TOP

Bamugemereire agobye Rukutana lwa kumuyisaamu maaso

By Kizito Musoke

Added 21st February 2019

Entabwe yavudde ku Rukutana okubuuzibwa atangaaze kwe yasinziira okuwabula Gavumenti okusasula Dr. Muhammad Kasasa bbiriyooni 24 ku ttaka ly’e Mutungo okuli enkaayana.

Didi 703x422

Am yuka Ssaabawolereza wa Gavumenti Rukutana (ku ddyo) ng’anyumyamu ne looya we martin Mwambutsya mu kakiiko k’ettaka.

OMULAMUZI Catherine Bamugemereire avudde mu mbeera n’agoba amyuka Ssaabawolereza wa Gavumenti, Mwesigwa Rukutana mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka ng’amulanga kumuyisaamu maaso.

Entabwe yavudde ku Rukutana okubuuzibwa atangaaze kwe yasinziira okuwabula Gavumenti okusasula Dr. Muhammad Kasasa bbiriyooni 24 ku ttaka ly’e Mutungo okuli enkaayana.

Ettaka lino omulangira Wasajja ne famire y’omugenzi Benedicto Kiwanuka balikaayanira.

Rukutana yagambye nti, ekyakolebwa wadde kiyinza okuba nga mwalimu ensobi naye kyali kyetaagisa kuba ettaka ekitongole ekiketta ebweru w’eggwanga (ESO) kyali kiryetaaga olw’ensonga z’ebyokwerinda ze yagaanye okulambulula.

Bamugemereire yabuuzizza Rukutana lwaki yali agenda mu maaso n’okusasula Kasasa ng’ate omubazi omukulu ow’ebitabo bya Gavumenti yali amaze okuwandiika ebbaluwa ewabula eby’okusasula okubikwata empola.

Rukutana yategeezezza omulamuzi nti, eyo yabadde ndowooza ye kuba buno obuvunaanyizibwa y’abulina.

Bamugemereire yavudde mu mbeera n’abuuza Rukutana oba nga yabadde mwetegefu okuwa akakiiko ekitiibwa? Kyokka naye yamwanukudde nti ekyo yabadde waakukikola nga naye bamuwa ekitiibwa.

Omulamuzi yagobye Rukutana n’agamba nti, ensonga ze agenda kuzitwala ewa Pulezidenti y’aba agamba ku musajja we.

Kyokka yeemulugunyizza olw’abakungu ba Gavumenti abatawa kakiiko kitiibwa.

Rukutana yategeezezza bannamawulire ng’afulumye akakiiko nti tatidde kumuwawaabira wa Pulezidenti era bwe balaba nga tekibamalidde ba ddembe n’okugenda ewa Paapa oba ewa Katonda kuba talina musango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

dith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...