TOP

Abaana b’omuyimbi Paul Kafeero baagala kuziikula kitaabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2019

ABAANA b’omuyimbi Paul Kafeero bateekateeka kuziikula kitaabwe aggyibweko obutaffaali abaana bonna bakeberebwe kimalewo obutakkaanya nga waliwo abalumiriza bannaabwe obutazaalibwa muyimbi ono.

Abaana 703x422

Abaana ba Kafeero nga bali ku nnyumba yaabwe eyatundid

Obuzibu bwavudde ku baana b’omugenzi abamu okutunda ennyumba ya kitaabwe ey’e Kajjansi ku luguudo lw’e Ntebe abamu kye batakkiriza ekyawalirizza abakkaanyizza nakyo okulangira abaakiwakanya nga bwe batali baana ba Kafeero ne basalawo bakeberebwe omusaayi (DNA).

Abaana abaakulembeddwa Martin Kafeero eyategeezezza nti ye musika, Mark Kafeero ne Tonny Kafeero balumiriza bakulu baabwe okuli; Simon Peter Kafeero, Swazinigga Kafeero, Kafeero Dube ne Nagawa okutunda ennyumba ya kitaabwe nga tebasoose kukkaanya nabo.

Abasatu bano baasangiddwa mu maka ga Kafeero e Kajjansi ne bategeezezza nti bannaabwe beekobaana n’abakuza, bamaama baabwe n’abakulu abalala ne bateesa okutunda ennyumba bagabane ssente kyokka bo (abasatu) bwe baagaana okukkaanya nabo ne basalawo babatwale bakebwerebwe omusaayi nga babalumiriza nti Kafeero si y’abazaala.

Abasatu baagaana okukeberebwa nga bagamba nti abaali baagala okutunda, baalina ekkobaane n’abagenda okubakebera bakyuse ebinaavaamu.

Kyokka abakkiriza okukebera ebyavaamu byalaga nti ku baana 15 Kafeero be yaleka abaana bana bokka nga be bakkiriza okutunda ennyumba.

Abasatu abaagaana okukeberebwa bagamba nti kikafuuwe okutwala ennyumba yaabwe we baakulira mu lukujjukujju nga eyeeyita omusika si ye yalondebwa. Martin Kafeero yategeezezza nti, Simon Kafeero olwamala okufuna ssente obukadde 80 ku 150 bwe bakkaanya n’abaguzi, yabulawo nga kati bateebereza ali South Afrika, Kenya oba Canada.

Martin Kafeero agamba nti ye musika omutuufu nti jjajjaawe, Nanganga eyali taata wa Kafeero mu kwabya olumbe gwe yalaga ne bamusumikira wadde kitaaabwe teyaleka kiraamo.

Engeri gye baakeberebwa Abooluganda bano baakeberebwa ng’abafaanagana omusaayi be batwala okubeera abooluganda.

Abaalina omusaayi ogw’enjawulo be bagamba nti si baana ba Kafeero. Kino abaana kwe basinziira okusaba baziikule kitaabwe bamuggyeko obutaffaali babakebere bazuule ekituufu.

Ennyumba eno eya maka, eri mu kikomera, eriko n’ennyumba z’emizigo emirala mukaaga egy’abapangisa n’emizigo gy’amaduuka emirala etaano ate w’eri kumpi nnyo ne tawuni y’e Kajjansi.

Ku nnyumba eno, waasangiddwaawo omusajja Bilal Mukiibi eyagambye nti y’omu ku baagula ennyumba eno.

Yagambye nti abaana baagenda okubagyako omusaayi nga baagala balabe oba be bagenda okugulako batuufu lwakuba abamu baagaana.

Nti omu ku baana (Martin) yagaana okumuggyako omusaayi ate era y’akulembedde abakaayana nti ye Mukiibi ne banne baagula mpewo.

Kyokka yagambye nti talina buzibu na baana abo kasita banakkiriza okubagyako omusaayi buli gw’anaalaba nga mutuufu wa Kafeero, bajja kukolagana naye ku by’ennyumba ezo.

Yagaanyi okwogera ssente ze baagulawo wabula n’agamba nti baaguzeewo mwaka guno oluvannyuma lw’okulaba nga babbulooka balanga ennyumba eno ne bagigula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erambuludde

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...

Ebibuuzo ebikyebuuzibwa ku nfa...

AMAZE ekiseera ng’atambulira mu kutya. Emirundi mingi wadde alina emmotoka nnyingi awaka, abadde azirekawo n’atambulira...

Panda 220x290

Omugagga eyakubiddwa essasi afudde...

Omwaka oguwedde, Jabar Alseyed yakwatibwa abajaasi b’ekitongole kya CMI ng’ateeberezebwa okubaako ky’amanyi ku...

Yimba 220x290

Ebipya bizuuse ku mugagga eyattiddwa...

GEN. Jeje Odongo yagenze mu ddwaaliro ng’ayagala okuzuula ekituufu ku ngeri mukwano gwe gye yakubiddwa essasi ne...

Everywarlordsfavouriteassaultrifleisgettingrebranded324bodyimage1417556752 220x290

Poliisi ekutte abazigu 9 n’emmundu...

POLIISI egudde ku kabinja k’abazigu akalala akabadde katigomya ebitundu bya Bwebajja ne Ntungamo n’ekwatako mwenda...