TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kadaga atadde gav't ku nninga ennyonnyole ku by'abajaasi okutulugunya abavubiku nnyanja

Kadaga atadde gav't ku nninga ennyonnyole ku by'abajaasi okutulugunya abavubiku nnyanja

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2018

SIPIIKA Rebecca Kadaga alagidde gavumenti okunnyonnyola amakubo g’ekutte okukangavula abajaasi ba UPDF abagambibwa okutigomya abavubi ku nnyanja nga bagaggyako ssente n’okuwamba ebyennyanja byabwe.

Kadag 703x422

Kadaga ng'ali n'abamu ku bavubi

Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okulagira abajaasi okussibwa ku nnyanja za Uganda okulwanyisa envuba embi kyokka abavubi bamaze ebbanga nga beekokkola eryanyi abajaasi lye bakozesa kw'otadde n'okubatulugunya.

Sipiika Kadaga eyabadde akubiriza Palamenti yagambye ofiisi ya Katikkiro, Dr. Ruhakana Rugunda eteekeddwa okunnyonnyola amakubo gavumenti g’ekutte okulwanyisa abajaasi abatulugunya abavubi.

Ababaka abatali bamu okwabadde George Ouma (Bukholi) bagambye nti  aba UPDF bawamba ebyennyanja by’abavubi  ne bagattako okubakuba, okubawambako ebyennyanja n’okubaggyako ssente.

Yagambye nti ebyennyanja ebibabirirwamu obukadde mwenda byawambiddwa mu bizinga gye buvuddeko era omusango guli ku poliisi e Namayingo.

Ouma agamba nti ebyennyanja ebiwambibwa ku bavubi ate abajaasi babiguza banagagga.

Ouma yayongeddeko nti alina okutya nti ayinza okutuusibwako obulabe olw’okuyingira mu nsonga zino. Munne  Geoffrey Macho owa munisipaali y’e  Busia yagambye nti abantu baamukubye olube bwe yabadde abawaanira NRM  ng’entabwe eva ku bajaasi ababatulugunya.

Omubaka wa UPDF, Lt. Gen Ivan Koreta (UPDF) yasabye Palamenti okuminkirizaako minisita akwatibwako aleete ekiwandiiko akisome mu lujjudde lwa Palamenti ku nsonga eno  oluvannyuma lw’okukwatagana  ne bakamanda b’amagye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira