TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abachina boogedde Oluganda ne basomooza Bannayuganda okubawasa

Abachina boogedde Oluganda ne basomooza Bannayuganda okubawasa

By Muwanga Kakooza

Added 27th January 2019

ABACHINA boogedde ebigambo by’Oluganda n’okusomooza Bannayuganda baleme kubabuusa maaso nga banoonya ababeezi bwe babadde ku bikujjuko byabwe eby’okuyingira omwaka 2019 ebyabadde ku yunivasite e Makerere.

China28 703x422

Abachina era baakoze obukolomooni omwabadde  okulaga nga bwe bagond a omubiri, okufuusa ebintu ebitali bimu n’okuzina amazina gaabwe n’okuyimba  ne bongera okuwera nti enkolagana ya Uganda ne China baagala ebeere ya lubeerera.

Bino byabadde ku Freedom Square mu yunivasite  e Makerere ku Lwomukaaga Abachina ababeera mu Uganda bwe baabadde  bayingira  omwaka 2019. Omukolo gwetabiddwako omubaka wa China mu Uganda  Zheng Zhuqiang ne minisita w’ebyobulambuzi Polof. Ephrahim Kamuntu.

Ebimu ku bigambo  by’Oluganda Bukedde bye yawulidde Abachina boogera kwabaddeko ‘’akamyu’’, ‘ssebo’’ era n’abamu obwedda bw’obayita nga bayitaba ‘wangi’. Katemba yeyongedde omuwala Omuchina kalabalaba w’omukolo bwe yasomoozezza Bannayuganda  nti bwe wabaawo anoonya omubeezi asobola okumuyunga ku byana biwala Ebichina ebyabadde biboobedde wamu n’abalenzi enseko ne zitta ababaddewo.

Minisita w’ebyobulambuzi Ephrahim Kamuntu yagambye nti enkolagana ya Uganda ne China yatandika tetunafuna bwetwaze kuva ku Bazungu. Era Uganda bwe yabufuna wayita olunaku lumu China n’ekakasa nti Uganda lifuuse ggwanga lyetongodde era n’eweereza omubaka wayo wano.

Yagambye nti China ekoledde Uganda ebintu bingi ebigiyambye okulakulana ng’anokolayo ekisaawe ky’e Namboole,oluguudo lwa Entebe Express,ekizimbe kya minisitule y’ensonga z’ebweru,ekya Katikkiro wa Uganda ekisangibwa okumpi ne palamenti n’ebirala.

Yategeezezza nti ayagala Uganda by’etunda e China byeyongere n’agisaba okwongera okuyamba Uganda okufuuka eggwanga erikulakulanye ng’eyita mu kutumbula amakkolero, eby’obulimi n’obusuubuzi.

Omubaka wa China mu Uganda, Zheng Zhuqiang yagambye nti enkolagana ya Uganda  n’eggwanga lye eyongera kutojjera buli lukya. N’agamba okutumbula eby’obulambuzi  naddala ng’ensi eyita mu by’obuwangwa n’ebyemizannyo nga China by’ezannya kyongera okuyamba okukwatagana kw’amawanga gombi.

Akulira yunivasite e Makerere Polof. Barnabas Nawangwe yagambye nti yunivasite zirina omulimu munene ogw’okuagatta abantu abalina eby’obuwangwa eby’enjawulo.

Ne yeebaza China olw’obuyambi bw’ewa Uganda mu by’enjigiriza naddala okukkiriza Bannayuganda okusomera ku yunivasite e China ku bwereere.

Yagambye nti waliwo enkolagana eyatuukiddwaako egenda okusobozesa Bannayuganda okusomera e China  ebikwata ku kusima n’okutunda amafuta.

 

alt=''

 

alt=''

 

 

alt=''

 

alt=''

 

alt=''

 

 

 

alt=''

 

 

alt=''

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...