TOP

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira e South Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2019

PAASITA Yiga Mbizzaayo nga tannasitula kugenda South Afrika, yasoose kutunda makaage agali e Mmengo era gwe yagaguzizza n’agamenyawo n’atandika okuzimbawo kalina.

Yiga 703x422

Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Bya MOHAMMED SSEBULIBA, PATRICK KIBIRANGO NE JOSEPHAT SSEGUYA

Wadde abamu ku baweereza mu Kkanisa bagamba nti yabategeezezza nti yafunye Obunnabbi agende agaziye obuweereza, ensonda zaategeezezza nti yabadde mu kattu nga kava ku nsimbi ze bamufeze n’emisango 4 gye baamuggulako ku poliisi e Kawaala.

Bwe yabadde asimbula, Ekkanisa ye eya Revival Church e Kawaala. Yalese agikwasizza mutabani we, Andrew Jjengo era kati y’agiddukanya.

Ttivvi ye eya ABS yagirese mu mikono gya Richard Kimbowa amanyiddwa nga Kojja Kimbowa omutabuzi w’eddagala ly’ekinnansi.

Kimbowa era ye yaguze n’ennyumba ya Augustine Yiga amanyiddwa nga Mbizzaayo olw’enjiri gye yatandika gy’agamba nti ezzaayo eddogo mw’abo ababa balisindikidde abagoberezi be.

Ennyumba eno eri mu Bulange Zooni A, okuliraana amaka g’eyali Katikkiro wa Uganda, Apollo Nsibambi.

Yagitunze obukadde 250 era waabaddewo okusika omuguwa ng’abaana be abamu tebaagala atundewo kubanga ekifo kya bbeeyi.

Kimbowa yamenyeewo ennyumba ya Yiga ebaddewo era kati azimbawo kalina.

Ebintu bya Yiga bingi byaguliddwa Kimbowa era omu ku bayambi be yategeezezza Bukedde nti ne Ttivvi - Abizzaayo Broadcasting Services (ABS), Kimbowa yagiguzeemu emigabo 40 ku 100 olwo Yiga n’asigazaamu emigabo 60.

Tekyali kigendererwa kya Yiga okutunda emigabo mu Ttivvi wabula yeesanga mu bwetaavu bwa ssente olwo n’azeewola ku Kimbowa omu ku balanzi aboolulango Ttivvi b’ebadde erina.

Yagenda amwewolako n’ensimbi endala okutuusa lwe zeetuuma ennyo era okusasula ne kukaluba ne basalawo babalaganire mu Ttivvi nga Yiga aguza Kimbowa emigabo.

Omuyambi wa Yiga yategeezezza nti olw’obwetaavu bw’ensimbi mukama waabwe bw’alimu, bali mu nteeseganya ne Kimbowa okumuguza Ttivvi era nti Yiga yasabye obukadde 650 okumalayo emigabo gye 60 gy’abadde alinamu.

aasita iga nga bwe yali afaanana nga tannava mu ganda ne bwafaanana katiPaasita Yiga nga bwe yali afaanana nga tannava mu Uganda ne bw’afaanana kati.

Nti mu ntegeeragana, Kimbowa bakkaanyizza asasule mu bitundu bibiri ng’atandika n’obukadde 300 oluvannyuma asasule obulala 350.

Kyokka kyakkaanyiziddwaako nti Ttivvi yaakusigalako pulogulaamu zaayo naddala ez’enjiri y’oku Lwokutaano ne ku Ssande.

Kyokka Jjengo (mutabani wa Yiga) yagambye nti Kimbowa tannagula Ttivvi nga bwe byogerwa, wabula yamukwasibwa agiddukanye nga bwe yeesasula ssente ze era bwe zinaggwaayo, nga Ttivvi eddamu okuddukanyizibwa ttiimu ya Yiga.

ENGERI YIGA GYE BAAMUFERA N’AFUNA EBIZIBU

Ensonda zaategeezezza nti Yiga okutandika okufuna ebizibu baasoose kumufera ne bamunyagako ssente nnyingi.

Ddiiru mwe baamuferedde nti yaleetebwa Paasita w’e Bwaise era aludde nga mukwano gwe.

Nti ono yamubalira nti nga bw’afuuse ow’ettutumu mu Uganda, bw’agenda e South Afrika ajja kukola ssente empya n’enkadde.

Paasita ono ow’e Bwaise yabeerako e South Afrika era bamulumiriza nti yaluka ddiiru eno ng’akimanyi nti Yiga bagenda kumaliriza nga bamunyaze era ab’Ekkanisa ya Yiga e Kawaala balumiriza Paasita w’e Bwaise nti ssente ezo yagabanako nga ddiiru emaze okuyitamu.

Ku ntandikwa y’omwaka oguwedde nga Yiga amaze okumatira ddiiru, nti yakuh− haanya ssente zonna ze yalina ne basitula ne Paasita w’e Bwaise ne boolekera Pretoria mu South Afrika.

Nti eyo Yiga gye baamuyingiriza mu ddiiru etandika Ekkanisa e Pretoria n’okutandikayo Ttivvi.

Wabula nti baamaliriza ssente kumpi zonna bazinyaze era n’asigazaawo kizimbe ekyali kipangisiddwa mu Pretoria West we baali basazeewo okuteeka Ekkanisa.

Abaamufera baatandika okumusaba ssente endala basobole okutereeza obulungi pulaani ya Ttivvi n’Ekkanisa era awo we yatandikira okwewolera ssente endala ng’asingayo ebimu ku bintu bye.

 

Yakomangawo mu Uganda n’akung'aanya ssente era nga bwe ziwera n’addayo e South Afrika era agenda okukitegeera nti abadde akolagana n’abafere nga ssente mpitirivu zigenze.

Ebbanga lye yamala nga yeewuuba e South Afrika lyakosa emirimu gye naddala egy’Ekkanisa era agenda okukomawo ng’abagoberezi beesaze n’ensimbi nga tezikyajja bulungi.

Wakati mu buzibu obwo, ate n’alumbibwa n’obulwadde obwamukuba ku ttaka era n’adda ku ddagala.

Mu bubulwa bw’ensimbi ng’ogasseeko n’obulwadde, abaamuggulako emisango ku poliisi nabo baasitudde enkundi ate nga ssente z’abadde akozesa bulijjo okugikkakkanya takyazirina bulungi.

Omu ku baserikale e Kawaala yategeezezza Bukedde nti balina fayiro 4 ku Yiga.

Yannyonnyodde nti fayiro emu ya muwala gwe yafunyisa olubuto, ate fayiro bbiri za bawala be yazaalamu abaana n’agaana okubalabirira ate fayiro eyookuna ya muntu alumiriza Yiga nti yakumpanya ssente ze yamuteresa.

Kuno kwegattako n’akazito aba famire y’omuvubuka eyafiira mu Kkanisa ke baamussaako, emirembe ne gimuggwaako.

Omuyambi wa Yiga yagambye nti abaserikale bwe baatandise okwetayirira Ekkanisa ku nkomerero y’omwaka oguwedde ate nga Yiga talina bulungi ssente zibakkakkanya n’afunamu okutya era n’asalawo okusooka okwetegula eggwanga, asooke yeewogomeko e South Afrika.

Ekirungi, ebizimbe bye baali bapangisizza mu ddiiru eyatabuka byali byasasulwa ebbanga ppanvu era awo we yasazeewo okusimba amakanda.

Ekkanisa eno yasazeewo okugituuma Great Revival Church era ku ntandikwa ya wiiki eno yasaasaanyizza obubaka ku yintaneeti ng’ayita abantu okujja mu bungi bafune ebyamagero.

Mu bubaka buno, Yiga ayogera Olungereza olw’ebitege era awunzika agamba nti, omuntu ayagala ebyamagero ebitalabwangako agende mu Kkanisa eno empya asisinkane Nabbi ow’enjawulo – Augustine Yiga agenda okubalagula nabo beewuunye.

Jjengo yagambye nti wadde abamu bagamba nti Yiga yadduse mu ggwanga naye yagenze ku buweereza era nti bamusuubira okudda omwezi ogujja.

Kimbowa bwe yatuukiriddwa yagaanye okwogera ku nsonga zino ng’agamba nti Yiga mukwano gwe era bakolagana mu bizinensi, tasobola kwasanguza buli ntegeeragana gye baba bakoze ng’abantu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...