TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bobi Wine addizza Poliisi omuliro ku by'okugaana abawagizi be okumwaniriza n'okuyisa ebivvulu

Bobi Wine addizza Poliisi omuliro ku by'okugaana abawagizi be okumwaniriza n'okuyisa ebivvulu

By Muwanga Kakooza

Added 19th September 2018

OMUBAKA Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ addizza poliisi omuliro ku ky’okugaana abawagizi be okuyisa ebivvulu by’okumwaniriza n’agamba nti Poliisi si y’erina okumusalirawo b’ani b’alina okusisinkana na makubo ki mw’alina okuyita.

Img20180823wa0018 703x422

Bobi Wine

Kino kiddiridde abakungu ba poliisi okwabadde n’omwogezi wayo Emilian Kayima okutegeeza nga poliisi bw’etagenda kukkiriza kuyisa bivvulu, kukuba nkung’ana n’egamba era n’egamba nti aba famile ye bokka be bajja okumusisinkana ku kisaaw e Ntebe abebyokwerinda we banamugya okumuwerekera okumutuusa mu maka ge e Magere ku lw’e Gayaza.

Bobi Wine akomawo ku Lwokunaokuva mu Amerika gy'abadde ajanjabirwa oluvannyuma lw'okulumizibwa ng'akwatibwa abebyokwerindamu kibuga Arua abaamulumiriza nti ye ne banne bakanyugiraemmottokaza Pulezidenti Museveni amayinja.

Mu bubaka bw’atadde ku mukutu gwe ogwa Twitter, Bobi Wine agambye nti abadde ku kisaawe mu kibuga Armsterdam ng’akomawo eka (e Uganda) n’alaba ebyogeddwa omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima ne banne  nti agenda kusisinkanibwa ba famire ye bokka ku kisaawe e Ntebe n’oluvannyuma abebyokwerinda bamuvuge okumutuusa mu maka ge e Magere.

Bobi Wine abisambazze n’agamba nti poliisi ssi y’emusalirawo. ‘’Banywanyi wamma tusisinkane e Kampala,’’ bw’agambye.

N’ayongera nti eby’okumuvuga okumuggya ku kisaawe okumutwala e Magere ssi by’aliko kuba ajja kumiyimirako e Najjankumbi alabe ku Jjajjaawe omukazi w’anaava okugenda e Kamwokya alye ekyemisana n’abooluganda lwe alyoke agende e Magere.

" Teri wa famire yange yenna agenda ku nsisinkana ku kisaawe Ntebe (nga poliisi bw’egamba)  nja kubasanga waka kuba mmanyi amaka gange gye gali. Poliisi si y'ensalirawo wa gye nnina okuyita,’’ Bobi bwe yawandiise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bujingo2703422 220x290

Bugingo ennyumba gye yazimbidde...

OMUSUMBA Aloysius Bugingo akudaalidde abantu ababadde balowooza nti, enju ye gaggadde gy’azimbira omugole Susan...

Lab2703422 220x290

Aba Ssebulime balangidde minisita...

FAMIRE ya Ronald Ssebulime banyiivu olwa kye baayise Minisita Nantaba okwongera okubalaata n’atuuka n’okujaguza...

Tta 220x290

Nantaba awadde Museveni amannya...

MINISTA Idah Erios Nantaba akaabidde mu kusaba mw’agambidde nti abaagala okumutta bali mu Gavumenti mwennyini era...

Lumba 220x290

Abadde afera abaagala Viza bamuyodde...

KITUUFU Kampala si bizimbe. Abantu basula bayiiya ng’ate abalala bafera bannaabwe okuba obulungi.

Kola1 220x290

Empeta za bba wa Babirye zibuzaabuza...

ABALONZI b’omubaka Paul Musoke Ssebulime owa Buikwe County North era bba w’omubaka omukazi owa Buikwe bali mu kwewuunaganya...