TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ofiisa Vincent Sekate bamulumirizza okwenyigira mu mivuyo gy’okubba ettaka e Kyampisi - Mukono

Ofiisa Vincent Sekate bamulumirizza okwenyigira mu mivuyo gy’okubba ettaka e Kyampisi - Mukono

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2019

OMWOGEZI w’ekitongole kya Poliisi ekikwasisa empisa Vincent Sekate, bamulumirizza okwenyigira mu mivuyo gy’okubba ettaka nga yeeyita nnannyini lyo.

Waaba 703x422

Muhumuza (ku kkono), Matovu (mu kkooti) ne Kiwanuka (ku ddyo).

“Ssebo nga gwe omukugu mu kunoonyereza, nsaba onoonyereze ku muserikale wammwe Sekate. Y’omu ku bannemesezza ettaka lino.

Olumu yantuukirira n’antegeeza nti yennannyini wano era nti y’alina n’ekyapa kyawo. Kyokka nkaayana na Kiwanuka, kino kitegeeza ki, Sekate akolera Kiwanuka okutuliisa akakanja Ssebo nsaba anoonyerezebweko”.

Bino byayogeddwa Edward Matovu mu lukiiko olwayitiddwa akulira okunoonyereza ku misango mu Kampala Metropolitan, Benard Muhumuza, ng’ali ne ssentebe wa Ggombolola ya Kyampisi Ibra Kabambwe, OC wa Naggalama Brain Tuhamize, Mathius Nabeeta, avunaanyizibwa ku by’ettaka ku Poliisi y’e Naggalama Oluka, abakulembeze b’ekyalo n’abataka saako abatuuze.

Matovu okulumiriza Sekate kyaddiridde okuweebwa omukisa okwogera ky’amanyi ku ttaka lino eriweza yiika ettaano lyakaayanira ne Tadeo Kiwanuka ku kyalo Nakasajja-Babumbiro mu Ggombolola y’e Kyampisi mu Mukono.

Muhumuza okutuuka okukuba olukiiko olw’engeri eno kyaddirira okusika omuguwa wakati wa Matovu ne Kiwanuka nga buli omu agamba ye nnannyini ttaka lino.

Kwe kubasaba buli omu aleete abaamuguza n’abalina kye bamanyi ku nsonga eno kisobozese Poliisi okuzuula ani mutuufu olw’okumalawo obutali butebenkevu mu kitundu kino.

Kiwanuka yaleese b’agamba abaamuguza ettaka lino aba famire ya Juma Nsubuga, okwabadde Hamidah Namimbwa ne Ddungu era n’akyusa ekyapa n’akizza mu mannya ge.

Wabula Sekate eyalumiriziddwa Matovu okwekobaana n’okweyita nnannyini ttaka lino, yategeezezza ku ssimu nti ye ky’amanyi ku by’ettaka lino; yatuukirirwa famire ya Juma Nsubuga ne bamusaba okubafunira abasaveya okukuba ettaka lino nti era awo we yakoma.

Ebyo byonna ebyayogeddwa Matovu talina ky’abimanyiko yadde okweyita nnannyini ttaka.

Matovu yaleese n’abatuuze bagamba nti be yasanga ku ttaka lino n’ateesa nabo okubaggyako abafunire ebifo ebirala nga mwalimu n’abamu abaamugamba n’okusengula ebiggya, nabo baawadde obujulizi.

Baategeezezza nti Matovu gwe baali bamanyi nga nnannyini ttaka lino oluvannyuma lw’okubalagibwa aba famire ya Namulwana era nga Kiwanuka tebamumanyi. Ku bano yagasseeko Edita Nabbunjo muzzukulu wa Matayo Nsubuga bbo gwe bagambanga eyali nnannyini Mayiro.

Muhumuza yalagidde OC wa Naggalama Tuhamize okuwera Kiwanuka ne Matovu okubaako kye bakolera ku ttaka lino bombi okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...