TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ab'e Kyotera bawabudde M7 ku kidyeri kye yasuubizza ab'e Nangoma

Ab'e Kyotera bawabudde M7 ku kidyeri kye yasuubizza ab'e Nangoma

By Muwanga Kakooza

Added 11th October 2018

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Kyotera bawabudde Pulezidenti Museveni ku by’okuwa ab’egombolola y’e Nangoma mu disitulikiti y’e Kyotera ekidyeri okubanguyiza entambula nga bava n’okugenda ewaabwe ne bagamba nti ekisinga okwetaagisa kuzimbawo lutindo lwa nkomeredde.

Dpfxxqsxcaewwlo 703x422

Omubaka wa Uganda mu Palamenti y’amawanga g’obugwanjuba bwa Afrika, Mathias Kasamba yagambye nti okuzimba olutindo kye kigenda okusinga okukozesa ekidyeri Pulezidenti Museveni kye yasuubizza abatuuze b’omu ggombolola eno.

Okugenda mu ggombolola esangibwa ku ludda  okuli Tanzania olina kuyita ku mazzi ng’osomoka omugga Kagera.

Wadde ekitundu kino kiri mu Uganda kyokka okukituukamu olina kusooka kusomoka mazzi n’oba ng’agenze ku ludda lw’e Tanzania ekikaluubiriza abagendayo.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ku mikolo gy’ameefuga e Kasasa mu disitulikiti y’e Kyotera yalagidde ssente zinoonyezebwe bunnambiro okugula ekidyeri okutereeza entambula.

Yalagidde engendo z’abakungu abagenda ebweru zisazibwemu ssente zizzibwe ku kidyeri.

Kyokka Kasamba n’abamu ku bakulembeze b’e Kyotera nga bannamawulire bababuuzizza ku nsonga eno oluvannyuma lw’emikolo baagambye nti kyetaagisa kuzimba lutindo.

N’agamba nti mu biseera by’okukola bajeti kisobola okukyusa ne wazimbibwawo lutindo kuba olwo abantu balukozesa essaawa yonna obufanana kidyeri kisomoka biseera bimu na bimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.

Blackcouplefightrelationshipsadangryunhappye1471357042435690450crop80 220x290

‘Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba’...

ABAKAZI emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....