TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ababaka ba palamenti baagala tteeka erirambika ennimi n’ebyobuwangwa

Ababaka ba palamenti baagala tteeka erirambika ennimi n’ebyobuwangwa

By Benjamin Ssebaggala

Added 12th May 2019

SSEMATEEKA wa Uganda owa 1995 akiraga bulungi nti mu Uganda mulimu amawanga 65 era bw’okitwala nti buli ggwanga lirina olulimi lwalyo z’ennimi 65 kyokka ekyewuunyisa kwe kuba ng’amawanga agamu awamu n’ennimi zaago era n’ebyobuwangwa biboolebwa.

Kivumbi 703x422

Omubaka Muwanga Kivumbi.

Kino kivaako okusosolebwa mu ddembe lyabwe ery’obuntu era ne mu byenfuna.

Wano Omubaka Grace Hellen Asamo akiikirira abaliko obulemu era ssentebe w’akakiiko k’obwenkanya we yasinzidde n’aleeta ekiteeso mu Palamenti ng’ayagala gavumenti ekole etteeka eriwa ennimi, obuwangwa n’obulombolombo bw’amawanga agaboolebwa enkizo.

Nga yeesigama ku nnyingo 36 mu Ssemateeka wa Uganda, Asamo, akulira akakiiko akalwanirira obwenkanya mu bitongole bya gavumenti yaleese ekiteeso kino ne kisembebwa Omubaka Nsamba Kumama ow’e Bbaale.

Okuleeta ekiteeso kino baawadde ensonga ez’enjawulo nga bagamba nti okusinziira ku mawanga agali mu Uganda nga bwe galambikibwa mu ssemateeka wa 1995, waliwo amawanga agalimu abantu abatono ennyo nga gano gasosolwa mu nteekateeka za gavumenti eziwerako naddala ez’ebyenkulaakulana ne gatuuka n’okusindiikirizibwa okuva ku ttaka ly’obusika bwabwe.

Okubala abantu okwa 2014 kulaga nti Abaganda be basinga obungi mu Uganda nga bakola ebitundu 16.5 ku buli 100 ne baddirirwa Abanyankole ebitundu 9.6 ku buli 100, Abasoga ne baddako bakola ebitundu 8.8 ku buli 100, Abakiga bakola ebitundu 7.1 ku 100 ne bagobererwa amawanga amalala.

Wano Omubaka Asamo we yasinzidde n’ategeeza nti amawanga ago agalimu abantu abangi gatiitiibizibwa era n’ennimi zaago ziwulirwa newankubadde tewali lulimi lunnansi wano mu Uganda na lumu olwali lutongozeddwa okuba olulimi lw’eggwanga.

Amawanga ge yatadde mu kiteeso agalabika nga gaboolebwa kuliko: Abaluulu, Ik (Teuso), Abakakwa, Abakaramoja, Abalugwala, Abamadi, Abanubbi, Abagungu, Abakenyi, Abavuma, Abatwa, Abamba, Abakonjo, Luluba, Soo, Abayanda, Benet, Bakyingwe, Bagabo ne Maragoli.

Yasabye palamenti eyise ekiteeso ekiragira gavumenti ekole amateeka agalambika ennimi n’obuwangwa, agassa ekitiibwa mu nnimi, obuwangwa, bw’amawanga ago n’okukuuma amawanga gano agaboolebwa mu Uganda.

Yagambye nti weetaaga etteeka erigonjoola enkaayana n’enjawuka wakati w’amawanga, okukakasa nti ababoolebwa nabo bafuna eddembe okukozesa ebifo byabwe eby’ennono.

Ekiteeso era kisaba gavumenti etandikewo enteekateeka y’ebisomesebwa nga birambika n’okutumbula entabagana y’obuwangwa obw’enjawulo n’amawanga agalabika nga agatafi ibwako gasobole okutegeera obuwangwa bw’abalala ababeetoolodde.

Eteekewo era etongoze enkola etumbula n’okukulaakulanya emikolo egy’ensikirano mu buwangwa bwago.

Amateeka galambike amawanga gano ku nkola n’engabanya y’emirimu nga bw’erambikibwa mu ndagaano y’ekibiika ky’Amawanga Amagatte ekya International Labour Organisation eya 1989.

Bino byonna omubaka yabireese mu kiteeso nga yeesigama ku nnyingo 36 mu Ssemateeka wa Uganda owa 1995 awa obuyinza okutaasa eddembe ly’abantu abatono ng’alagira okuba nga baweebwa omukisa okwenyigira mu buli nsonga ekwata ku ggwanga era beetabe mu kusalawo ku nsonga z’eggwanga nga gavumenti eriteekerateekera.

Ekiteeso kino we kijjidde nga bannannimi baavaayo dda ne basaba minisitule y’Ekikula ky’abantu nga y’ekola ne ku byobuwangwa omuli n’ennimi ebage etteeka eriwa enkizo n’okukuuma ennimi ennansi mu Uganda zibe nga ziweebwa ekifo era nga zikozesebwa mu nkulaakulana.

Ebiruubirirwa bya UN eby’enkulaakulana eya nnamaddala byagala buli muntu okuweebwa omukisa okwenyigira mu nkulaakulana naye kino tekiyinza kubaawo ng’amagezi g’okweggya mu bwavu gakwekeddwa mu nnimi engwira bannansi ze batategeera. Kuno kuba kusosolebwa mu byenkulaakulana.

ABABAKA BA PALAMENTI KYE BAGAMBA

Robina Sentongo Kasirye mubaka mukyala Kyotera:

Ensonga gye baleese bw’ebeera nga tekontana na Ssemateeka waffe nze sigirabamu buzibu. Oyinza okulaba ng’ekiteeso ng’ekyo kireeteddwa naye amawanga gonna geetaaga okufi ibwako.

Ekizibu ekiyinza okubeerawo kwe kuba nti omuntu ayinza okubeera omu ng’alinayo eggwanga eryagobwa ku ttaka n’ayagala akiyisize awo batuukirize ebigendererwa byabwe kyokka ng’eggwanga lyonna terikifunamu.

Bwe kibeera tekiruubirira kuyisaawo biruubirirwa bya muntu ssekinnoomu tekibeera na buzibu kubanga kyetaagisa okukola etteeka erigasa eggwanga lyonna.

Ennimi zonna ennansi n’ebyobuwangwa byetaaga okufi ibwako n’okuweebwa enkizo.

Kiwanuka Keefa wa Kiboga East:

Ensonga eno erambikibwa bulungi mu Ssemateeka waffe era okusobola okutondawo obwenkanya, amawanga nga aba Ik baali batono naye baaweebwa omubaka abakiikirira mu palamenti.

Naye bw’ogamba nti olulimi lwabwe luweebwe enkizo awo ndaba ng’abeera avudde ku mulamwa kubanga waliwo amawanga amalala ng’Abaganda oba Abanyankole ennimi zaabwe nazo teziweebwa nkizo mu Ssemateeka.

Okuteeka olulimi lwa ba Ik oba eggwanga eritafi ibwako mu Ssemateeka siraba we kibayambira kugenda mu maaso.

Nze ndowooza tuleme kubiwanika nnyo kubitwala ku mutendera gye bitasaana, biyinza okuvaamu ebirala bingi ne bitutabula.

Muwanga Kivumbi omubaka wa Butambala:

Ssemateeka awa abantu abatono omukisa kasita babeera nga bye bakola tebikontana na balala kyokka Ssemateeka y’omu awa eddembe okubeera obumu n’okwegatta mu ggwanga, olwo bw’oleeta kino toyinza okwesanga ng’ate okontana ne Ssemateeka!

Akakiiko ka palamenti ak’ekikula ky’abantu kaayanjudde embalirira ne kalaga nti baagala ssente okuwa abafuzi b’ensikirano emmotoka, abakuumi n’okubawa ensako ya bukadde 10, ekiteeso kino bwe kiyisibwa okuwa abantu bano enkizo tujja kusanga nga buli ggwanga baagala omukulembeze waabwe afune ebintu ebyo.

Ekiteeso bwe kiyisibwa ogenda kwesanga ng’owabya okwegatta kw’eggwanga ng’Amawanga nga Buganda obeera onafuyizza obuwangwa bwago kubanga tebuweebwa nkizo mu Ssemateeka.

Tulina okukkiriza nti obuwangwa obumu bufa oba okumiribwa obw’abalala ensi n’esobola okugenda mu maaso.

E Bungereza waliyo amawanga mangi naye gonna tegawulirwa, Amerika yakolebwa abantu ab’obuwangwa obw’enjawulo kyokka baluubirira kimu kwegatta kwa ggwanga ne bagenda mu maaso.

Sirabawo nsonga lwaki okuliriza obuwangwa obuli ku ndeboolebo y’okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...