TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Museveni agguddewo olutalo oluggya ku siriimu: 2030 we gunaatuukira ng'afuuse lufumu mu Uganda

Museveni agguddewo olutalo oluggya ku siriimu: 2030 we gunaatuukira ng'afuuse lufumu mu Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 21st October 2018

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira.

Twa 703x422

Museveni ng'atuuka e Isingiro okutongoza kampeyini y'okulwanyisa siriimu mu ggwanga

Yeyambisizza omukolo guno okujjukiza Bannayuganda nti olutalo lw’okulwanyisa Siriimu okumumalawo luli mu kutambulira mu makubo ga kwewala kukwatibwa bulwadde buno.

Bino yabyogeredde ku kitebe kya disitulikiti e Isingiro  ng’atongoza kaweefube ono n’agamba nti olw’okuba Siriimu talina ddagala kyetaaga abantu essira balisse ku kumwewala.

Omukolo gwetabiddwaako abantu okuva mu disitulikiti 28 ez’obukiika ddyo bwa Uganda.

Museveni yagambye  nti atandise kaweefube omupya ow’okulwanyisa Siriimu oluvannyuma lw’okukizuula nti abakwatibwa bazzeemu okweyongera.

Yagambye nti kaweefube omupya agendereddwa kuddamu kujjukiza Bannayuganda nti Siriimu akyaliwo. N’agamba nti essira lirina kussibwa ku kumwewala n’okuwa abamulina eddagala erimuweweeza.

Yagambye nti omuntu bw’aba ku ddagala emikisa ky’okusasaanya Siriimu gikendeera.

Yakubirizza abantu okujjumbira okwekebeza kuba kiyamba abantu okutegekera obulamu bwabwe. N’agamba nti wadde eddagala eriweweeza Siriimu we liri ng’olumu liyisa obubi n’abalikozesa kyokka liwangaaza abalina akawuka.

Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti, Esther Mbayo y’avunaanyizibwa ku kaweefube ono.

Museveni yagambye nti kaweefube omupya waakuzingiramu n'abasajja okulaba nga beetaba mu by’okutangira okumusasaanya, okukendeeza omuwendo gw’abaana abamufuna okuva ku bannyaabwe, okubeerawo kwa ssente za pulogulaamu z’okulwanyisa Siriimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal