TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama eyafiiriddwa abaana abataano mu kabenje alojja by’ayitamu

Maama eyafiiriddwa abaana abataano mu kabenje alojja by’ayitamu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

“MPULIRA mu nze omuliro ogwaka nga gunjokya buli katundu ka mubiri kyokka n’empewo esusse okumpitamu! Ne bwe nnyambala ntya ne nzigumira empewo tesalako.

Save 703x422

Margaret Namakula Lumanyika mu katono. Mu kinene, Entaana omwaziikiddwa abaana.

Nninga alimu omugga ogukulukuta obutakalira anti amaziga gampitamu ngalabira awo ku mubiri naye nga gayiika.

Neewuliramu ebituli munda mu nze nga nsibiddwa emiguwa ate nga bantisse omugugu.

Bannange omuli n’abasumba bafubye okung'aumya naye ddala ngumire ku kiii? Abaana bataano? Omulundi gumu, ne bafa batyo! Nazzizza gwaki nzeee!”

Ebyo bye bimu ku bigambo ebiva mu mukyala Margaret Namakula Lumanyika, maama w’abaana abataano abaafiiridde mu kabenje ka mmotoka ku Ssande e Wobulenzi. Kuno kuliko Isaac Mbogo (32), Richard Lule Wavamunno (30), Florence Nankumbi Ndagire (28), Patience Najjuma ne Enoch Musoke.

Abaana baabadde baliko ewa mukwano gwabwe gye bava nga bakomawo e Kampala okwetaba mu lukiiko lwa famire ku Lubaga Road mu Kampala. Maama ali mu buyinike agamba nti entaana ennene mwe baaziise abaana tegenda kumuleka nga bw’abadde.

Ebyabaddewo ku lunaku olw’entiisa luno abijjukira bwati: “Nnalina mukaamwana gwe mperekeddeko ng’adda ewuwe. oluvannyuma yankubira essimu nti “ accidenti….” Nga bye mpulira byokka ne ndowooza nti bodaboda yali emutomedde.

Mba ndi awo ndowooza ekiddako n’addamu n’ankubira nti afudde! Byayongedde kuntabula ate era n’addamu okukuba nti Richard (Lule Wavamunno) nti afudde.

Nakubira Richard ne banne kuba nali nkitegeddeko nti bagenze Luweero wabula nga tewali akwata ssimu. Mu kiseera ekyo nali sisuubira nti bonna bafudde wadde bafunye akabenje.

Nali nkyalowooza omwami n’ankubira ng’ambuuza nti obitegedde….! Mba nkyanoonya kye mmuddamu n’ansaba ennamba ya mmotoka abaana mwe baatambulidde.

Nali manyiiko kya mmotoka kuba ya kika kya Vitz ku nnamba nga manyiiko UAS. Nakubira mukulu waabwe Robert Lumanyika n’abiwakanya.

Yankakasa nti yaakamala okwogera nabo ne bamutegeeza nti batuuka mu lukiiko essaawa yonna.

kati olwo baba akabenje bakaguddeko ddi! Nava ku ssimu wabula naddamu n'ankubira ng'agamba nti abakubira amasimu tegaliiko kwe kusalawo okugendayo.

Olw'atuukayo yaddamu okunkubira essimu ng’ahhamba nti ‘maama ekituufu bonna bafudde’!

Natandika okuwulira omuliro era gye nali ku luguudo lw’e Namataba simanyi bwe banzigyayo.

Waayita akabanga katono amawulire ne gasaasaana ekyalo ne kibuutikirwa emiranga.

Oluvannyuma muganda wange Molly Nalukwanzi , Deborah Nakafu n’omusumba Kateregga bajja ne banjoolayoola ne banzigyamu bantu ne bahhumya nga bansaba neekwase Mukama.

Nasooka ne hhuma kyokka ekiseera ky’okuleeta emirambo kyampitirirako.

Namala akaseera nga buli omu ndaba mulabe nga simanyi oba beebo okutuusa lwe natunula ku ssanduuko omwali omulambo gwa Najjuma ne nnyongera okwekanga!

Kyabadde kiseera kizibu bwe nakitegeddeeko nti omulambo gwa Najjuma baagala kuguyisa eyo bagutwale e Buwaate gye yaziikiddwa. Kyampisa bubi kuba ono omwana wa mwannyinaze nze namwekuliza, nnyina gwe yasuulawo ng'akyayavula.

Bwe yatuuka wano yansanga nnyonsa munne wa myezi mwenda ne batandika okulwanira ebbeere kwe kusalawo n’owange muggyeko bombi mbagabirire.

Najjuma mukuzizza, musomesezza kati ohhaana okulaba ku mulambo gwe nga nawano abadde ampita Ssenga – Maama kiba si kirungi. Oluvannyuma baaleeta omulambo gwa Najjuma.

Yaziikiddwa Buwaate era nalese emirambo gy'abaana mu luggya ne hhenda okuziika. Abantu abamu kyabanyiizizza naye nabadde sirina kyakukola nga bonna nnina okubaziika.

Mu kuziika abaana mukama yahhumizza ne nkola buli ekyabadde kyetaagisa okutuusa essaawa y’okuziika Bwe natuuse ku ntaana zaabwe amagulu ne gafa ne ntuula era bansitudde busituzi okuziika naye nga n’okutunula mu ntaana ndaba kifu ku maaso.

Nneebaza abantu , okuyimba oluyimba lwange ‘Yesu Byonna abimanyi’ ne ‘Kisaakye Tekitegeerekeka’ Nneebaza Bukedde olw’amawulire agaatambudde ensi yonna mu kiseera ekyo ssaako Pulezidenti Museveni eyavuddeyo okutusaasira mu kitiibwa kye ssaako buli alina kye yakoze n’abazze okunziikirako abaana bange be twaziise nga abattiddwa nga balina omusango.

Ekisembayo saagala kumanya kyasse baana bange kuba ne bwe naakimanya tebagenda kudda kale okumanya n’obutamanya tebigenda kunnyamba nsaba mukama y'aba annyamba yekka.

Taata Elly Lumanyika taata w’abaana agamba nti yejjusa lwaki teyababuulira kyamuli ku mutima nga tebannafuna kabenje.

Agamba nti bulijjo abadde alaba abaana be nga balinnya emmotoka emu ng'afuna okweraliikirira wabula natya okukibagamba ng'alowooza nti kijja kubatiisa naye yejjusa lwaki teyakyogera.

Buli lwe babadde bajja nga baagala kutambulira wamu nga banyumya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana