TOP

Gavt. egabye kontulakiti z’okuzimba enguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2018

BANNAKAMPALA basabiddwa okubeera obulindaala olw’okutaataagana kw’entambula y’ebidduka olw’omulimu gw’okuzimba amataawo agayita waggulu ku nkulungo ya Queen’s Way.

Zimba1 703x422

Kino kiddiridde kontulakiti y’okukola omulimu guno okussibwako emikono ne kkampuni ya Shimizu-Konoike JV ku ddoola za Amerika obukadde 43 n’ekitundu n’eza Uganda obuwumbi 61 n’ekitundu.

Kkampuni eno yatandikiddewo okuteekateeka okukola amataawo gano agagendereddwaamu okukendeeza akalippagano k’ebidduka.

Ekitundu kino ekisoose kizingiramu okugaziya enkulungo ya Queen’s Way n’okugiteekako ebitaala n’olutindo okuyita abeebigere.

Minisita w’eggwanga ow’ebyenguudo Gen. Katumba Wamala mu kussa emikono ku ndagaano wakati wa kkampuni egenda okukola omulimu guno ku kitebe kya UNRA mu Kampala ku Mmande, yagambye omulimu guno gugenda kukosa abadda e Nsambya, enkulungo ya Shoprite ku Ntebe Road n’enkulungo ya Kitgum ne Garden City.

Olutindo oluyita ku nkulungo ya Clock Towers okuli ekitundu kya kkirommita, oluguudo lwa Queens Way oludda e Ntebe lwa kugaziyizibwako ekitundu kya kkirommita, okugaziya oluguudo oludda e Nsambya nakwo kitundu kya kkirommita, okugaziya oluguudo lwa Mukwano, okugaziya oluguudo lw’e Gaba okuva ku bitaala by’e Nsambya kkirommita emu n’ekitundu.

 inisita en atumba amala llen agina wakati nomu ku bakontulakita abaaweereddwa omulimu gwokukola enguudo namataawo Minisita Gen. Katumba Wamala, Allen Kagina (wakati) n’omu ku bakontulakita abaaweereddwa omulimu gw’okukola enguudo n’amataawo.

Pulojekiti eno ewomeddwaamu omutwe ekitongole kya Japan ekigabi ky’obuyambi ekya JICA, KCCA n’ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga ekya UNRA nga be bagivinaanyizibwako.

Mu kiseera kye kimu ekitongole kya UNRA kikakasizza endagaano ne kkampuni ya Arab Contractors (Osman Ahmed Osman & Co.) ya bbiriyoni za Uganda 195 okusuumusa oluguudo oluva e Masaka okudda e Bukakata oluwezaako kkiromita 41 lwonna okulukuba kkoolaasi.

Nate oluguudo lwa Rukunbgiri – Kihihi Ishasha okuli kkiromita 78 nalwo lwa kusuumusibwa okufuuka olwa kkolaasi.

Lwaweereddwa kkampuni ya China Henan International Corporatation Group Ltd ku bbiriyoni 207.

Allen Kagina akulira UNRA yagambye nti omulimu gw’okutandika okukola enguudo zino kututte ekiseera kiwanvu elw’enkaayana ezibadde ziri mw’abo ababadde bavuganya okuzikola ne kitwala obudde bungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte