TOP

Uganda erabudde Rwanda omulundi ogusembayo

By Musasi wa Bukedde

Added 28th May 2019

UGANDA erabudde Rwanda omulundi ogusembayo okulekera awo okugicookooza. Okulabula kuno kuddiridde abaserikale ba Rwanda okuttira ku ttaka lya Uganda abantu babiri ku Lwokutaano oluwedde okwabadde munnansi waayo John Baptista Kyerengye (Peter Nyengye), ne Munnayuganda Alex Nyesiga.

Seka 703x422

Omulambo gwa munnansi wa Rwanda nga gumaze okubakwasibwa. Mu katono ye Minisita w'ensonga z'ebweru, Sam Kuteesa eyalabudde Rwanda okukomya okusosonkereza Uganda

Minisita w’Ensonga Ezeebweru Sam Kutesa yalabudde Rwanda nti guno gwe mulundi ogusembayo kubanga wabaddewo ebikolwa eby’okusosonkereza ebizze bikolebwa Rwanda kyokka nga Uganda esirise.

Wabaddewo essuubi nti enkolagana y’amawanga gombi egenda kulongooka oluvannyuma lw’abakulembeze okuli Yoweri Museveni ne Paul Kagame, okusisinkana ku mukolo gw’okulayiza Pulezidenti Cyril Rwamaphosa, owa South Afrika.

Mu kiwandiiko minisitule y’ensonga z’amawanga amalala kye yafulumizza, gavumenti ya Uganda yeemulugunyirizza Rwanda mu butongole olw’ejjoogo abajjaasi baayo lye baayolesezza ne batuuka n’okuwandagaza amasasi ku ttaka eritali lyayo ne gatta n’abantu.

Uganda erumiriza nti basajja ba Rwanda abantu baabattidde mu kabuga Hamisavu mu disitulikiti y’e Rukiga.

Kigambibwa nti Kyerengye yabadde ku pikipiki ng’agezaako okuyingira Rwanda n’ebyamaguzi kyokka bwe yalabye abaserikale kwe kukomawo mu Uganda.

Abajaasi baamugoberedde ne bamukuba amasasi mu mutwe n’afiirawo wamu ne Munnayaganda eyabadde agezaako okubabuuza ensonga eyabakubizza omuntu ate nga teyabadde ku ttaka lya nsi yaabwe.

Wabula minisitule y’e Rwanda ey’ensonga z’ebweru nayo yafulumizza ekiwandiiko nga yeegaana ebyayogeddwa Uganda n’egamba nti abantu battiddwa ku ttaka lyayo.

Yategeezezza nti eyattiddwa yabadde akukusa byamaguzi. Abaserikale bwe baagezezzaako okumukwata n’awalira era ekibinja ky’abantu abaabadde bakutte ebijjambiya ne bagezaako okulumba abaserikale ba Rwanda nabo ne bazzaayo omuliro nga bakuba amasasi agasse abantu abo.

BAKWASIDDWA OMULAMBO

Eggulo ku Mmande, Uganda yakwasizza Rwanda omulambo gwa munnansi waayo (ow’e Rwanda) eyattiddwa ku ttaka lya Uganda ku Lwokutaano.

Omugenzi yattiddwa ne Munnayuganda Alex Nyesiga agambibwa nti yabadde agezaako okumutawulula ku magye. Uganda yawandiikidde Rwanda nga yeemulugunya ku kikolwa kino kyokka ne Rwanda ne yeegaana nti omusuubuzi teyattiddwa ku ttaka lya Uganda yafiiridde waabwe Rwanda.

Omukolo gw’okuwaayo omulambo gwabaddeko bambasada b’amawanga g’ebweru ababeera mu Uganda munaana.

Omukolo gwabaddewo ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo era omulambo gwakwasiddwa meeya w’e Nyagatare mu Rwanda, David Mushabe Claudian.

Kigambibwa nti Nyengye yabadde avuga pikipiki eriko ebyamaguzi ng’agezaako okuyingira ne yeekanga amagye g’ewaabwe n’akomawo mu Uganda.

Nga March 27, 2019 waliwo omukazi Elizabeth Mukarugwiza, eyali olubuto kyokka abeebyokwerinda mu Rwanda ne bamuwalabanya nga bagezaako okumulemesa okuyingira mu Uganda okumpi n’ensalo y’e Kyanika, okukkakkana n’afa!

EBY’OKUGGALA ENSALO

Minisita w’ensonga z’amawanga amalala e Rwanda, Richard Sezibera yategeezezza gye buvuddeko nti waliwo bannansi baabwe abazze bakwatibwa abeebyokwerinda mu Uganda awatali nsonga kyokka ne babakuumira mu makomera nga tebawozeseddwa mu kkooti.

Ono era yavaayo n’ategeeza nti baagaana bannansi baabwe okujja mu Uganda olw’okutya nti ebyokwerinda byabwe byali mu lusuubo, anti waliwo n’abamu abakwatibwa ne baddizibwa mu Rwanda mu ngeri eteri nambulukufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.