TOP

Akasattiro keeyongedde ku Poliisi ku bya 'bondi'

By Musasi wa Bukedde

Added 14th April 2019

AKASATTIRO ku poliisi ez’enjawulo keeyongedde ku nsonga za ‘bondi’ ezikutte wansi ne waggulu. Okusattira kuno kwaddiridde eggulire eririmu okunoonyereza okw’ekikugu okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde mwe baalagidde aba poliisi abaabadde baweebwa ssente okuyimbula abasibe ku kakalu ka poliisi (bondi) ate nga kateekeddwa kubeera ka bwereere.

Goba 703x422

Yokolamu Olaru ne OC George Ndyanabangi abaakwatiddwa ku kuggya ssente za bondi ku basibe

Mu kwekengera ebiyinza okuddirira, ensonda ku poliisi ez’enjawulo zaatutegeezezza nti abaserikale ba poliisi abamu ababadde balya ssente za ‘bondi’ baabivuddeko ate abakyagugubye, kati bakozesa obukodyo obupya okuziggya ku bantu, si kulwa nga nabo bakwatibwa nga bwe kyabadde ku OC CID George Ndyanabangi ne munne Yokolamu Olaru abaabadde bakolera ku poliisi ya Kabowa Community Police.

Ndyanabangi ne Olaru baakwatiddwa oluvannnyuma lwa kkamera za Bukedde okubaanika nga bafuna ssente okuyimbula Rashid Mugenyi ku kakalu ka poliisi era oluvannyuma baakoze siteetimenti ne babayimbulira ku kakalu ka poliiisi.

EKIRI KU POLIISI E KABOWA

Okuva bambega b’ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Professional Standards Unit (PSU) lwe baakutte eyabadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi eno George Ndyanabangi ne D/Cpl.

Yokolamu Olaru, embeera yafuuse ya kwekengera ku poliisi nga buli agendayo basooka kumulondoola bamanyire ddala ekimuleese.

Mu kiseera kino bw’otuuka ku poliisi eno naddala ng’obadde totera kugendayo embeera eriyo eyawukana n’eyo eri ku poliisi endala.

Oluba okuyingira awatuukirwa, abaserikale nga baakwesoose dda nga bakubuuza nti; Ssebo oba Nyabo tukuyambe tutya ?.

Bw’omala okubeeyanjulira ensonga yo ne balaba nga yeetaagako sitampu, bakujuliza atwala poliisi eno (O.C Station) wakati mu kwekengera .

Omu ku be twasanze ku poliisi (amaanya gasirikiddwa) yatutegeezezza nti yabadde abuliddwako essimu ye ng’ayagala kuddamu kusazisa layini ndala kyokka bwe yagenze okufuna ebbaluwa baamutegeezezza nga bw’alina okulinda atwala poliisi eno okukomawo kubanga y’alina sitampu.

Abakyala abalala nga batuuze b’e Kyengera abaabadde balina omusibe amaze mu kadduukulu ennaku ssatu nabo twabasanze bakandaaliridde nga balinda atwala poliisi eno okuyimbula omuntu wabwe ku kakalu ka poliisi.

Omusibe waabwe avunaanibwa kubuza mupiira gwa mmotoka ya mukama we.

Era bagamba nti oluvannyuma lw’omuntu waabwe okukwatibwa baatuukirira nnannyini mupiira n’abategeeza nga bwe balina okusooka okuleeta omupiira gwe omuntu waabwe alyoke ayimbulwe.

Wabula bagamba nti oluvannyuma lwokuwaayo omupiira ate nnannyini mupiira yeekyusa n’abategeeza nga bwe balina okugataako 400,000/- olw’ebbanga emmotoka ye ly’emaze nga tekola ze bagamba nti tebazirina.

Baayongeddeko nti omuserikale eyabadde akola ku musango yabadde amaze okubakolera ku buli ekyetaagisa omuntu waabwe okuyimbulwa kyokka nga O.C alina okussa omukono ku bondi emuyimbula wamu ne sitampu nga taliiwo nga baabadde balina okumulinda.

 oliisi ye abowa gye baakwatira abapoliisi nga basaba eza bondi Poliisi y’e Kabowa gye baakwatira abapoliisi nga basaba eza ‘bondi’.

 

OBUKODYO ABA POLIISI BWE BALEESE OKULYA EZA BONDI

Abaserikale bapoliisi bagunjizzaawo obukodyo obupya bwe bakozesa okulya enguzi ku bantu abayimbulwa ku kakalu ka poliisi n’enkola za poliisi endala ez’obwereere ezaafuuka ez’okusasulira.

Mu kaweefube w’okulwanyisa obuli bw’enguzi n’okulinyirira eddembe ly’obuntu, abasasi baffe bazzeeyo ku poliisi ez’enjawulo okulaba oba waliwo enkyukakyuka yonna okuva olupapula lwa Bukedde lwe lwayanise eyabadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kabowa George Ndyanabangi n’eyabadde akulira okunoonyereza ku musango gwa Rashid Mugenyi nga balya enguzi okumuyimbula ku kakalu ka poliisi.

SSENTE BAZITAMBULIZA MU NNYAMA

Obukodyo bwebagunjizzaawo mulimu n’okutuma bebagenda okulyako enguzi okubagulira ennyama ku bbuca.

Enkola eno, twagisanze ku CPS mu Kampala abaserikale naddala abakola ku fayiro z’emisango egiriko omulyo omunene, batuma abantu abaagala okweyimirira abantu baabwe ku bbuca babagulireyo kiro y’ennyama.

Enguzi tekoma ku nnyama, babalagira omuwendo gwa ssente ze bakkiriziganyizaako okuzizinga mu kaveera baziteeke mu nnyama.

Omu ku bebaggyeeko ssente yategeezezza nti, olwatuusizza ennyama y’omukulu, yaggyeemu akaveera akaabaddemu ssente naabaako omuntu omulala gwakakwasa n’afuluma ofiisi.

Akakodyo kano, tekalaga muntu ng’akwasibwa ssente ne bwewabeerawo abalondoola, bagenda okwaza mu kaveera basangamu nnyama gyebatasobola kukakasa nti omuserikale bagimuwadde nga nguzi okuta omusibe.

Abasasi baffe, batuuseeko ne ku poliisi e Mbarara ng’eno, embeera yasangiddwa nga yabunkenke mu baserikale.

Baabadde beekengera buli muntu agendayo okusaba kakalu ka poliisi kyokka era ssente bakyazisaba.

Ku poliisi e Mbarara, twasanzeeyo abakyala babiri okuva mu ggombolola y’e Rubindi be baakwatira batabani baabwe nga bateeberezebwa okubeera ababbi b’amatooke.

Abakyala bano baatutegeezezza nti, aba poliisi abakola ku fayiro y’abaana baabwe, baabagambye nti okubayimbula balina okusasula 800,000/- okubayimbula ku George Ndyanabangi Yokolamu Olaru ( ku kkono) ne Mugenyi gwe baayimbula mu kakalu ka poliisi.

Ate ku poliisi y’e Nyamityobora mu ggombolola y’e Kakoba,waabaddeyo abasibe 15 abamaze mu kaduukulu ennaku ssatu nga tebatwalibwa mu kkooti.

Etteeka liragira omusibe obutaggalirwa kusukka ssaawa 48 nga tatwaliddwa mu kkooti.

Abamu ku basibe betwasobodde okwogerako nabo baagambye nti, baabasabye ssente eziri wakati wa 30,000/- ne 50,000/- okubayimbula ku kakalu ka poliisi.

E MUKONO KATI BAZITEEKA KU MADUUKA

Abasasi baffe batuuseeko ne ku poliisi y’e Mukono okulaba embeera bweri. Akasattiro kamaanyi era abaserikal tebakyalina ddembe kwetaaya nga bwegubadde emabega. Buli gwebalaba bamwekengera okubeera owaamawulire.

Abantu ababeera balondoola omuntu waabwe ng’ali mu kaduukulu abaserikale basooka kubasoya bibuuzo okukakkasa nti gwe banoonya bamulinako akakwate.

Omusibe bamuggyayo mu kaduukulu ne bamutuuza mu maaso g’omuntu ayagala okumweyimirira ne bamubuuza oba amumanyi, gyabeera, omulimu gwakola ne bwamuyita.

“Nze banziggyiddeyo muto wange nga bamaze okumbuuza buli ekinkwatako ne baηηamba obutaddamu kwogera nga bamuleese era olwamutuusizza nebamubuuza byonna byenabadde mbagambye nga baagala okulaba oba bikwatagan ne byenabagambye, “omu ku beeyimiridde omuntu we e Mukono bwe yategeezezza.

Yagaseeko nti, bwe yamalirizza, baamugambye asale ekkubo ku dduuka agule empapula za bondi bbiri za 1,000/- era wano, webaamugambidde okuleka ssente 50,000/- mu bbaasa.

 

Agamba nti yabadde asimbula gweyakwasizza ssente naabaako essimu eyamukubiddwa olwazzeeyo ku poliisi, tebaamubuuzizza kintu kirala kyonna ne bakola ku mpapula ne bamuwa omuntu we.

MU KIBUGA BAZIWA BA BODABODA

Ttiimu yaffe yatuuseeko ne ku poliisi endala mu kibuga ne kizuulwa nti abaserikale baatidde okukwata ssente wadde bakyazirya ku bantu.

Balina abantu naddala aba bodaboda n’abawala abakola ku buyumba bwa ‘Mobile Money’ we basindika abantu okuzibaterekeranga wano we baziggya olweggulo nga bannyuka.

E MPIGI BAAFUNYE BA BBULOOKA

Ku poliisi e Mpigi, abalina obuvunaanyizibwa okuteeka omukono ne sitampu ku kakalu ka poliisi nabo baafunye okutya okwamaanyi era kati abantu abasaba okuyimbulwa ku kakalu ka poliisi, bavaayo banguyiddwa.

Kyokka, wadde tebakyazirya kyere, waliwo abantu bebaataddewo abeesooka abantu ababa baagala okweyimirira abantu baabwe be bayitamu ne babawa ssente.

Bano kuliko abaserikale abamadaala aga wansi ne ba ‘Crime preventer’ abaasigala ku poliisi.

Bano be batambuza empapula za bondi mu ofi isi zonna era bwebamaliriza, nnannyini musibe baamukwasa ssente ensaamusaamu zaalaba nti zigwanidde.

Omu ku baabadde bakwatiddwa ku poliisi y’e Mpigi ng’avunaanibwa omusango gwokutiisatiisa muliraana we yasabye akakalu ka poliisi okuyimbulwa kyokka eyamuwaabidde ne bakaanya amusasule 400,000/- kyokka n’amuwa akakwakkulizo nti y’alina okukola ku baserikale abaabadde mu nteseganya zaabwe ensonga ziggwe.

Yategezeza nti wano balemeddwa okukaanya kubanga 400,000/- yabadde asuubira nti amuvunaana z’alina okuwaako abaserikale abaakoze ku nsonga zaabwe era ne yeerema kyokka oluvannyuma ne bakaanya naweebwa akakalu ka poliisi era nadda ewaka nga amuvunaana yakoze ku baserikale.

ABAAKWATIBWA BAAKOZE SITETIMENTI

Ku Lwokusatu, abaserikale ba poliisi Ndyanabangi ne Olaru abaakwatibwa olw’okulya enguzi ku musibe ku poliisi y’e Kabowa baggyiddwa ku poliisi y’oku Railway we baasibira abaserikale ba poliisi abazizza emisango ne batwalibwa e Katwe ne bakola sitetimenti.

Baatwaliddwa mu ofi isi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Katwe, Fred Eriku. Sitetimenti yatutte essaawa ezisoba mu nnya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...