TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri omukulu w’ekika ky’Engo gye yasimattuse okufi ira ku lyato

Engeri omukulu w’ekika ky’Engo gye yasimattuse okufi ira ku lyato

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

OMUTAKA Muteesaasira Namuyimba Ttendo Keeya omukulu w’ekika ky’Engo engeri gye yasimattukamu akabenje k’eryato yeewuunyisa. Eryato okubasuula mu mazzi yasooka na kukulungutanira wansi eyo nga banne bamuyiseeko, n’atandika okulaajana!

Engo 703x422

Omutaka Mutesaasira

Obulamu bwali bugenda lwakuba abaali bategese entujjo eyali ebatwala ku K-Palm Resort e Mukono baali bamutaddemu n’obwesige nti ke balina Omukulu w’ekika, Abalangira abakulu, ekintu kyali kyakukwatayo ng’enjogera y’ennaku zino bweri.

Eryali essanyu lyali ligenda kufuuka maziga. Mu kitiibwa kye ku lyato, yali atudde nga bwe yeetegereza ebigenda mu maaso ne bakulu banne.

YAGENDA TABUULIDDE MUKAZI WE

Omutaka ono y’omu ku bantu abaali ku lyato wabula nga tebaagala kwogerwako olw’enjega eyagwawo era singa teyali Katikkiro Charles Peter Mayiga kwasanguza linnya lye mu bantu be yeebaliza Katonda okutaasa, kyandibadde kizibu okumanya nti yaliko.

Kubanga okuva olwo yasirikira ddala era abasasi baffe bangi abawerako bamutuukiridde okubeerako ky’ayogera, ng’ayogerako kigambo kimu na kimu! Emu ku mboozi ezizze zinyumizibwa bukya lyato lino (MV Templa) litirimbula bantu 32 nga November 24, 2018, y’eyeebuuza lwaki abasajja abeebitiibwa, abagagga ffugge baalitambulirako okugenda okulya obulamu ng’ate abamu baaliraba nti liri mu mbeera mbi!

Muteesaasira wadde mukulu wa kika naye akyali muvubuka era okucakalira ku lyato mu myaka gye tekyewuunyisa.

Wabula omu ku be yali nabo ku lyato agamba nti yabategeeza nti ekyali kigenda okumuluma ennyo kwe kufi ira mu mazzi nga n’omukyala tamanyi gy’ali kubanga yali tamubuulidde gy’alaze.

Yabategeeza nti entegeka yamugwako mu bwangu n’agezaako okufuna omukyala ku ssimu okumutegeeza kyokka ne kitasoboka.

Omu ku batunuulizi b’ensonga z’eryato lino, wiiki ewedde yayogera n’agamba nti Obuganda bwali bugudde mu katyabaga kennyinni singa Omutaka ono Muteesasira, Omulangira David Wasajja, muzzukulu wa Muteesa II omukulu Arnold Ssimbwa, abagagga Fred Kiyimba Freeman ng’ono y’akulira enteekateeka ya Buganda Twezimbe omunoonyezebwa ettoffaali n’omumyuka we owookubiri Ssembatya Mulundannume n’abalala singa baafi ira mu mazzi gano!

OKUMANYA OKUWUGA KWAMUWONYA

Omugagga Fred Kiyimba Freeman bwe yabadde anyumya ku ngeri gye yasimattuka (Kiyimba), yagambye nti amazzi gaatandikira ku ludda kwe yali era awo yagenda okuwulira nga Muteesaasira amuyita nti: Freeman ofa... era awo kwe kuvaayo ng’adduka okujja Omutaka gye yali. Muteesaasira bwe yagwa mu mazzi, abaali ku lyato bagamba nti Katonda yamuyamba ng’oggyeeko okugwirwa abantu, teyafuna kintu kirala kyamukwata ng’abamu ku baafa bwe baabisanga. Yawuga bulungi n’atuuka ku lukalu.

Abavubi abaali ku mazzi mu kiseera ekyo baamuyamba okusomoka kyokka yatuusibwa nga takyategeera bulungi ng’alinga awunze; bwatyo n’asooka awummuzibwa awo empewo y’obulamu eddemu emufuuweko.

Abataasiddwa bwe baawera ne wabawo eyaleeta ekirowoozo nti “tuve wano” ebinaddirira binaatugwa nkoto kuba mu kiseera ekyo okulaajana kwali kungi mu mazzi era nga buli omu akitegedde nti bangi tebalamye. Baafuna takisi awo ku lukalu lwa Mutima Beach okubatambuza.

Owattakisi gwe baalinnya bwe baatambulako katono n’akyusa ekiroowozo n’abagamba nti okubatuusa e Kampala buli omu aleete ensimbi 100,000/-.

Wano waasibukawo oluyombo nga bangi ssente n’ebintu byabwe byali bigudde mu nnyanja era ne bamulangira obutabeera na mutima musaasizi wabula ayagala kukolera ssente mu bizibu byabwe.

Mu baali mu mmotoka kuliko n’omugagga omu ku baasimattuka era ono yalina ssente mu nsawo n’agamba owa takisi nti bonna abali mu mmotoka agenda kubasasulira kyokka agenda kumuwa 200,000/- nga za bantu bonna era bwe kyakolebwa n’abavuga okubatuusa mu Kampala ekiro ekyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...