TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abavubuka bajjumbidde okwewandiisa okuyingira obwa LDU

Abavubuka bajjumbidde okwewandiisa okuyingira obwa LDU

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2018

OKUWANDIIKA abaagala okuyingira Local Defense Unit (LDU) kwabaddemu obukwakkulizo obwalemesezza abamu ne basalawo okujingirira ebiwandiiko ne bakwatibwa.

Ldu 703x422

Aba UPDF nga basunsula mu beewandiisizza okuyingira LDU mu bitundu by’e Kamwokya.

Brig. James Nambaale, agenda okukulembera okutendeka aba LDU mu nkambi e Kaweweta gye bagenda okutwalibwa okumala emyezi 4 yagambye nti abantu be baabadde bawandiika baabadde babeetaaza okubeera n’ebintu mukaaga ebikulu.

Yagambye nti, baabadde balina okubeera ne densite entuufu, zino zaabadde zaakubaggyibwako zibaddizibwe nga bamaze okutendekebwa.

Balina okuba abalamu obulungi mu mubiri, mu bwongo n’ebitundu by’omunda, balina okuba nga bali wakati w’emyaka 18 ne 35, balina okubeera abatuuze ku byalo nga bamanyiddwa aba LC.

Baabadde balina okuba nga baasomako wakati wa P7 ne S4 nga basobola okusoma ebiwandiiko, baabadde tebalina kubaako bbala lyonna libamanyiddwaako kubanga bagenda kuweebwa emmundu badde mu bantu okukuuma ebyalo.

Baabadde balina okubeera n’ebbaluwa y’ekyalo ng’eriko omukono gwa sentebe, oweebyokwerinda ku kitundu, atwala ebyobukessi mu muluka n’atwala eby’obukessi ku disitulikiti.

Okuwandiika aba LDU kwatandise eggulo mu Munisipaali za Kampala, Mukono ne Wakiso era abantu bajjumbidde.

E Nakawa kwabadde ku kisaawe kya KCCA e Lugogo we baawandiikidde abaavudde ku byalo okuli; Nakawa, Mubs, Banda, Itek, Kyambogo, Nabisunsa, Upk ne Upper Estate.

Mu Kampala Central baakung'aanidde ku kisaawe kya poliisi ya Kira Road ab’e Kamwokya I ne II, Kololo I okutuuka ku IV ne Industrial Area gye baabawandiikidde.

E Lubaga baabadde ku kisaawe ky’e Wankulukuku abaavudde mu miruka okuli Najja I ne II, Kabowa, Mutundwe, Ndeeba, Nateete ne Lubaga gye baakuhhaanidde. Ab’e Kawempe beewandiisirizza ku kisaawe kya Co-operative.

Abantu okuva mu miruka okuli Muluka I okutuuka ku IV, Wandegeya, Makerere II ne III.

Ate ab’e Makindye beewandiisirizza ku kisaawe ky’ekitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli.

Baavudde mu miruka okuli; Katwe I okutuuka ku III, Kibuye I ne II, Makindye I, II ne Nsambya Central.

E Mukono baabadde ku kitebe kya Disitulikiti e Mukono. Ab’e Namanve, Nantabulirirwa, Seeta, Kigunga, Sonde, UCU, Namiryango, Gulu Ward, Mukono Town ne Wantoni be baasoose okwewandiisa.

Ab’e Wakiso beewandiisirizza ku ggombolola e Nsangi ne ku poliisi e Bulenga. Baavudde Kyengera, Buddo, Nabbingo, Namagoma, Kitemu, Nsangi, Maya, Bulenga, Bulaga, Buloba, ne Ssentema.

Abakkiriziddwa okwegatta mu LDU baasoose kukakasibwa nti, tebalina mirimu giyinza kubalemesa kuweereza era abalina emirimu, Brig. Nambaale yabagaanye okwewandiisa oba okuleka emirimu kubanga kye bagendamu kibeetaagisa okubeera obulindaala ebbanga lyonna.

Maj. Henry Obbo, omwogezi w’eggye ly’oku ttaka yagambye nti, aba LDU bagenda kukolera wansi wa ggye ezzibizi eriri wansi wa UPDF.

Yagambye nti, bagenda kutendekebwa okumala emyezi ena oluvannyuma baddeyo ku byalo byabwe batandike emirimu.

Obbo yagambye nti, buli muntu alina kukuuma kyalo gy’ava n’ategeeza nti bakyawandiika okutuuka nga October 1, 2018.

Col. Bonny Bamwesiki akulembeddemu okuwandiika abantu ku kisaawe kya KCCA e Lugogo, agambye nti abantu abagenda okuyita mu kakuhhunta tebagenda kulabirira famire zaabwe mu kiseera ky’emyezi ena gye bagenda okumala e Kaweweta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip1 220x290

Owa LC e Kawempe bamwokedde mu...

Owa LC e Kawempe bamwokedde mu nju

Ebya ssentebe w’akatale k’e Busega...

Ebya ssentebe w’akatale k’e Busega babitaddemu Kitatta

Top2 220x290

Eby'ewunyisa ebyabadde mu kuziika...

Eby'ewunyisa ebyabadde mu kuziika mukoddomi wa Ntakke!

Dat2 220x290

Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga...

Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga n'ekitta abantu 8!

Bug2 220x290

Paasita Bugingo atabukidde abasumba...

Paasita Bugingo atabukidde abasumba abaagenze okumutabaganya ne Teddy