TOP

Paapa alonze omusumba w'e Soroti omuggya

By Benjamin Ssebaggala

Added 19th March 2019

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti omuggya. Polof. Ono abadde aweerereza ku St. Mary’s National Major Seminary e Ggaba, amawulire g’okulondebwakwe gaalangiriddwa eggulo ku Lwokubiri.

Gamba 703x422

Rev. Joseph Oliach Eciru alondeddwa Paapa okubeera Omusumba w’e Soroti omuggya

Ebitonotono ku musumba Joseph Oliach Eciru

  • Yasomera e Roma mu Pontifical Biblical Institute 2006-2209 n’afuna obwa dokita mu by’eddiini okuva mu pontifical Urban University e Roma 2009- 2012.
  • Yaddayo n’aweereza e Kinyamasika 2004-2006 nga bw’asoma okutuuka ku ddaala lya Polof.
  • Yafuna obwa Faaza nga August 9, 2003 mu Ssaza ly’e Soroti.
  • Omusumba omulonde yazaalibwa August 11, 1970. Emisomo yagitandikira mu Gweri Primary School gye yava okwegatta ku St. Peter’s Minor Seminary, Soroti gye yatuulira S.4 oluvannyuma ne yeegatta ku St. Pius X Seminary, Tororo.
  • Yagenda ku St. Thomas Aquinas Major Seminary Katigondo e Masaka oluvannyuma n’ayingira St. Paul’s National Major Seminary Kinyamasika e Fort Portal.
  • Asomesezza ku St. Peter’s Seminary era nga ye mumyuka w’omukulu w’ekifo ku kigo kya St. Patrick e Soroti wakati wa 2003 – 2004.
  • E Ggaba gy’abadde okuva 2012 okutuusa we bamulondedde.
  • Okuva 2014 Ssabasumba Emmanuel Obbo ow’e Tororo abadde alabirira essaza ly’e Soroti era akyakola omulimu ogwo okutuusa nga batuuzizza omusumba Omulonde Eciru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...