ebiriyo.

Kirumira abadde atwalibwa ng’omulabe eri boofiisa ba poliisi olw’engeri gy’abadde alondoola bye bakola n’abaanika.

Bambega balowooza nti bwe kiba kituufu ng’olukwe lulimu poliisi, lwandiba nga lwekuusa ku kutya nti ebiri mu kiwandiiko byabadde bigenda kubaleetera emitawaana okuva ewa Pulezidenti.

Kirumira yatemuddwa ku Lwomukaaga nga September 8, ng’ali n’omuwala Resty Nalinya Mbabaze e Bulenga.

Bukedde yafulumizza ku Lwokubiri ebimu ku biri mu kiwandiiko kya Kirumira okuli abaserikale okwekobaana n’ababbi ne babba abantu, okubawa emmundu n’ebirala.

Bino we bijjidde nga Kirumira yamala dda okwanika abanene mu poliisi era kigambibwa nti bye yayogera byavaako enkyukakyuka ezaakolebwa Pulezidenti mu poliisi.

Boofiisa be yakoonako abamu baakwatibwa ne baggalirwa mu kkomera ly’amagye e Makindye era ne baggulwako n’emisango okuli okuwamba abantu n'okukozesa ebyokulwanyisa by'amagye mu bukyamu.

Yeesiba ku Gen. Kale Kayihura nti obuvundu mu poliisi buva waggulu ku ntikko era Pulezidenti mu kugogola poliisi yatwaliramu ne Kayihura.

Boofiisa okuli Joel Aguma, Nixon Agasirwe, Abel Tumukunde, Among Kwarisiima, Benin Atwebembeire, James Magada ne Faisal Katende baakwatibwa ne baggalirwa ku misango gy’okuwamba bannansi ba Rwanda okuli Lt. Joel Mutabazi n'abalala e Kamengo mu Mpigi ne babazzaayo e Rwanda ku mpaka abamu ne battibwa.

Abalala abaakwatibwa abatannasimbibwa mu kkooti kuliko; Herbert Muhangi eyali aduumira Flying Squad, Martin Kimbowa, Moses Kasibante, Abel Kitagenda. Wabula amagye tegavangayo kunnyonnyola misango gye gabavunaana.

Mu kiwandiiko eri Pulezidenti, Kirumira ayogera ku bitongole okuli ekikwasiza empisa ekya Proffessional Standards Unit (PSU).

Kino yagambye nti omulimu gwe kisinze okukola gwa kukola fayiro ne bazitereka ne watabaawo kizikolebwako wadde okutwalibwa mu kkooti.

Okunoonyereza n’okukola lipoota ku baserikale abasiiwuufu b’empisa kukoma mu bigambo n’okutuukiriza oluwalo.

Kirumira yayogedde ku kitongole ekivunaanyizibwa ku ntambula y’ebidduka ekya Traffic ekikulirwa Dr. Stephen Kasiima mw’agambira nti kino abaserikale abakirimu abasinga tebalina bukugu.

Awa ekyokulabirako nti omuserikale agwanidde okukolera mu kitongole kino aba alina obukugu mu kuvuga emmotoka, ng'amanyi biki ebivaako obubenje n’obubonero bw’oku nguudo, okubaako ky’amanyi ku biki ebivaako emmotoka okufiira ku nguudo n’okukanika okutonotono.

Kyokka bangi ku bali mu kitongole kino tebakoma ku butamanya bintu bya nkizo nga bino wabula n’okuvuga emmotoka tebamanyi ne “driving permit” tebazirina.

Alumiriza nti bangi ku bano baabawa emirimu nga basinzidde ku mawanga si busobozi bwabwe.

Bano ayongera okubalumiriza nti baakozesanga kasiringi (break down) ya poliisi oba okupangisa kasiringi z’obwannanyini okukola ssente ezaabwe nga beefudde nti zigenda mu ggwanika ly'eggwanga.

Awa ekyokulabirako nti ssinga waliwo emmotoka gye balina okusika nga bakozesa kasiringi okuva ku Pride Theatre ku Namirembe Road okutuuka ku poliisi ya Old Kampala awo nga basaba wakati 100,000/- okutuuka ku 150,000/- ku lugendo olutaweza wadde kkirommita.

Ate okusika emmotoka okuva ku Ssaawa ya Kkwiini okutuuka ku CPS ng’awo basabawo 200,000/- ate okuva ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda ku nkulungo y’oku lw’e Jinja okutuuka ku poliisi ya Jinja RD olina kusasula 100,000/- awo nawo tewawerawo kkirommita.

OBUBBI BWA BODABODA

Kirumira alumiriza nti, akabinja ka Bodaboda 2010 akaali kaduumirwa Abudallah Kitatta gwe baakwata ne basajja be abalala 12 ne basimbibwa mu kkooti y'amagye ne bavunaanibwa emisango gy'okusangibwa n'emmundu, ebyambalo by'amagye, amasasi ebiteekeddwa okubeera eby'amagye gokka, ke kaali emabega w'obubbi bwa bodaboda. Era okuva lwe baakwata Kitatta ne basajja be, obubbi bwa bodaboda bwakendeera nnyo.

Obutonotono obukyaliwo, businga kukolebwa basajja ba Kitatta empulunguse abaasigala ebweru.

Mu kiwandiiko Kirumira era alumiriza abaserikale ba poliisi okwenyigira mu kuggyako baddereeva naddala abatakisi ssente nga bakozesa abakwasisa amateeka mu KCCA olwo bwe bamala ne bagabana. Abaserikale abamu baafuuka bagobi ba ddiiru.

Eriyo abakola bizinensi y’okusuubula n’okutambuza zaabu n’okyambako abamukukusa okuva mu mawanga g’omuliraano naddala Congo.

Bino bambega bwe baagasseeko eky’okuba nti abatemu baalabibwa nga bakozesa pikipiki ezeefanaanyiriza eza poliisi, bagamba nti kyetaagisa okwongera okukuba ttooci mu poliisi kubanga lipoota ya Kirumira ekola bubi boofiisa bangi ate nga balina obusobozi okumuzikiriza.

Okunoonyereza ku batemu kwabadde kussiddwaako ebitongole by’ebyokwerinda okuli poliisi, ISO ne CMI naye kati abaserikale ba poliisi bakenddeezeddwa ku buvunaanyizibwa mu kunoonyereza kuno okuggyako mukama waabwe amyuka omuduumizi wa poliisi Brig. Sabbiiti Muzei.

Ono y’akulira okulwanyisa ababbira n’okutemula nga bakozesa pikipiki. Wadde Muzei akulira poliisi, kyokka talina nnyo kakwate na bikolebwayo kubanga yaakaagendayo ng’ava mu magye.

Ekirala ekiyingizisa poliisi mu by’okutta Kirumira, ye musajja agambibwa nti ye yakoze olukwe nga yali akolera mu kitongole kya Flying Squad n’akwatibwa n’aggalirwa e Luzira ate oluvannyuma n’ateebwa.

Omusajja ono kigambibwa nti yali yasibibwa ku misango egyekuusa ku kubbisa emmundu n'obutemu.

Kirumira aludde ng’alumiriza omusajja ono mu bubbi n’obutemu era kigambibwa nti, Kirumira ye yavaako okumukwata n’okumuggalira.

Abasse Kirumira baakozesezza emmundu ekika kya IMI Galil eteri yaabulijjo kubanga ekozesa ebika by’amasasi ebisukka ku kimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo