TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abavubi e Buvuma bakolokose aba UPDF ku kutulugunyizibwa: 'Batulemazza ne bannaffe abamu bafudde'

Abavubi e Buvuma bakolokose aba UPDF ku kutulugunyizibwa: 'Batulemazza ne bannaffe abamu bafudde'

By Henry Nsubuga

Added 22nd September 2018

Abavubi abakakkalabiza emirimu gyabwe ku nnyanja Nalubaale mu bizinga by’e Buvuma balojjedde abakulembeze baabwe engeri aba UPDF abalwanyisa envuba embi ku nnyanja gye babatulugunyizzaamu ne batuuka okuviirako bannaabwe okufa, abalala balemadde ssaako n'abanyiga ebiwundu.

Mknupd3 703x422

Ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma, Mabiriizi yagambye nti bbyo ebyennyanja bibadde byeyongedde mu nnyanja okusinga bano we baagendera ku nnyanja naye ng’ate baava dda ku mulamwa nga kati bali mu kweyisa nga bayeekera.

Bano okuva mu ggombolola y’e Lubya bagamba nti ekibinja ky’abasirikale ba UPDF abaduumirwa Capt. Steven Zeresire Alituha ng’enkambi baagikuba mu ttawuni kanso y’e Lubya basusse okubakolako ebikolwa eby’obukambwe omuli okubakuba emiggo emisana ttuku ng’abaana balaba ng’abamu ku bbo bali ku bitanda, abalala batambulira ku miggo ssaako omu eyatungulwamu eriiso. Bagamba nti eby’embi kwe kuba nga n’oluusi babakuba babambudde nga bwe baazaalibwa!.

Godfrey Musulu omutuuze w’e Kirewe  yagambye nti y’omu ku baakubibwa kibooko ezaabula okumutta so ng’ate munne gwe yali agenze naye mu nnyanja okuvuba olwalengera ab’amagye kwe kusalawo okubuuka mu lyato n’agwa mu nnyanja n’afa ng’era yaziikibwa e Mbale nga kino kyaliwo emyezi ng’etaano egiyise. Omugenzi yali mutuuze ku mwalo gw’e Namiti mu ggombolola y’e Lubya.

Musulu yagambye nti bwe baasaba Capt. Alituha obuyambi okutwala omulambo gw’omuvubuka ono ewaabwe e Mbale okumuziika yagaana n’abategeeza nga bwe baali abayeekera nga teri ngeri gye yali ayinza kubatiitiibya.

 wire omu ku baakasembayo okwambulwa ne babakuba kibooko nga bali bukunya nabantu nabaana nga babalaba ngaggyemu essaati alaga ebiwundu ebyamutuusibwako Bwire, omu ku baakasembayo okwambulwa ne babakuba kibooko nga bali bukunya n'abantu n'abaana nga babalaba ng'aggyemu essaati alaga ebiwundu ebyamutuusibwako.

Ronald Kalena omutuuze w’e Kirewe agamba nti omujaasi yamukuba emiggo bwe yali asituka omulala kwe kumukuba ekigala ky’emmundu ng’alowooza akikubye ku mutwe naye ne kikwata eriiso nga bwe yatwalibwa mu ddwaliro okujjanjabibwa ne balijjamu nga kati yafuuse wa ttulu.

Junior Muzumba (32) nga yava Mbale okugenda e Buvuma okuvuba agamba nti abajaasi baamusanga avubye ebyennyanja nga tekuli bito ng’akozesa amalobo ne bamusaba abibawe bwe yagaana n’abategeeza nti yali akozesezza amalobo ga nnamba mwenda agakkirizibwa mu mateeka ne batandika okumukuba nga bamubuuza lwaki yali abapinga?

“Mu mugongo mpuliramu obuzibu n’obulumi bwamaanyi ne mu gumu ku migulu nga mmaze emyezi mukaaga ku ndiri ku lukalu nga nzijanjabibwa. Mbadde kye nzigye nkomewo wano e Kirewe we mbeera oluvannyuma lw’okufunamu olungubanguba. Obuzibu buli bumu nti sinnasobola kuddamu kukola ng’era eky’okulya n’ensimbi ezazzizzaayo abaana bange ku masomero nayambiddwa buyambibwa okuva mu mikwano gyange,” Muzumba atambulira ku muggo bwe yattottodde.

uzumba eyafuna obuvune mu mugongo olwa kibooko zabajaasi nga kati atambulira ku muggo wano ngatudde ewaka we ku mwalo e irewe Muzumba eyafuna obuvune mu mugongo olwa kibooko z'abajaasi nga kati atambulira ku muggo. wano ng'atudde ewaka we ku mwalo e Kirewe.

Ye Godfrey Mukaaga agamba nti baamukuba ne bamumenya engalo nga mu kiseera kino talina kalimu k’asobola kwekolera olw’obulema obwamutuusibwako. Mukaaga yagambye nti bano bwe bakwata omuvubi bamukuba ne bagenda n’ew’omugagga nnannyini kumusindika mu nnyanja naye ne bamukuba.

Agamba nti bannaabwe bangi abakubiddwa nga n’abamu bali ku bitanda ku lukalu naye nga tebalina gye bayinza kwekubira nduulu.

Bano bino baabadde babinnyonnyola olukiiko olwakubiddwa abakulembeze n’ab’eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Buvuma nga mwabaddemu omubaka wa palamenti omukyala ow’ebizinga by’e Buvuma, ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma Alex Mabiriizi, RDC Lilian Nakaweesi, DPC Moses Bwire, n’abakola mu bitongole by’eby’okwerinda ebirala.

 onald alena eyakubibwa ekigala kyemmundu mu liiso ne livaamu Ronald Kalena eyakubibwa ekigala ky'emmundu mu liiso ne livaamu.

Abatuuze okusingira ddala ab’okumwalo gw’e Lubya balumiriza ab’amagye okubambulanga engoye ne basigala bute ewatali kwawula bakazi na basajja olwo ne babakuba kibooko ng’oli emyaka gy’alina ze kibooko ezimukubibwa.

Abamu ku baasembayo okukubibwa nga bali bwereere nga bwe baazaalibwa kuliko; James Bwire, Ango Kocus ne Sharif Eronda nga bano bakyalina n’ebiwundu ebibissi bye baalaze n’abakulembeze nga beeyambula engoye.

Bwire yagambye nti okubakuba Capt. Alituha yabasanga bali ku lubalama lw’ennyanja eweesudde enkambi gye banaabira n’abaali bamaze okunaaba nga bambadde n’abaali bagenda okunaaba nga tebanneeyambula n’abo abaali mu nnyanja nga bali bute banaaba ne babayitayo ne babalagira bonna okweyambula nga bwe babakuba embooko.

 bamu ku bazze bakubibwa kibooko nokutulugunyizibwa mu ngeri ezenjawulo ku mwalo gwe irewe nga balaba abakulembeze ebisago ebyabatuusibwako Abamu ku bazze bakubibwa kibooko n'okutulugunyizibwa mu ngeri ez'enjawulo ku mwalo gw'e Kirewe nga balaba abakulembeze ebisago ebyabatuusibwako.

“Eby’embi, baayita abantu bonna okuva mu nkambi okusingira ddala abakyala nga mwe mwali n’abaana ne batukolako effujjo nga bano balaba. Nakanda kwegayirira Capt. Alituha ansaasire aleme kunnyambula kuba mu bakyala abaali bazze mwalimu nnyazaala wange naye yagaana okumpuliriza ng’ayongera kunkuba okutuusa lwe nnalaba ng’emiggo gimpitiriddeko ne nzikiriza okuggyamu empale. Awo yayongera kunkuba nga ndi bute.

Yatukwata n’ebifaananyi ng’akozesa essimu naye oba ebyo yebikwata kubitwala wa naffe tetwamanya. Kibi nnyo okulaba ng’abasirikale bano batyoboola eddembe lyaffe okutuuka awo nga tetulina ayinza kututaasa,” Bwire nga n’amaziga gamuttulukuka bwe yattottodde.

 mubaka antume ngayogera nabantu be irewe mu tawuni kanso ye ubya Omubaka Nantume ng'ayogera n'abantu b'e Kirewe mu tawuni kanso y'e Lubya.

Ye omubaka wa palamenti Nantume yagambye nti ebbanga ddene nga balaajana ku bikolwa eby’effujjo n’ettima ebikolebwa ku bavubi okuva eri abasirikale ba UPDF naye nga teri kikolebwawo.

Yagambye nti musanyufu mu kadde kano olwa sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga okuvaayo n’alagira abajaasi bano bakangavvulwe era n’asaba ssaabaminisita wa gavumenti, Dr. Ruhakana Rugunda aveeyo ne alipoota ennyonnyola ku bikolwa eby’effujjo ekika kino ebikolebwa ku bantu ku nnyanja ng’abasirikale beerimbise mu kulwanyisa envuba embi.

mubaka antume ngayogera nabantu be ubyaOmubaka Nantume ng'ayogera n'abantu b'e Lubya.

Yusuf Mbuubi, ssentebe w’eggombolola y’e Lubya yagambye nti abajaasi bano bamaze ebbanga nga basiwuuse empisa nga bwe basanga abavubi ku nnyanja bababbako ebyennyanja byabwe n’okubawambako yingini ssaako okubakuba emiggo ng’eby’embi n’omukulembeze ssinga agezaako okubenganga nga nabo babakubiramu ng’era n’abamu ku bakozi ba gavumenti ab’amagombolola baali balozezza ku mbooko z’abajaasi bano.

“Ebikolwa by’abasirikale bano bivudde ku kyabasindisa ku nnyanja we baatuuka kati babbi bubbi era ssinga tewaba kikolebwawo mu bwangu baakugula ebizimbe mu kibuga Kampala ng’abavubi bongera kubeera bubi. Ebyennyanja bye bawamba ku bavubi ate babitunda ne beeyoolera omusimbi era bafubye okwegaggawaza,” Mbuubi bwe yattottodde.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma, Mabiriizi yagambye nti bbyo ebyennyanja bibadde byeyongedde mu nnyanja okusinga bano we baagendera ku nnyanja naye ng’ate baava dda ku mulamwa nga kati bali mu kweyisa nga bayeekera.

RDC Nakaweesi yagambye nti bano baagaana okussa ekitiibwa mu bukulembeze bwabwe obwa disitulikiti nga bukyanga bagenda ku nnyanja babayita boogere ku nsonga abavubi ze beemulugunyaako baagaana okugenda gye bali.

Wabula oluvannyuma lw’okulambula emyalo egiri mu miruka okuli ogw’e Kirewe, Namiti n’e Lubya, abakulembeze baagenze ne beevumba akafubo n’abajaasi bano nga ne Capt. Alituha mw’ali kyokka ng’abajaasi bagaanye ow’amawulire okugendayo.

Baategeezezza nti yakkirizza nga bw’akuba ku kibooko ensaamusaamu naye nti ebimu ku bikolwa abavubi bye baabasibyeko ssi bituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...