TOP

Eby’omukozi wa bbanka eyafudde biranze

By Musasi wa Bukedde

Added 14th October 2018

Okufa kw’omuwala omukozi wa United Bank of Africa (UBA) kuddiridde okw’omukozi omulala mu bbanka y’emu.

Seen 703x422

Abakola ku kunoonyereza nga beekebejja awaasangiddwa omulambo gwa Zalwango mu katono

Bya STUART YIGA, Mukasa Kivumbi ne Joseph Makumbi

Abagenzi bombi bawala ate bakola mu bya ssente. Barbara Zalwango 33, omulambo gwe gwazuuliddwa ku Lwokuna okumpi n’amaka ga bazadde be e Nakisunga mu Mukono.

Abadde amaze wiiki nnamba ng’anoonyezebwa. Yava mu maka gaabwe ne bba Livingstone Olira Mabusi e Lunnyo - Ntebe ku Ssande ewedde. Omukozi wa bbanka eno eyasooka okufa ye Jane Frances Kajumba Musiitwa era naye yalina emyaka 33.

Yabula August 18, 2017 oluvannyuma omulambo gwe ne gusuulibwa mu kitoogo e Busega.

Gwasangibwa guvunze, nga tekuli mutwe, emikono n’okugulu okumu. Bakozi banne baategeeza Bukedde nti ennaku ezaakulembera okufa kwa Musiitwa yalina ebizibu bingi bye yafunira mu bbanka nga biva ku ngeri bakama be Abanigeria gye baali baagala akolemu emirimu kyokka ye n’agaana ng’agamba nti ssinga walibaawo obuzibu bwonna y’agenda okuvunaanyizibwa ng’omuntu.

Musiitwa kyamuyitirirako ne bamutwala ew’omusumba Thomas Mutete gye yamala ekiseera nga bamusabira.

baana alwango be yaleseAbaana Zalwango be yalese.

 

Eyo gye baamuwambira, okuddamu okumulaba nga mufu. Kigambibwa nti ne Zalwango abadde n’ebizibu ebyekuusa ku ngeri bakama be abamu gye baagala okukwatamu ebyensimbi kyokka nga Zalwango awakanya enkola eyo kubanga ssinga walibaawo obuzibu y’alivunaanyizibwa.

Ku Lwomukaaga oluwedde yatutte abaana be okubacakaza n’abagulira ‘ice cream’.

Bazzeeyo eka era enkeera ku Ssande n’akeera okugenda e Kakiri ku faamu yaabwe gy’alina ekibira kya kalittunsi. Kyokka yalabiddwa ng’ali ne muganda we ayitibwa Margaret ku dduuka lya Shoprite. Wano we yakyusirizza ekirowoozo obutagenda Kakiri.

Okuddayo okumuwuliza, yatadde bubaka ku ssimu ng’ategeeza nti ali Nkokonjeru era tayagala kumukomyawo Kampala.

Essimu ye teyazzeemu kubeerako okutuusa lwe baasanze omulambo gwe okumpi ddala n’ekkubo eririraanye amaka ga bazadde be aga Muky. Getrude Namutebi. Abazadde abamuzaalira ddala ye John Kayemba ne Namukasa bombi baafa.

Okumpi n’omulambo waabaddewo akacupa k’eddagala ly’ebirime, ekikopo, essimu ye, densite n’ekiso.

Kyasoose kutegeezebwa nti Zalwango yeewadde butwa. Era kino kyalabikidde ne mu lipoota y’abasawo b’e Kawolo.

Kyokka abafamire kino baakiwakanyizza nti bw’aba yeewadde butwa ate omulambo gwatuuse gutya okumpi n’amaka ga bakadde be gy’abadde amaze ebbanga nga takyala?

Kubanga wadde gwabadde gutandise okuvunda kyokka kirabika gwabadde gwakaleetebwawo.

Abatuuze abayita mu kkubo eryo buli kiseera bandibadde baagulaba.

Okubuusabuusa kuno kwe kwavuddeko okutwala omulambo e Mulago guddemu okukeberwa.

 oliisi ngenonye omulambo gwa alwango Poliisi ng’enonye omulambo gwa Zalwango

Bba w’omugenzi, Mabusi akolera mu kitongole ky’ebyamazzi, bwe yamanya okubula kwa mukazi we yagenda ku CPS mu Kampala ne ku poliisi e Katwe n’akola lipoota.

Yeeyongeddeyo n’ategeeza n’aba CMI ne ISO abaatandikiddewo omuyiggo.

Bambega baagenze mu kkampuni z’amasimu okulondoola essimu ezaakubirwa omugenzi mu biseera ebyakulembera okufa kwe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti omulambo gwabadde guvunze nga tebasobola kumanya oba yatemuddwa oba yesse yekka. Kye baavudde bagutwala e Mulago okufuna lipoota entuufu.

Yagambye nti, kye bakyatunuulidde omugenzi yandiba nga yesse wabula bwe banaafuna lipoota y’abasawo, bajja kulaba ekiddako.

 

Aba famire baagambye nti tebamanyi ngeri Zalwango gye yandibadde ayanguyirwa kugenda mu kyalo Mukono kubanga tatera kugendayo. Mu mwaka agendayo omulundi gumu.

Omugenzi alese abaana bataano. Bba bakira ayogera ng’akulukusa amaziga yagambye nti byonna ebyabaddewo tebitegeerekeka kubanga mukazi we yavudde awaka ng’agenda Kakiri ku faamu.

Ate bwe yababuze baabadde bamunoonya obubaka ne bujja ku ssimu nti “temunnoonya ng’enze Nkokonjeru”.

Eyo nayo yatubuzeeyo ate kyewuunyisa okusanga omulambo e Nkokonjeru okumpi n’amaka ga bazadde be.

Kigambibwa nti waliwo abaana abaalabye emmotoka eyakyukidde awo wennyini we baasanze omulambo ne balowooza nti ya Siisita w’e Nsuube kuba atera okujja mu kitundu ng’akozesa ekkubo eryo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza