TOP

Aba LDU batandika mwezi gujja okukuuma ebyalo

By Muwanga Kakooza

Added 15th January 2019

ABASERIKALE ba LDU 6,000 abali mu kutendekebwa bagenda kutandika emirimu gy’okukuuma ebyalo e Kampala, Mukono ne Wakiso nga Febuary 10 omwaka guno.

Soma 703x422

Omumyuka w’omwogezi wa UPDF Lt. Col. Deo Akiiki yagambye nti aba LDU 6,436 baawandikibwa omwaka oguwedde ne batwalibwa mu kutendekebwa okumala emyezi ena basobole okulwanyisa obumenyi bw’amateeka naddala ettemu eryali likudde ejjembe mu ggwanga.

Abamu ku banene abafiira mu ttemu kwaliko; Afande Muhammed Kirumira, eyali omwogezi wa poliisi Felix Kawesi, omubaka w’ekibuga Arua Ibrahim Abiriga, omukungu w’amagye Maj. Mohammed Kiggundu, n’eyali omuwabi wa gavumenti  Joan Kagezi wamu ne Bamasheikh b’Obusiraamu.

Babadde batendekerwa ku ttendekero lya  Oliver Tambo Military Training School e Kaweweta mu disitulikiti y’e Nakaseke. Akiiki yagambye nti mu wiiki nnya bajja kuba bamaze okutendekebwa batandike emirimu.

 Pulezidenti Museveni yalagira aba LDU 24,000 bawandikibwe n’okutendekebwa beegatta ku bitongole ebikuuma ddembe naddala poliisi okukuuma ebyalo.

Era n’agamba nti mu kusooka aba LDU bassibwe mu byalo nga lukumi mu Kampala, Wakiso ne Mukono awali obumenyi bw’amateeka.

N’agamba nti okuzibikira emiwatwa mu by’okwerinda kyali kijja kuyamba okukuuma obulamu bw’abantu naddala ettemu eryali likudde ejjembe.Okuwandiisa aba LDU,okubatendeka n’okubassa mu byalo kyali kigenda kuwementa obuwumbi 57.

UPDF ye yawandiika aba LDU bano n’agamba nti okuddamu okuwandiika abalala kujja kubaawo ng’ekibinja ekisoose kimaze okufuluma. Ends.

Ku ba LDU kwagatibwako okussa kamera mu bifo ebitali bimu okukwata abamenya amateeka. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600