TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Rwanda ne Uganda: Abasuubuzi balojja bwe bafiiriddwa emmaali

Ebya Rwanda ne Uganda: Abasuubuzi balojja bwe bafiiriddwa emmaali

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

ABASUUBUZI gakyabeesibidde ku nsalo za Rwanda ezaggaddwa nga bakaaba olwa “loosi” gye bakoze.

1434398537e 703x422

Abasuubuzi nga basiraanidde ku nsalo ya Uganda ne Rwanda e Katuna

KATUNA, Mmande

Omu ku bo Sam Baliggwa yagambye nti loole ye eyabadde etwala ebyennyanja ebibalirirwamu obukadde nga 30 y’emu ku zikyalemeseddwa okuyingira Rwanda. Loole eziriko ennamba z’e Rwanda ze zaabadde zikkirizibwa okuyingira Rwanda okuva ku Lwokusatu ekiro. Endala okuli eza Bannayuganda zassiddwaako obukwakkulizo okuli okukubisaamu emisolo.

Omusuubuzi w’ebyennyanja Bashiru Ssenabulya, eyabadde atwala ebyennyanja e Gisenyi ng’ayitira ku nsalo e Kyanika yagambye nti yategeezeddwa nti Rwanda yabadde tekkiriza mmotoka yonna etwala byamaguzi okuva mu Uganda kuyingirayo. Okuggyako emmotoka ezaabadde ziyisa ebyamaguzi mu Rwanda nga zibitwala e Congo.

Yagambye nti yabadde ayimiriddeko e Kabale kyokka nga mweraliikirivu nti essaawa yonna ebyennyanja byabadde byolekedde okwonooneka. Yabadde asazeeewo kugezaako okuyita e Kyanika alabe oba aneeyongerayo e Congo gy’aba atwala emmaali ye.

‘’Ebyennyanja tubadde tubitwala Gisenyi ng’eno Abakongo gye babiggya okubyongerayo. Kyokka olw’okwewala okukola loosi tugenda kugezaako okubyetwalira e Congo.

Omu bakola ku kukkiriza ebyamaguzi okuyisibwa ku nsalo e Kyanika, Sam Mpakaniye, yagambye nti emmotoka z’ebyennyanja nnyingi ezaabadde zibitwala e Rwanda zaaganiddwa kwe kusalawo zikyuse zibitwale e Congo. Abamu ku basuubuzi Bannayuganda baasazeewo okupangisa sitoowa e Kyanika ne balagira emmotoka ezaabireese zikomewo e Uganda.

Rogers Baingana, akulira awasalirwa ensalo e Kyanika yagambye nti embeera yatandise okubijja ku Lwokuna, Rwanda bwe yagaanyi emmotoka yonna eyeetisse ebyamaguzi bya Uganda okuyingira.

Kyokka yagambye nti ezigenda e Congo ne bwe ziba ziva mu Uganda zikkirizibwa. Bannayuganda baabadde bakirizibwa okuyingira Rwanda. Era n’abalambuzi nabo baabadde bakkirizibwa okuyingirayo. Kyokka nga bannansi b’e Rwanda bakkirizibwa okuyingira wabula nga tebakkirizibwa kukomawo Uganda. Bbaasi z’e Rwanda ezijja mu Uganda, zaabadde zaazibwa nga bwe musangibwamu omuntu w’e Rwanda ng’aggyibwamu ng’asigala.

Omuvuzi wa loole Munnayuganda Kiggundu yagambye nti e Kyanika bamazeewo ennaku nnya nga babagaanyi okuyingira kyokka ng’eziva e Kenya zo ziyingira kyere.

Abeebyokwerinda mu Uganda baabadde embeera bagitunuulira nkaliza nga balinda okulaba oba Rwanda eneebaddiramu okutaasa emmaali yaabwe.

Ssentebe wa Town Council y’e Katuna mu Uganda, Nelson Shangabashaija amanyiddwa nga Baba yagambye nti n’ebyenjigiriza bikoseddwa embeera eriwo. Yategeezezza nti ekitundu kye mulimu amasomero ga pulayimale munaana n’aga siniya abiri (2) era abava e Rwanda babadde bakkirizibwa okugasomeramu kyokka bonna tebakyasobola kusala nsalo kugenda ku ssomero.

Meeya Baba yagambye nti Uganda ebadde ejjanjabira bwereere bannansi b’e Rwanda abali okumpi n’ensalo e Katuna nga bakkirizibwa okujja mu ddwaaliro ly’e Kamuganguzi –Katuna Health Centre 4 kyokka nabo (Rwanda) yabagaanyi okujja.

Kyokka Baba yagambye nti waliwo abasuubuzi b’ebintu ebitonotono n’abantu abalala aboolubatu abayitira mu ppanya ne bajja mu Uganda okwegulira ku bintu. Katuna y’ensalo esinga okuyitamu ebintu ebiva n’okuyingira e Rwanda.

Yannyonnyodde nti okuva e Katuna okugenda e Kigali ziri kilomita 180 kyokka ng’emmotoka bwe ziyitira e Mirama Hills aba Gavumenti ya Rwanda gye baaziragidde okuyita ziba zitolontoka kiromita 250.

Yagambye nti okuva e Katuna okudda e Ntungamo mu Uganda abantu basobola okweyambisa ensalo nga bayitira mu Mirama Hills kiromita 76. Yakubirizza amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika okuva mu kwogera obwogezi ku nkolagana eno babeeko kye bakolawo.

Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda yasabye Bannayuganda okuba abakkakkamu nga gavumenti bw’etereeza embeera. “Uganda ne Rwanda zaaluganda era abantu tebasaanidde kweraliikirira kuba ensonga zigenda kukolwako zimalibwe mu mirembe. Minisitule y’ensonga z'ebweru mu Uganda ebintu ebikolako ’’ Rugunda bwe yagambye ng’ali ku mukolo ku ddwaaliro lya Kamukira Health Centre IV mu kibuga Kabale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...