TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ekyeyo mu Buwalabu: Obukodyo obukozessewebwa okufera abagendayo

Ekyeyo mu Buwalabu: Obukodyo obukozessewebwa okufera abagendayo

By Lawrence Kitatta

Added 3rd May 2019

NASSANGA nga tannasimbula kugenda ku kyeyo okukola obwa hawusigaalo, yasooka kukola ndagaano nga waakusasulwa ssente 950,000/- buli mwezi. Yakyewuunya atuuseeyo ng’ate endagaano eriko n’omukono gwe gye yasangayo eriko 750,000/- ate nga mu kifo ky’okulabirira ennyumba emu, ng’endagaano gye baamulaga esoma ennyumba mukaaga be ddu!

Wano 703x422

Nakato ng’anywa ku mazzi ku ofiisi za Vision Group we yatuukira n’enkuuka ye nga yakatuuka mu ggwanga okuva mu Oman gye yali ku kibabu.

Emilly Nassanga kati ali Jordan gy’amaze emyezi munaana era ebbanga eryo alimaze alaajanira aba famire ye okumutaasa kubanga emirimu gye bamukozesa gyamukosa ekifuba era alumizibwa ebitagambika.

Gloria Naggujja mukulu wa Nassanga agamba nti bwe baali bapangira Nassanga okumutwala ku kyeyo baalowooza nti bwe bayita mu kkampuni erina layisinsi, ebizibu bye balaba ebituuka ku bantu abagenda ku kyeyo bajja kuba babiwonye, naye ssi bwe gwali.

Naggujja agamba nti baakizudde ng’obukodyo mwe baferera abantu butandikira mu kwewandiisa n’ensimbi ennyingi ze basasulayo ate bwe bafuna omukisa ne bagenda, olwo ne balyoka babacangira mu ‘kontulakiti’ ze bassaako emikono.

Naggujja yategeezezza nti bateebereza nti waaliwo okujingirira okwakolebwa mu biwandiiko, ate nga kontulakiti ya Nassanga gye yali akoledde mu Uganda, banannyini kkampuni baagimuggyako ng’agenda okusimbula okugenda e Jordan.

Kati aba famire balwana kuggyayo muntu waabwe, wabula ate abamukozesa baamutaddeko akakwakkulizo okusooka okusasula ssente 7,000,000/- bwe baamuteekamu okumuggya e Uganda okumutwala e Jordan.

Naggujja yagambye nti kino kyabeewuunyisizza kubanga aba kkampuni baabasaba ssente 3,000,000/- era ne bazisasula nti zaakukola ku tiketi y’ennyonyi, viza n’emisoso emirala.

Wano we baakitegeeredde nti ku mirimu naddala egya hawusigaalo, Abawalabu abaagala abakozi basasula kkampuni z’e Buwalabu ensimbi okunoonya abakozi mu mawanga ga Afrika n’awalala nga za kukola ku viza, entambula n’ebyetaago ebirala.

Kkampuni z’e Buwalabu zikwatagana ne kkampuni za wano ezitwala abantu ku byeyo ne zibaweereza ssente ezo okufuna abakozi wabula mu ngeri ey’olukujjukujju ate kkampuni ezimu ne zisolooza ssente ne ku bakozi be zitwala ne zimaliriza nga zifunye ensimbi za mirundi ebiri.

“Omuwalabu bwe bamutwalira omukozi, amutwala ng’eyamuguze kubanga abeera yasasudde ensimbi zonna era atandika okumukozesa ng’omuddu. Kyokka ne gwe bakozesa naye akitwala nti alina eddembe lye kubanga abeera yeetaddemu ensimbi ze yasasudde kkampuni eyamututte era ng’ayagala Omuwalabu ateeke ekitiibwa mu ddembe ly’omukozi era okusika omuguwa awo we kutera okutandikira.” Kalvin Kayanja omu kubalwanirira Bannayuganda abayisibwa obubi ku kyeyo mu Buwalabu bwe yagambye.

OKULANGA EMIRIMU EGY’EMPEWO

Akakodyo akalala akakozesebwa ennyo amakampuni agatwala abantu ku kyeyo kwe kulanga emirimu egy’empewo.

Kkampuni naddala ez’amaanyi bwe zitegeezebwa nti waliyo emirimu gya baddereeva nga 20, mu kulanga emirimu basobola okulanga emirimu 200 olwo abavubuka ne balyoka beeyiwayo nga balabawo omukisa ogw’amaanyi.

Mu kirango bateekamu omusaala omusava n’ebigenderako, kyokka ababa bagenze okwewandiisa bakitegeerera eyo nti okukuwandiika weetaaga emitwalo egitakka wanzi wa kkumi (100,000/-) buli muntu.

Mu kibalo kya kkampuni baba beetaaga abantu abali mu 1,000 era bwe babaweza baba bakung'aanyizza obukadde 100 olwo ne balyoka basunsulamu 20 abeetaagibwa ne bategeeza abasigadde nti okusaba kwabwe tekwayiseemu; olwo badayirekita ne bagabana obukadde 100 obutaliiko wo wayi!

Amakampuni amalala gatuuka n’okuggya ssente ku bantu ababa bayaayaana okugenda ku kyeyo era babaggyako obukadde obutakka wansi wa busatu nga babasuubizza okubatwala, kyokka ebbanga ne lyetoloola nga babasuubiza okubatwala naye ne bitatuukirira.

Abamu batuuka ne babivaako nga babatiisizzatiisizza ate abalala abalemerako ennyo ne babaddizaayo ze babaddiza, ne bikoma awo. Ku Mmande, Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka n’abaana yagambye nti yayise abaddukanya kkampuni bbiri ez’amaanyi mu kutwala abantu ku kyeyo okubabuuza akana n’akataano ku kwemulugunya abantu kwe babadde bamutuusaako ku kkampuni ezo omuli n’okuwandiisa abantu ne basasulayo ssente kyokka ne batabatwala ku mirimu gye babasuubiza.

Abalala ssente bakuhhaanya za misoso omuli ez’ebbaluwa ya Interpol n’ebbaluwa y’omusawo kyokka wadde ssente ezo naddala ez’omusawo zisasulwa, wabula amakampuni agamu tegabatwalayo kubakebera, babafunira bufunizi bbaluwa.

Waliwo omuwala Nakalanda eyagenda n’olubuto oluto kyokka nga naye mukazi wattu talutegedde.

Yasasula ez’omusawo naye tebaamutwalayo kumukebera kyokka ne bamuwa ebbaluwa eraga nti buli kimu kiri bulungi.

Olubuto lwalabikidde ku kyeyo era abaamuteekamu ssente ne balemerako nti alina okukola okutuusa nga ssente ze baamussaamu zivuddeyo, era kati ab’ekibiina kya Over Seas’ Workers Voice Uganda balwana kumukomyawo kubanga akakaalukanyizibwa nnyo ate ng’embeera gy’alimu temusobozesa kukola mirimu gya maanyi.

Marian Mwiza owa Over Seas’ Workers Voice Ugand ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abakozi abakolera ebweru w’eggwanga yagambye nti ng’oggyeeko abantu ssekinnoomu abakukusa abantu ne babatwala ku kyeyo ne babakolamu ensimbi, n’amakampuni agamu gaasussa omululu era gakuhhaanya ssente ku bantu nga gabasuubizza ebintu bye gamanyidde ddala nti tebiriiyo era beekangira eyo nga bye baabasuubiza bya njawulo nnyo ku bye basanzeeyo.

Abamu bwe batuukayo ate kkampuni y’Abawalabu mwe batuukira ebateekesa emikono ku ‘kontulakiti’ endala nga ziri mu Luwalabu ate nga tebabawadde mukisa kutegeera biri mu ndagaano!

BAKOLAGANA N’ABOOBUYINZA OKUKUKUSA ABANTU

Catherine Nakato Ashepete eyadduka mu Oman mu 2016 ng’embeera egaanye yattottodde nti mu kumutwala, omuntu eyamupangira yakwatagana n’abeebyokwerinda n’abakungu abamu naddala ku kisaawe ky’ennyonyi era ateebereza nti eno yali nkola erudde era nga ddiiru zitambulira wakati w’omusajja oyo n’aboobuyinza abafuna ku mutemwa gw’ensimbi z’aggya ku bantu b’atwala ku kyeyo.

Nakato yeevuma ekyamutwala okukuba ekyeyo oluvannyuma lw’okusendebwasendebwa omusajja Abdalla Muhammad ow’e Jinja.

Agamba nti engeri gye yayita ku kisaawe e Ntebe yeewunyisa kubanga tewali yamukebera era omusajja eyamutwala yamulagirira w’atuukira era olwatuukawo ne bamwambaza yunifoomu y’abakozi b’oku kisaawe ky’enyonyi era n’ayitawo nga tafunye buzibu bwonna.

Agamba nti bwe yatuuka mu Oman, yasanga omusajja gw’agenda okukolera yamulinze dda.

Agamba nti emirimu gye baamukozesanga ate nga tebamusasula gyamuggya mu mbeera.

Okuva mu Oman, yamala kwecanga ne yeggalira mu kisenge okumala ennaku ssatu ng’azize emmere n’ategeeeza mikwano gye ku Facebook era abo be baategeeza poliisi ya Oman eyamununula mu nnyumba wabula yavaayo talina kantu.

POLIISI EWABUDDE ABAGENDA KU KYEYO

Omwogezi w’ebitongole bya poliisi okuli Interpol, PSU ne CID Vincent Ssekate yagambye nti wadde ng’amakampuni agalina layisinsi agamu gava ku biragiro kwe galina okutambulira, wabula omuntu bw’aba mw’ayitidde okugenda, poliisi ebaako ne weetandikira okulondoola nga waliwo obuzibu obugudde.

Ssekate yagambye nti omwezi oguwedde baafunye okwemulugunya kwa mirundi 27 n’abantu 28 nga bonna bawala era baasobodde okukomyawo 12. Omuntu omu ye yafiiriddeyo omulambo gwe ne gukomezebwawo.

Ssekate yawabudde abatwalibwa ebweru okwegendereza abantu ssekinoomu naddala ababayisa e Kenya n’agamba nti, abasinga abayita e Kenya basibira mu Oman etalina ndagaano na Uganda ku by’abakozi.

Kyokka Enid Nambuya akulira ekibiina ekigatta amakampuni agatwala abantu ku kyeyo yagambye nti abantu bangi abatwaliddwa ku kyeyo bafunyeemu wabula waliwo abatonotono abafuniddeyo ebizibu era abo ne babuutikira ebirungi ebiva mu kyeyo kubanga amawulire be gassaako essira.

Yagambye nti bafuba okukolaganira awamu n’aboobuyinza n’ebitongole by’obwannakyewa okulaba ng’obumulumulu obuliwo mu nsonga z’ekyeyo bumalibwawo.

ABEDDEMBE LY’ABAKOZI BALAZE EKIRINA OKUKOLEBWA

Grace Mukwaya Lule akulira ekibiina kya ‘Platform for Labor Action Uganda’ yagambye nti bayambako abakozi ababa bafunye okwemulugunya naddala nga abakozesebwa emirimu egitali mu ndagaano okukakasa nti bafuna obwenkanya.

Yagambye nti abavubuka bangi abatwalibwa okukolera mu Buwalabu bagenda lwa mbeera enzibu ey’ebbula ly’emirimu nga balaba tebalina kye basobola kukola wano kivaamu nsimbi zibayamba.

Yagambye nti naye ate ennaku zino bafunye nnyo famire ezeemulugunya olw’abaana baabwe okudda nga bava ku byeyo e Buwalabu nga bafunye obuzibu ku mitwe nti naye bakyakola okunoonyereza okulaba kwe kiva n’agattako nti omwaka guno okuva lwe gwatandika bafunye abantu basatu abeemulugunya ku nsonga y’abaana baabwe abaafuna ekizibu ku bwongo nga bali ku kyeyo.

Lydia Bwite akolera mu kibiina kye kimu yasabye poliisi okwongera amaanyi mu kulwanyisa okukukusa abantu kubanga abeenyigira mu muze guno bangi bawagirwa abantu ab’amaanyi.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti amakampuni agamu agatwala abantu ku byeyo ga bannamagye bali ku madaala aga waggulu era abaddukanya amakampuni babeeyambisa okutiisa ababa balemeddeko. Abalala bakozesa ensimbi enyingi ze bafera ku bantu okugulirira buli abasitukiramu.

Ebimu ab’ebitongole byannakyewa bye banokolayo ebiyinza okuyambako okumalawo ekizibu kino kuliko:

1 Gavumenti okwongera amaanyi mu kutonderawo abavubuka emirimu n’okubasomesa okwetandikirawo egyabwe.

2 Gavumenti okussa eryaanyi ku nsalo naddala ku y’e Kenya era banokolayo e Rwakaka we bagamba nti tewalondoolwa bulungi ne bayisaawo abavubuka naddala abawala be baba bakukusizza ennyonyi ne bagirinnyira e Kenya okweyongerayo.

3 Gavumenti okwongera amaanyi mu kusomesa abantu bamanye akabi akali mu kukukusa abantu n’engeri gye basobola okuyambako mu kulwanyisa omuze ogwo.

4 Okulwanyisa ennyo enguzi mu bitongole byonna ebirina akakwate n’okutwala abantu ebweru kiggyewo emiwaatwa egiriwo egiyamba amakampuni n’abantu ssekinnoomu okubuuka emitendera emituufu ne bakola ebimenya amateeka.

(Emboozi zino ziri wansi w’enkwatagana wakati wa Vision Group ne DGF okutumbula eddembe ly’obuntu n’okufuna obwenkanya.)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nyiga1 220x290

Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda...

TWABADDE tukyewuunya abakulira ekitongole kya ISO okulemesa ababaka ba Palamenti okulambula amakomera ag’ekimpatiira,...

Kiwa 220x290

‘Omwana ayagala okutwala ebyange...

JORDAN Ssebuliba Kiwanuka 40, atabuse lwa byabugagga bya kitaawe Mohan Kiwanuka Musisi 69, n’atuuka n’okukimuteekako...

Kolayo1 220x290

Supreme Mufti avumiridde 'safe...

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa...

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...