TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omunigeria avunaanibwa ogw'obufere bamuzzizzaayo e Luzira

Omunigeria avunaanibwa ogw'obufere bamuzzizzaayo e Luzira

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2018

OMULAMUZI wa kkooti e Nakawa azzeemu n’alagira Omunigeria, Charles Lambert Nwabuikwu, azzibweeyo mu kkomera e Luzira, ng’amulanga kuwa kkooti bujulizi bwabulimba.

Developmentchanneldirectorcharleslambertisarrestbypolicearrestoverarrest 703x422

Omunigeria Nabuikwu azziddwa e Luzira

Kino kiddiridde munnamateeka w’omuwawaabirwa Moses Mugabe, okulemererwa okuwaayo okusaba kw’okweyimirirwa kw’omuntu we, eri omulamuzi Agnes Alum.

Mugabe yategeezezza kkootyi nti yabadde asoose kukola ku mpapula za kweyimirirwa kw’omuntuwe omulala ayitibwa Caroline Waweru Waithera, munnansi w’eggwanga lya Kenya, kyokka n’awaayo mpapula za Munigeria, ekiviiriddeko omulamuzi okwongerayo omusango okutuusa nga 17, December,2018.

Oludda oluwaabi lugamba nti wakati w’omwezi gw’ekkumi ne kkumi n’ogumu, mu mwaka gwa 2017, mu bitundu by’eggwanga eby’ejawulo, Lambert ne munne Caroline, baakwata abantu obujega ne babaggyako ssente nga babalimba okubaguza emigabo mu kkampuni yaabwe(Development Conglomerate Ltd), gye baali bamanyi obulungi nti, teyaliiyo.

Abavunaabibwa bombi emisango bagyegaana wabula akulembeddemu oludda oluwaabi Annet Namatovu, ategeezezza kkooti nti okunoonyereza mu musango guno gukwagenda mu maaso.

Okusinziira ku Poliisi, Omunigeria ono alina abantu bangi abamubanja ssente okuli ba dereeva ne kkampuni  ez’enjawulo gy’abadde apangisa emmotoka, era nga kati ensimbi ezimubangibwa ziwera obukadde 200, n’okusoba.

Ebyo nga bikyali awo, waliwo abantu abalala okuli; Monica Wanyana, Moses Mabonga, Dennis Katumba, Betty Nakkazi, Margret Mugambe, ne Sarah Mugambe, abatutte Lambert mu kkooti nga baagala abasasule ssente ze bamubanja obubadde 260,289,600/- Bano omusango gwabwe guli ku fayiro nnamba CS 950/2018, ne CS 936/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...