TOP
  • Home
  • Amawulire
  • China egenda kuwola Uganda obuwumbi 800 okubunyisa amasannyalaze mu byalo

China egenda kuwola Uganda obuwumbi 800 okubunyisa amasannyalaze mu byalo

By Muwanga Kakooza

Added 20th October 2018

GAVUMENTI essizza omukono ku ndagaano egenda okusobozesa China okugiwola ensimbi za Uganda obuwumbi 800 okubunyisa amasannyalaze mu magombolola 287 mu ggwanga.

Power703422 703x422

Amaka 170,000 ge gagenda okuganyulwa mu nkola eno era gagenda kuyungibwa ku masanyalaze ku bwereere.

Minsita w’ebyensimbi Matia Kasaija ye yatadde omukono ku ndagaano eno ku lwa Uganda ate Zheng Zhuquiang n’agisaako ku lwa China. Omukolo gwabadde ku kitebe kya minisitule mu Kampala.

Kasaija yagambye nti Uganda ekola amasannyalaze mangi okusinga ku g’ekozesa  n’agamba nti ekigendererwa mu pulojekiti eno kwe kulaba ng’amaka gongera okufuna amasannyalaze kyongere okutumbula enkulaakulana mu ggwanga.

Gavumenti egenda kuyunga abantu abapya 172,589 ku masannyalaze  n’okwongera okugatambuza okugatuusa mu bitundu gye gatali.

Bbanka ya China eya Export –Import Bank of China y'egenda okuvaamu ssente zino.

Uganda egenda kusasula amagoba ga bitundu 2 buli 100 era ebbanja lyakusasulwa mu myaka 20. Emyaka etaano egisooka tekuli kusasula. Pulojekiti egenda kutandika mu 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...