TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Abattira ku pikipiki bakubye abawala 2 amasasi emisana ttuku! Gasseeko omu

Abattira ku pikipiki bakubye abawala 2 amasasi emisana ttuku! Gasseeko omu

By Sarah Zawedde

Added 19th September 2018

ABAZIGU b'emmundu bayingiridde edduuka eritunda emmere y’ebisolo ne bakuba abantu babiri amasasi, emisanattuku omu n’afiirawo ne bakuuliita n’obukadde bubiri. Bino byabaddewo ku ssaawa 9:00 emisana ku mayiro 8 ku lidda e Gayaza ku Lwokubiri.

Kika1 703x422

Maama w'omugenzi ku ssanduuko ng'ayaziina. Mu katono ye Sarah Nalubega eyattiddwa.

Abazigu baabadde ku pikipiki ezaabadde zeefaananyirizaako eza bodaboda ezitaabaddeko nnamba. Edduuka lye baayingiridde litunda mmere ya nkoko n’amagi eriyitibwa Kika feeds.

Ababbi bano bwe baamze okunyaga ssente baabadde bafuluma maneja w’edduuka, Cissy Namukana 24, n’alaya enduulu ng’asinziira mu mulyango, olwo ababbi ne bamukyukira ne bamukuba essasi mu kugulu n’agwa.

Mu kiseera kino, Sarah Nalubega 23, omutuuze w’oku munaana, eyabadde yeesuddeko akabanga, yalabye ebyabadde bigenda mu maaso naye n’alaya enduulu.

Ababbi baamutunuzzaamu emmundu ne bamukuba ebyasi ebyamukutte mu kifuba n’afiirawo. Namukana nga kati apooca ku kitanda e Mulago yatunnyonnyodde bwati ku bulumbaganyi buno:

“Zaabadde essaawa 9:00 ez'emisana abasajja basatu nga bambadde ebikooti ebiddugavu ne bayingira edduuka.

Beefudde abalamuza emmere y’e bisolo kyokka baabadde baakabuuza ebbeeyi, omu n’asikayo emmundu n’atulagira okuteeka emitwe wansi.

Nga ffenna tumalidde emitwe ku ttaka baatandise okuffeffetta buli kasonda awasuubirwa ssente. “Oluvannyuma baagenze mu dduloowa awaterekebwa ssente.

Baatandise okuzikuhhaanya nga bwe bazissa mu kisawo kye baabadde nakyo.

Olwo baatukyukidde ne batubuuza ssente endala gye ziri. Wano we baalabidde ensawo yange eyabadde okumpi ne dduloowa era muno , mwabaddemu emitwalo 8 n’endala ze saategedde muwendo ze nabadde naakatunda mu magi zonna ne bazitwala.

Oluvannyuma nga bamaze okutwala ensimbi eziwera obukadde bubiri, baat- Abattira ku pikipiki bakubye abawala 2 amasasi emisana utte n’ebiwandiiko byange eby'omugaso omuli ne Densite y’eggwanga.

 issy amukana yakubiddwa okugulu Cissy Namukana yakubiddwa okugulu.

“Nnagezezzaako okubeegayirira babinzirize. oluvannyuma baabinkasukidde nga batuuse ku mulyango. Nnabawereekerezza enduulu era eyabadde n’emmundu kwe kunkuba essasi ku kisambi ne liyitamu ne likwata oluggi.

Awo we nakomye okutegeera era nagenze okudda engulu nga ndaba abantu bakuh− haanye boogera nga bwe waliwo omuntu eyakubiddwa amasasi n’afiirawo.”

EYALABYE ABAZIGU ANNYONNYOLA

Allan Tumwesigye omutuuze w’oku Munaana ku lw'e Gayaza yategeezezza nti bangi ku bantu b’omu kitundu baalabye abazigu bano kyokka olwokuba baabadde n’emmundu, baatidde okubatambaala.

Tumwesigye ayongera n’agamba nti n’ekyakubizza Nalubega amasasi agaamusse ky’abadde kya kuwereekereza bazigu bano nduulu bwe baabadde bamuyitako. “Abazigu bano baakutte kkubo eridda e Kampala.

Pikipiki baagivugizza bumalirivu n’aba Poliisi abaabadde ku kabangali ya poliisi tebaasobodde kutegeera nti babbi. Ne Poliisi y’e Kasangati eyayanguye okulaba embeera ereese amasasi mu kitundu yagenze okutuuka nga bamazeemu omusulo.

Abatuuze baanenyezza Poliisi olw’okubakaza ne bakirako ababbi nga bababuuza kino na kiri omwabadde okubabuuza ekika ky’emmundu n’okubanenya lwaki tebabalaga bisosonkole bya masasi.

Jjajja wa Nalubega amanyiddwa nga Hilda Lukwago yagambye nti Nalubega abadde atera okumutuma okugula emmere y’enkoko kyokka ku luno Nalubega yabadde yaakava awaka amasasi ne gabwatuka.

Agamba nti yabadde agenda ku kkubo abamu ku bantu kwe kumutegeeza omuntu abazigu gwe bakubye amasaasi n’afiirawo. Wano we baamutegeerezza nga muzzukulu we Nnalubega bw’attiddwa era yagenze okutuuka ku mulambo nga ddala Nnalubega mufu.

“Muganda wange Kagezi Namazzi yattibwa na masasi kati ne muzzukulu wange wuuno afudde masasi,” Hilda Lukwago bwe yategeezezza wakati mu kusangula amaziga. Omugenzi alina oluganda ku Joan Kagezi eyali omulamuzi eyakubwa amasasi e Kiwaatule.

dduuka issy amukana mwakoleraEdduuka Cissy Namukana mw'akolera.

 

Omu ku bakungubazi ataayagadde kwatuukirizibwa mannya ge yategeezezza nga Hilda Lukwago bwe yali mukulu wa Joan Kagezi eyattibwa era omugenzi Nalubega, Kagezi yali naye amuyita jjajja.

Saul Semakula, nga ye ssentebe w’ekitundu kino, yategeezezza nti yasoose kulaba Nalubega eyabadde okumpi ne ofiisi ye etunudde obutereevu mu geeti ya jjajja we ng'ayokya kasasiro.

“Nasoose kusaagirira naye nga mmusaba ekyokulya n’antegeeza nti emmere eyidde agenda kundeetera,". Ssemakula bwe yagambye .

Yayongedde n’ayokya kasasiro omulala eyabadde okumpi n’ekikomera kya jjaaja we. Yabadde akyayokya Jjajja we kwe kumuyita n’amutuma emmere y’enkoko.

Nawulidde ebibwatuka emirundi ebiri ne hhamba be nabadde nabo nti masasi .

Waayise akaseera katono omutuuze Mutyaba kwe kunkubira n’antegeeza nga Nalubega bw’akubiddwa amasasi agamuttidde ku luguudo .

Natadde Nnaalongo mu mmotoka yange ne tugenda we baamukubidde amasasi kyokka twasanze omulambo guggyiddwaawo ne munne eyabadde obubi nga batwaliddwa ku ddwaaliro e Kasangati.

Eno gye baabaggye ne babongerayo e Mulago. Omulambo gwa Nalubega gwaggyiddwa ku ggwanika e Mulago ne gutwalibwa okuziikibwa ku kyalo Mukungwe mu disitulikiti y'e Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira