TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ssemaka bakamutemye: ‘Toli musajja n’omwana si wuwo’

Ssemaka bakamutemye: ‘Toli musajja n’omwana si wuwo’

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2019

Ssemaka atunudde ebikalu oluvannyuma lwa mukyala we okukamutema nti omwana gw’abadde ayita owuwe wa musajja mulala.

Blur 703x422

Musisi ne Namata (ku ddyo) nga bali ku poliisi y’e Lugala nga bawaanyisiganya emisongovu.

Deo Musisi omutuuze w’e Nakulabye ye yaguddewo ekigwo mukyala we Jenipher Namata bwe yamutegeezezza nti omwana gw’ayita owuwe wa musajja mulala n’amannya ge yatuuma omwana baagakyusa dda!

Okutuuka ku kino kyaddiridde Musisi okukwata Namata n’omusajja omulala mu nju ku ssaawa 12:00 ez’oku makya bwe yabadde agenzeeyo okumusiibula n’okumulekera ssente z’okukozesa mu kazigo k’abadde amupangisiza e Lugala Bukooli.

Musisi yaddukidde ku poliisi y’e Lugala n’aggulawo omusango ku SD REF:07/04/01/2019 olwo poliisi n’eyita Namata abitebye.

Namata olwatuuse n’amukaliramu ng’amugamba nti, ‘oyo omusajja gw’oyita omusiguze nze gwe ntwala nga baze omutuufu kuba ye kitaawe w’omwana.’

Kino kyatabudde Musisi n’akolimira Namata olw’okumwonoonera obusente bwe ng’amusasulira enju n’okumulabirira ate ng’abacanga babiri era n’amusaba bamuddize ssente ze zonna z’amwonooneddeko okuva lwe yafuna olubuto okutuusa kati.

Wabula Namata agamba nti mwetegefu okusasula ssente zonna Musisi z’agamba nti yazimwonoonerako.

Namata yagambye nti Musisi yeefuula atalina ky’amanyi ku by’omwana okuba nti si wuwe ate nga yasooka kumwegaana nga wa myezi mukaaga engeri omwana gye yali alwalalwala.

“Namugamba ayite ab’ewaabwe mbabuulire amazima nti omwana si waabwe n’agaana era kino si kipya mu matu ge. Ebyo by’alumiriza nti y’ansasulira enju sibimanyiiko.”

Poliisi y’e Lugala oluvannyuma lw’okulagira Namatta akuyita taata w’omwana omutuufu Musisi gw’alumiriza okusigula mukazi we n’atalinnyayo ensonga zaabwe yazisindise ku poliisi ya Old Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu