TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ab'e Rubirizi basabye Museveni akome ku bajaasi abalwanyisa envuba embi

Ab'e Rubirizi basabye Museveni akome ku bajaasi abalwanyisa envuba embi

By Ali Wasswa

Added 23rd September 2018

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza ku bukambwe bwe bakozesa nga balwanyisa envuba embi ku nnyanja nga bagamba nti kivuddeko abamu ku bavubi okufiirwa obulamu.

Sevo 703x422

Pulezidenti ng’akwasibwa ettooke eryamuweereddwa omutuuze Tayebwa e Rubiriizi.

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza ku bukambwe bwe bakozesa nga balwanyisa envuba embi ku nnyanja nga bagamba nti kivuddeko abamu ku bavubi okufiirwa obulamu.

Omubaka w’essaza ly’e Bunyaruguru, John Twesigye n’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Rubiriizi, Kasande Bataringaya, bawadde amagezi nti abavubi basooke kusomesebwa ku nvuba ennungi ng’eggye terinnaleeta bukambwe kulwanyisa nvuba eno.

Bino we bijjidde nga n’ababaka ba Palamenti okwabadde ne Sipiika Rebecca Kadaga balinnye mu kyoto nga baagala gavumenti ennyonnyole ky’ekozeewo okulwanyisa ekyayitiddwa obukambwe eggye erya UPDF erirwanyisa envuba embi bwe likozesa ku bavubi.

Palamenti yayabuse teweereddwa lunaku lutongole lw’egenda kuddamu ng’ababaka bagamba nti gavumenti erina kusooka kunnyonnyola kyekozeewo okulwanyisa omuze guno ku nnyanja zonna okuli ne Nalubaale.

Kadaga yakyadde e Bukhooli mu disitulikiti y’e Namayingo ne bamwemulugunyiza nti abajaasi bano bayitirizza effujjo.

Wabula ne Pulezidenti Museveni eyabadde ku kisaawe kya Ndekye Primary School mu disitulikiti y’e Rubiriizi oluvannyuma lw’okulambula wooteeri n’amakolero mu kitundu kino, abakulembeze baayo naye baamugambye nti abajaasi ku nnyanja Edward ne George mu bugwanjuba bwa Uganda bayitirizza obukambwe.

Ne bagamba nti kireetedde n’abamu ku bavubi okuva mu maato ne beesuula mu nnyanja nga balabye abajaasi.

Wabula ate e Masaka abavubi n’abasuubula ebyennyanja okuva mu Masaka n’emiriraano abeegattira mu kibiina kya ‘’ AFALU’ batabukidde Sipiika Kadaga ne Palamenti ne babagamba nti babaviire ku bajaasi abalwanyisa envuba embi kuba bakoze omulimu gwa ttendo nga n’ennyanja etandise okuddamu ebyennyanja.

Abasuubuzi abaakulembeddwa ssentebe waabwe, Richard Kimera nga bali mu lukiiko olwatudde ku Royal Gardens baagambye eggye lino likoze kya maanyi okulwanyisa envuba embi ne basaba Pulezidenti Museveni ayongere abajaasi ku nnyanja.

Baagambye nti eggye lino nga likulemberwa Lt. Col. Niwagaba, lyasooka kusomesa bantu ku nvuba embi ne bagamba nti Sipiika ne banne bye balimu bya kwagala kukomyawo nvuba mbi ku nnyanja ebadde efuuse olufumo.

E Rubiriizi, omubaka Twesigye yasabye gavumenti okwongera okutumbula ebyobulamu mu Bunyaruguru ne basaba Pulezidenti Museveni okugaziya eddwaaliro ly’e Ndyekye Health Centre IV lifuuke eddawaliro eddene (hospital).

Museveni yasiimye abantu olw’okuwagira NRM n’okulwanyisa obwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...

Baka 220x290

Emmotoka ezikwamidde ku mwalo e...

MMOTOKA za Bannayuganda ezigwa mu ttuluba ly’ezo ezaawerebwa obutaddamu kuyingira mu ggwanga eziri ku mwalo gw’e...