TOP

Global Trust Bank lwe yaggalwa lwe baagitunda

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2018

SSENTEBE w’akakiiko akavunaanyizibwa okulondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE, Abdu Katuntu yawaliriziddwa okuyimiriza olukiiko nga terunnaggwa n’alagira abakulira Bbanka Enkulu bagende banoonye ebiwandiiko kwe baatundira Global Trust Bank.

Tunda 703x422

Bagyenda wakati ng'aliko by'annyonnyola akakiiko

Ababaka beewuunyizza lipooti eyakolebwa omubalirizi w’ebitabo bya Gavument mu 2006 okutegeeza nti nga July 25, 2014 kwe baggalira Global Trust Bank era kwe baagiguliza bbanka ya DFCU.

Aba Bbanka Enkulu baabasabye okuleeta ebiwandiiko ebiraga engeri gye baatundamu bbanka n’engeri gye baatuuka okusalawo nti DFCU ye yali esinze endala bwe baavuganya mu kugula nga tebabirina.

Justine Bagyenda eyali akulira okulondoola emirimu gya Bbanka yategeezezza nti yabadde takyajjukira oba nga waliwo empapula eziraga ebyateesebwanga.

Yasabye aweebweyo ekiseera asooke yeebuuze ku be yakolanga nabo.

Yagasseeko nti tamanyi lwaki ofiisi y’omubalirizi wa Gavumenti tebaamutuukirako bwe baali babuuliriza ku by’okuggala Bbanka kuba mu kiseera ekyo yali akyali mukozi wa Bbanka Enkulu.

Ebigambo bye Katuntu yabijunguludde bwe yaleese ebbaluwa eraga olunaku abakozi ba ofiisi y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti we baasisinkanira aba Bbanka Enkulu ng’olukiiko Bagyenda yennyini ye yaluggulawo era n’alukubiriza.

Katuntu yawaliriziddwa okuyimiriza olukiiko ng’obudde bulijjo kwe bannyukira tebunnatuuka n’alagira abakulira Bbanka Enkulu okunoonya ebiwandiiko byonna bye baabadde babasabye.

Olukiiko nga lutandika, Moses Kasibante (Lubaga North) yasoose kusaba Katuntu batangaazibwe oba nga Bagyenda yabadde amaze okuwaayo Paasipooti eri Palamenti nga bwe yabadde alagiddwa ekintu ekyakoleddwa.

Akakiiko era kaasabye aba Bbanka okuleeta omugatte gw’omuwendo gwa ssente zonna ze baakassa mu bbanka ezaggalwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...