TOP

Sheikh e Ndejje akwatiddwa ku by’okutta Kirumira

By Musasi wa Bukedde

Added 21st October 2018

AB’EBYOKWERINDA bakutte Sheikh Abudul Hamid Nsubuga amanyiddwa nga Malaba, ow’omu Mirimu Zooni e Ndejje - Namasuba, ku byekuusa ku kuttibwa kw’eyali DPC w’e Buyende Mohamad Kirumira.

Kola1 703x422

Sheikh Nsubuga, Imaam mu mizikiti egy’enjawulo kyokka ng’omulimu mwaggya ssente gwa kutunda ttaka n’obwakayungirizi bw’amayumba agapangisibwa.

Yakwatibwa wiiki ewedde munne bwe yamukubidde essimu ayanguwe basisinkane kasitoma eyabadde ayagala okupangisa enju era bwe yava awaka teyaddamu kulabikako n’okutuusa kati.

Mukyala wa Sheikh Nsubuga, Sumayyah Nakigudde annyonnyola bwati;

Abantu abaakwata baze baatandika okumukubira amasimu ku Lwomukaaga nga beefudde abaagala enju.

Baalabye tebamufuna kwekuyita mu mukwano gwe gwetwakazaako erya Mulongo gwe baasaba abatuuse ku Nsubuga abafunire enju.

Ku Ssande ya wiiki ewedde twali twakamala okulya eky’emisana, Mulongo n’akubira baze essimu n’amutegeeza nti abasajja abaagala enju bazze era ne ssente bali nazo n’amusaba ayanguwe aleete ebisimuluzo bagirambule, era baze yasituukiramu n’agenda, kyennazzeemu okuwulira nti bamukutte.

Natandikiddewo okunoonya kumpi natuuse ku buli poliisi mu Kampala kyokka baze abuze era nga natuuse ne ku kitebe ky’amagye e Mbuya ne bantegeeza nti tebannafuna ku musibe ayitibwa Nsubuga nga ne gyebuli kati simanyi baze gyali.

Baze yali yakatwalibwa nasookera ku poliisi y’e Lubugumu gyebampeera amagezi okunoonyereza kwange nkutandikire ku poliisi ya CPS ne CMI kyokka yonna sirina kyennaggyayo.

Akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Lubugumu, C/ASP Julius Mugombesha yagambye nti omuntu ono yabadde tannamulabako.

Yagambye nti ku lunaku Nsubuga lwe yakwatibwa ab’ebyokwerinda babiri Gumiikiriza ne Benjamin Ainomugisha baayingizibwa mu kitabo kya poliisi ku nnamba SD18/14/10/2018 ku ssaawa 8:55 ez’emisana.

Beeyanjula nga bwe baali mu kitundu kino nga balina ekikwekweto kye baaliko.

Yagambye nti nnamba y’omusango kwe baali banoonyeza omuntu era gyebaaleka mu kitabo yali Ref: 04/14/10/2018 gye yagambye nti yali evudde ku kitebe kya poliisi ya Kampala CPS.

Yagambye nti era kw’olwo (Ssande) ku ssaawa 9:11 ez’emisana CPL Daniel Ssenkungu ng’ali n’abalala yawandiika mu kitabo nga yeeyanjula nga bwe yali avudde ku kitongole ekikessi CMI n’ategeeza bwe yalina ekikwekweto ky’aliko mu kitundu kyokka tamanyi biki byava mu bikwekweto byombi kuba tebaddayo kubalaga wadde okubategeeza ebivudde mu kikwekweto.

uka hiekh subuga ngali nabaana baabweMuka Shiekh Nsubuga ng'ali n'abaana baabwe

 

“Ebiseera ebisinga abantu bano beeyanjula nga batuuka mu kitundu kyokka bwe bamaliriza tebadda. Bwebadda ku poliisi nga bamaze okukwata be beetaaga olwo bayinza okuleka nnamba z’essimu abantu b’abakwate ne bafuna webatandikira okumanya gy’akuumirwa," bwe yategeezezza.

Mulongo annyonnyola bw’ati Abasajja baankubira amasimu ag’okumukumu nti baagala nju nnange kwekukubira Nsubuga kuba ye yalina enju eyeetaagibwamu omupangisa era nga y’alina n’ebisimuluzo byayo.

Abasajja basatu abaabadde mu mmotoka kigege bazze netukwatagana ne tulinda Nsubuga aleete ebisimuluzo.

Nsubuga bwe yazze twagenze ku nju n’aggulawo ne tuyingira n’atandika okuggula enzigi ng’abasajja bano beefudde ng’abakebera kyokka baggadde amadirisa era omu ku bo yabadde ng’aggyayo ssente mu nsawo yasiseeyo pisito n’agisonga mu Nsubuga era n’amutegeeza nti yabadde mukwate.

Amangu ago omusajja omulala yaggyyeyo empingu n’asiba Nsubuga emikono ng’abwamugamba nti “tubakooye okututtira abantu baffe”.

Eyabadde asigadde mu mmotoka wabweru yabuseemu ng’alina emmundu ennene ne basindika Nsubuga mu kigege etaabaddeko nnamba ne babulawo ng’olwo nze bamaze okuntegeeza nga bwebataninaako mutawana era ne bandekka awo.

Mukyala wa Nsubuga agamba nti bba abadde mukwano nnyo gwa Abdu Kalungi mu kiseera kino ali mu kkomera nga yaggulwako omusango gw’okutta Kirumira era alowooza nti obuzibu bwavudde ku nkolagana bba gy’abadde nayo ne Kalungi.

Yannyonnyodde nti bba ne Kalungi babadde emirimu kumpi bagikolera wamu kubanga Kalungi muzimbi nga bba bw’aguza omuntu poloti n’anoonya anaamuzimbira, ng’amuzigirira Kalungi okukola omulimu era Nsubuga abadde afunira Kalungi emirimu gy’okuddaabiriza amayumba agaba gagenda okuyingirwamu abapangisa

POLIISI Y’E LUBUGUMU

Akulira ebikwekweto C/ASP Julius Mugombesha, agamba nti naye tannamanya Nsubuga gy’akuumirwa wabula amusuubira okuba ku kitebe kya poliisi mu Kampala oba ku kitebe ekya CMI.

Yagambye nti ku lunaku Nsubuga lwe yakwatibwa ab’ebyokwerinda babiri DC Gumiikiriza ne DC Benjamin Ainomugisha baayingizibwa mu kitabo kya poliisi nga bagamba nti baali mu kikwekweto.

Ate ne ku Ssande CPL Danier Ssenkungu ng’ali n’abalala yawandiika mu kitabo nga yeeyanjula nti avudde ku kitongole ekikessi CMI n’ategeeza bwe yalina ekikwekweto ky’aliko mu kitundu kino.

Mu lupapula luno ku muko ogwa 20 ne 21, tukuleetedde famire z’abantu bebazze bakwata ku kutta Kirumira, nga beemulugunya olw’engeri ensonga zino gyezikwatiddwamu, n’obutakkirizibwa kusisinkana bantu baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...