TOP

Mutereke ssente mweyagalire mu bukadde

By Scovia Babirye

Added 12th March 2019

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwettanira okutereka ku nsimbi ze bakola basobole okweyagalira mu bukadde.

Liaison1 703x422

Martin Anthony Nsubuga akulira Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority n'abakungu ba Liaison mu kutongoza enkola y'okutereka ssente ku Serena Hotel mu Kampala.

Bya SCOVIA BABIRYE

 

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwettanira okutereka ku nsimbi ze bakola basobole okweyagalira mu bukadde.

 

Bw'abadde atongoza enkola ya Liaison Umbrella Fund ey'okutereka ssente ku Serena Hotel mu Kampala, akulira Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority Martin Anthony Nsubuga akubirizza abantu okweyunira okutereka ssente baleme kubonaabona nga bakaddiye.

 

Ate akulira ekitongole kino ekya Liaison Umbrella Fund Isaac Mpaire, agambye nti enkola eno egendereddwaamu okuyamba Bannayuganda okwekulaakulanya kuba okuterekayo kutandikira ku bitundu 30 ku 100 buli mwezi era ssente omuntu atandika okuzifuna okutandikira ku myaka 30. Kwe kugamba omuntu w’atuukira okuva mu kukola aba alinawo ebintu mw'atandikira okuggya ssente ate n’asigala ng’afuna ezimubeezaawo.

 

Ayongeddeko nti abantu bangi ssente z’akasiimo bazikozesa bubi naye bwe baneeyuna enkola eno n’akasiimo bwe kaggwaawo era babeera basobola okusigala nga balina we batandikira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana