TOP

Ochola ayimirizza abaserikale ba poliisi 47

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2019

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola, ayimirizza abaserikale 49, ng’abalanga kujeemera biragiro bye.

Kaliga 703x422

Mu kiwandiiko ekyateekedwako omukono gw’avunaanyizibwa ku bakozi mu poliisi, Hajji Moses Balimwoyo, ku lwa Ochola, kyategeezezza ng’abaserikale bano bwe baali baalagirwa okugenda okutendekebwa e Kabalye mu disitulikiti y’e Masindi, kyokka ne bagaana awatali kuwa nsonga yonna. Ochola yalabudde nti ssinga wanaabawo ajeemera ekiragiro ky’awadde naye ajja kuvunaanibwa.

Abamu ku baagobeddwa ye; ASP Grace Azira, ow’e Kabalagala, ASP Peter Oyesigye akolera e Kiruhura, ASP Dickson Odongo, (Kira Divisoni), IP Eldad Mugisha ( Kampala), Gastone Twinamatsiko (Buikwe), Dan Ampadde (Kawempe), Emmanuel Luwuliza (okuva mu kitongole ekirwanyisa obutujju), Enos Wandibah (Masaka), Gordian Kato (poliisi ennawunyi), Samuel Masaba (Kaliro), Caroline Alumo (Jinja), Moses Cohen Acellam(Kyegegwa), Charles Chuma ( Kabarole), George Nyende ( Kiboga), Ambrose Byamugisha, Julius O.Obura (Mukono), Charles Emadu( Sironko) ne Patrick Oneka (CPS).

Abalala kuliko; Charles Kirunda, ne Moses Sekasi abakolera ku poliisi y’e Wandegeya, Fredrick Wasswa (Kaliro), Moses Bongo (Kabalagala), James Bamwesigye (Kibuli), Livingstone Kalule (Masaka), Charles Mugerwa Kampala) Charles Buyinza (Lira), Eliaza Oucha (Kaliro), Stephen Mbusa ekitongole ekirwanyisa obutujju), Wilson Tegule (Kabalagala), Christopher Olua (Iganga), Denis Wandera (Nsangi) ne Stuart Kanzira (Bushenyi).

Moses Dramadri (akolera ku poliisi ya Palamenti), Paul Khaukha (Iganga), Stephen Opoka, John Paul Ipurale (Sironko), Samson Kapere(Kabarole), Myres Kamukama(Rubanda), Sezi Bwambale (Kyenjojo), Joseph Angudezu Adiaa( Kakira), Robert Eyotu( Hima), Nobert Berutsya, Yonah Kanana( Mayuge), Julius Kagolo( Tororo), Zuwena Namaganda( Mubende), Brian Kawoire, Moses Vuciri ne Elias Kanyesiime(Ntebe).

Ochola era yalagidde abakulira poliisi abaserikale bano gye babadde bakolera obutaddaamu kubawa mulimu gwonna. Okusinziira ku kiwandiiko kino, Ochola era yalagidde ababadde bakulira abaserikale bano, okukuhhaanya fayiro ezirimu ebikwata ku baserikale bano bazitwale ku kitebe kya poliisi e Naguru bazikwase avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi mu poliisi.

Kigambibwa nti, abaserikale abaaganye okutendekebwa baaliko mu ttendekero lya poliisi e Kabalye nga be bamu ku batendeka abaserikale.

Baabagaba mu bitundu eby’enjawulo nga baabadde bayitiddwa baddemu okutendekebwa n’oluvannyuma baweebwe obuvunaanyizibwa bw’okutendeka bannabwe kyokka ne bagaana nga Ochola kye yavudde asalawo okubayimiriza ku mulimu okumala ekiseera kyataayogedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...

Kika 220x290

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza...

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya...