TOP

NRM ekuzizza emyaka 33 ng'eri mu buyinza

By Muwanga Kakooza

Added 26th January 2019

UGANDA ekukuza emyaka 33 bukyanga gavumenti ya NRM ejja mu buyinza Pulezidenti Museveni kw’asinzidde okusaba bannaddiini n’abakulembeze b’ensikirano okumuyamba okusitula embeera z’abantu naddala mu by’enyingiza y’amaka g’abantu.

Dx00pogwsaehpmt 703x422

Museveni abadde ne mukazi we Janet era nga ye minisita w’ebyenjigiriza atongozza ekitabo eky’emyaka 20 bukyanga nkola ya bonna basome mu pulayimale etandika n’asomooza abaali bamusekerera ng’atandika enkola eno bajje balabe ebibala eggwanga bye lituuseeko.

‘’Ebya UPE natandika okubyogerako mu kampeyini za 1996 era Dr. Kawanga Ssemogerere gwe nali nvuganya naye n’ansekerera nga yebuuza nti Museveni agenda kuggya wa ssente z’okubawerera. Abaali bansekerera kati bajje bandabe’’ Museveni bw’agambye.

Bino abyogeredde ku mukolo gw’okukuza amenunula olubaawo January 26 olukuziddwa ku ssomero lya  Muwafu Primary School e Tororo.

N’agamba ekirowoozo kya NRM kyandika mu 1965 abavubuka bwe basalawo okutandika okuwakanya enkola y’ebibiina by’obufuzi eyali etambulira ku ndowooza z’amawanga n’eddiini ebyali bitandikawo.

N’agamba nti 1986 aba NRA bwe bawamba obuyinza obuyinza basalawo eby’okutambuliza eby’obufuzi ku ndowooza z’obusosoze babiveeko.

Yasabye bannaddiini n’abakulembeze b’ensikirano okumuyamba okusitula eby’enfuna y’abantu mu maka n’ategeeza nti n’enguudo ab’e Tororo ze baabadde bamusaba okubakolera azimanyi era ajja kuzikolako.

Ku UPE yagambye nti kati abaana abasoba mu bukadde munaana be bali mu masomero ga pulayimale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...