TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaalimbye ekyalo okulemeramu looko poliisi ebakutte

Abaalimbye ekyalo okulemeramu looko poliisi ebakutte

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

POLIISI ekutte n’eggalira omukazi n’omusajja ababadde bafera abatuuze. Godfrey Kato ne Jesca Nabbanja poliisi yabakwatidde Bweyogerere nga beefudde ababadde basinda omukwano mu loogi nti kyokka ne balippagana ne balemeramu looko.

Guma 703x422

Nabbanja, Kato (wakati) ne Kawooya eyeeyise bba wa Nabbanja.

Baabadde n’akakodyo ka kusooka kwefuula abalippaganye olwo omufere omulala eyeeyita omusawo w’ekinnansi ajje abakoleko eddagala abalippulule, oluvannyuma agabe ennamba y’essimu ye afere abalala!

Akakodyo ka Nabbanja ne Kato kaabadde kasoose ne kakola anti olwatuuse mu loogi ya White African Village bar and Restaurant esangibwa e Bweyogerere ku kikkirira e Namboole, Nabbanja n’atandika okukuba enduulu nti omusajja amulemeddemu!

Abantu baatandise okukuηηaana bwe baawulidde enduulu balabe ogubadde.

Ebyembi, omu ku bakozi ba loogi eyategeerekese nga Juliet Kizza olukwe yabadde talumanyiiko era olwawulidde abakuba enduulu mu kasenge nnamba 4 n’ayita poliisi ejje ebayambe.

Poliisi bwe yayingidde n’esooka okubasikako bulangiti ne bagigaanira nga batya ‘okuswala’.

Owapoliisi yabadde atandise okukubira poliisi y’e Kireka bajje babayambeko babatwale mu ddwaaliro e Mulago babalippulule, ne wayingirawo omufere omulala.

Ono yagambye poliisi nti ye Hamidu Kawooya era nti ye bba w’omukazi eyabadde mu ‘bwenzi’ era n’abuulira poliisi nti tebatawaana kubatwala Mulago, ye alina omusawo w’ekinnansi gw’amanyi mu Bweyogerere omwo ajja okubavumula.

Kawooya yayongedde okunyumiza poliisi nti ssinga bamukkiriza n’abatwala ew’omusamize ono, kijja kubanguyira kuba y’omu ye yamuwa eddagala n’alitega gwe yayise mukazi we Nabbanja eryamukwatidde mu bwenzi.

Wano poliisi we yatandikidde okwekengera nti bano bali mu mupango n’ebayoola bonsatule n’ebaggulako omusango gw’okusasamaza abantu.

Omusango guli ku fayiro nnamba 19/9/10/2018 ku poliisi e Bweyogerere okumpi ne Kampala.

Baabatutte n’omukozi wa loogi Juliet Kizza eyabadde yeewuunya okulippagana kwe baabadde boogerako ng’omukazi yabadde akyayambadde empale empanvu eya jjiini nga n’omusajja ayambadde engoye ze zonna n’asigala ng’abuusabuusa oba baabadde tebali ku kupangirira bye baabaddeko n’okubattira erinnya ly’ekifo kyabwe.

Okufera okw’ekika kino tekwatandikidde Bweyogerere. Abafere abaakukola baasooka kutalaaga Lugazi, Bulenga, Nansana, mu kibuga wakati ku ppaaka empya n’ebifo ebirala awabeera abantu abangi be bazuula nti tebalina bya kukola.

Bwe batuukayo, beefuula abalippaganye era gye biggweera nga bijulidde ‘musawo’ gwe bagamba nti y’agaba eddagala ery’okubavumula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...