TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri Kusaasira gye yasimattuse amasasi ga Gen. Kasirye Ggwanga

Engeri Kusaasira gye yasimattuse amasasi ga Gen. Kasirye Ggwanga

By Josephat Sseguya

Added 1st February 2019

OMUYIMBI Catherine Kusasira attottodde engeri gye yawonyemu amasasi, Maj. Gen Kasirye Ggwanga ge yakubye emmotoka ye.

Yiwa 703x422

Poliisi ng'etuuse awaabadde ensasagge e Makindye ku Madirisa.

Kusasira agamba nti yabadde Makindye ku Madirisa ekiro ku Lwokusatu ku ssaawa nga 5:00, abavubuka babiri abavuga mmotoka etambuza ebizigo bye ebya Kusasira Cream bwe baabadde bagenze ku wooteeri okugula emmere ne basanga emmotoka ya Kasirye Ggwanga ng’eri mu kkubo. Ye yabadde mu yiye ku bbali.

Agamba nti mu kiseera kino abaana ba Kasirye Ggwanga nabo abaabadde mu mmotoka ya kitaabwe baalemedde mu kkubo.

Aba Kusasira bwe baabagambyeko ate baatandise kubawemula n’okwogera ebigambo ebinyiiza nga babavvoola.

Kusasira anyumya nti abavuga emmotokaye baamuyise n’atuuka mangu ate mu kadde ke kamu n’abaana ba Kasirye Ggwanga baabadde bamaze okuyita kitaabwe olwo bombi ne batuukira kumu.

Kusasira yategeezezza nti bwe yalabye Kasirye ggwanga n’aleka abaana n’agenda ku mmotoka ye n’amugamba nti, abagambeko kubanga baabadde basusse okuvvoola bannaabwe ate nga beeyisa batyo kubanga balaba kitaabwe munene.

Wabula mu budde obwo abaana baabadde baleekaana nga bwe bagamba nti; ‘Dadi, abo babadde batuvuma.’

Kusasira agenda mu maaso n’agamba nti Kasirye Ggwanga yabuuzizza kimu mu Lungereza nti, ‘Where is my gun?’ ekivvuunulwa nti emmundu yange eriwa, kwe kugenda mu mmotoka n’agiggyayo.

Yagikookinze era wano abantu abangi abaabadde bakuhhaanye kwe kubuna emiwabo Kusasira n’asigalawo nga bw’amugamba nti, ‘nkuba bw’oba osobola naye toli waggulu w’amateeka.’

Kasirye ggwanga yamuyiseeko n’akuba emmotoka ye ekika kya Premio nnamba UAY 083J eyabadde evugibwa abavubuka babiri n’eyabika omupiira n’olupanka ne lufuna ekituli Kasirye ne yeggyawo.

Kusasira yamugguddeko omusango ku poliisi y’e Katwe olw’okwonoona emmotoka ye (Malicious damage) n’okumutiisatiisa. Guli ku fayiro REF:07/09/01/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...

Gendayo 220x290

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

NAYE kiki ekyanyiizizza omuyimbi Naava Grey alyoke anakuwalire ku mukolo gwa munne bw’ati!